bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 7
Mark 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
1
Awo Abafarisaayo wamu n'abawandiisi abamu abaava e Yeruzaalemu ne bajja w'ali;
2
bwe baalaba abamu ku bayigirizwa be nga balya emmere n'engalo ezitali nnongoofu, kwe kugamba, ezitali nnaabe, ne bamunenya.
3
Kubanga Abafarisaayo n'Abayudaaya bonna tebalya wabula nga bamaze kunaaba ngalo okutuukiriza empisa z'abakadde.
4
Era bwe bava mu katale, tebalya wabula nga bamaze kunaaba. Waaliwo n'ebirala bingi bye balagirwa okukwata: ng'okunaaza ebikopo n'ensumbi n'ebibya eby'ekikomo.
5
Awo Abafarisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti: “Abayigirizwa bo lwaki tebayisa mpisa z'abakadde, ne balya emmere n'engalo ezitali nnongoofu?”
6
N'abagamba nti: “Yisaaya yalanga bulungi ku mmwe abakuusa, nga bwe kyawandiikibwa nti: “ ‘Abantu bano bampa ekitiibwa kya ku mumwa bumwa; emitima gyabwe gindi wala.
7
Okusinza kwe bansinzaamu temuli kantu; enjigiriza gye bayigiriza mateeka g'abantu.’
8
Kale muleka ekiragiro kya Katonda, ne mukwata empisa z'abantu.”
9
Era n'abagamba nti: “Nga mugaana bulungi ekiragiro kya Katonda mukwate empisa yammwe!
10
Kale Musa yabagamba nti: ‘Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ Ate nti: ‘Avumanga kitaawe oba nnyina, wa kuttibwanga.’
11
Sso mmwe mugamba nti: ‘Oli bw'agambanga kitaawe oba nnyina nti: Kye wandifunyeeko kati korubani’ - kwe kugamba nti ‘kitone’,
12
olwo nga temukyamuganya kukolera kantu kitaawe oba nnyina.
13
Ne mudibya mutyo ekigambo kya Katonda olw'empisa yammwe gye mugenda muyigiriza; n'ebirala bingi eby'engeri eyo bye mukola.”
14
Awo n'ayita nate ekibiina w'ali n'agamba abantu nti: “Mumpulire mwenna, era mutegeere.
15
Teri kiva bweru ne kiyingira mu muntu kiyinza kumwonoona; wabula ebifuluma mu muntu bye byonoona omuntu.”
17
Bwe yayingira mu nnyumba ng'avudde mu kibiina, abayigirizwa be ne bamubuuza ku lugero olwo.
18
N'abagamba nti: “Nammwe, bwe mutyo, temunnategeera? Temumanyi nga buli kintu ekiyingira munda nga kiva ebweru tekiyinza kumwonoona,
19
kubanga tekiyingira mu mutima gwe, wabula kigenda mu lubuto, ate ne kifulumira mu kiyigo?” Awo n'akakasa nti emmere yonna nnungi.
20
N'agamba nti: “Ebifuluma mu muntu bye byonoona omuntu.
21
Kubanga mu mitima gy'abantu mwe muva ebirowoozo ebibi, obukaba, obubbi, obutemu,
22
obwenzi, omululu gw'ebintu, omutima omubi, obulimba, obugwenyufu, eriiso ebbi, okukonjera, olunkulu n'obusirusiru.
23
Ebibi ebyo byonna bifuluma munda ne byonoona omuntu.”
24
Bwe yava awo, n'alaga mu bitundu by'e Tiiro, n'ayingira mu nnyumba nga tayagala wabeerewo amumanya; naye n'atasobola kwekisa.
25
Amangu ago omukazi ayalina omwana eyaliko omwoyo omugwagwa n'amuwulirako, n'ayingira, n'avunnama ku bigere bye.
26
Yali mukazi Mugereeki, nga muzaaliranwa wa mu Sirofenisiya; n'amusaba agobe mu kawala ke omwoyo omubi.
27
N'amugamba nti: “Leka abaana bamale okukkuta; kubanga si kirungi kuddira mmere y'abaana n'ogikasukira embwa.”
28
Omukazi n'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama, naye era n'embwa eziri wansi w'emmeeza zirya obukunkumuka bw'abaana.”
29
Yezu n'amugamba nti: “Olw'ekigambo ekyo, genda; omwana wo omwoyo omubi gumuvuddemu.”
30
Bwe yaddayo eka, yasanga muwala we agalamidde ku kitanda, n'omwoyo omubi nga gumuvuddemu.
31
Ate n'ava mu bitundu by'e Tiiro n'akutulira mu Sidoni okujja ku nnyanja y'e Galilaaya ng'ayitira mu Dekapoli wakati.
32
Ne bamuleetera omuggavu w'amatu ng'alina n'obuzibu mu kwogera. Ne bamwegayirira amusseeko omukono.
33
Ye n'amuggya mu kibiina, n'amuzza ku bbali, n'amussa engalo mu matu, n'awandula eddusu, n'amukwata ku lulimi,
34
n'atunula ku ggulu, n'assa ekikkowe, n'agamba nti: “Effatta,” kwe kugamba nti: “Zibuka”
35
Amangu ago amatu ne gagguka, enkolo y'olulimi n'esumulukuka, n'ayogera bulungi.
36
N'abakuutira obutabuulirako muntu; naye gye yakomya okubakuutira, bo gye baakomya okukiralaasa.
37
Ne bawuniikirira ebitayogerekeka, ne bagamba nti: “Byonna abikoze bulungi; abaggavu b'amatu abawuliza, ne bakasiru aboogeza.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16