bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 11
Mark 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
1
Bwe baasemberera Yeruzaalemu, nga batuuse e Betifage ne Betaniya, kumpi n'Olusozi lw'Oliva, n'atuma babiri ku bayigirizwa be,
2
n'abagamba nti: “Mugende mu kyalo ekibali mu maaso; mangu awo nga mwakayingira, mujja kusanga akalogoyi akasibiddwa, akateebagalwangako muntu n'omu, mukayimbule mukaleete.
3
Bwe wabaawo abagamba nti: ‘Mukola ki?’ mugamba nti: ‘Omukama akeetaaga; ajja kukasindika wano mangu.’ ”
4
Awo ne bagenda, ne basanga akalogoyi nga kasibiddwa ebweru ku mulyango mu masaŋŋanzira, ne bakasumulula.
5
Abamu ku baali bayimiridde awo ne babagamba nti: “Mukola ki, abasumulula akalogoyi?”
6
Bo ne babagamba nga Yezu bwe yali abagambye; bali ne babaleka.
7
Ne batwalira Yezu akalogoyi, ne bakasuulako ebyambalo byabwe; n'akeebagala.
8
Awo bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo, n'abalala amatabi okuli amakoola ge baali bamenye ku ttale.
9
Abaali bakulembeddemu n'abaali bagoberera ne bakuba emizira nga bagamba nti: “Hosanna! Agulumizibwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama!
10
Obwakabaka bwa kitaffe Dawudi obujja bugulumizibwe omukisa. Hosanna waggulu ddala eyo!”
11
Bwe yayingira mu Yeruzaalemu, n'agenda mu Kiggwa; bwe yamala byonna okubyebunguluza amaaso; obudde nga bwe bwali buwungedde, n'afuluma n'agenda e Betaniya wamu n'Ekkumi n'Ababiri.
12
Ku lunaku olwaddako, bwe baali bava e Betaniya, enjala n'emuluma.
13
Bwe yalengera omukunyu ewalako, ogwaliko amakoola, n'alaga gye guli ng'asuubira okusangako akantu; naye bwe yagutuukako, n'atasangako kantu wabula amakoola gokka, kubanga tebwali budde bwa mikunyu.
14
N'agugamba nti: “Tewabanga akulyako kibala emirembe gyonna!” Abayigirizwa be ne bakiwulira.
15
Ne batuuka e Yeruzaalemu. Bwe yayingira mu Kiggwa, n'atandika okugobamu abatunda n'abagulira mu Kiggwa; n'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi n'entebe z'abatunda enjiibwa.
16
N'ataganya muntu kuyisa mu Kiggwa kantu na kamu.
17
N'abayigiriza ng'abagamba nti: “Tekyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kwegayiririramu eri amawanga gonna?’ Sso mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”
18
Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baawulira, ne banoonya amagezi ag'okumuzikiriza, kubanga baali bamutya, kubanga ekibiina kyonna kyali kiwuniikirira olw'enjigiriza ye.
19
Ate bwe bwawungeera, n'ava mu kibuga.
20
Bwe baali bayitawo enkeera, ne balaba omukunyu nga gukaze okutuuka ku mirandira.
21
Petero n'ajjukira, n'amugamba nti: “Rabbi, omukunyu gwe wavumiridde guugwo gukaze.”
22
Yezu n'abaanukula nti: “Mube n'okukkiriza mu Katonda.
23
Mazima mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka, weesuule mu nnyanja,’ nga tabuusabuusa mu mutima gwe, wabula ng'akkiriza nga kyonna ky'anaagamba kinaatuukirira, kirimukolerwa.
24
Kyenva mbagamba nti byonna bye munaasabanga nga mwegayirira, mukkirizenga nga mujja kubifuna; era mulibifuna.
25
Bwe muyimiriranga okwegayirira, oba waliwo gwe mulinako ekigambo, mumusonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ensobi zammwe.”
27
Ne batuuka ate mu Yeruzaalemu. Bwe yali atambula mu Kiggwa, bakabona abakulu, abawandiisi n'abakadde ne basembera w'ali,
28
ne bamugamba nti: “Ebyo obikozesa buyinza ki? Ani yakuwa obuyinza obw'okukola ebyo by'okola?”
29
Yezu n'abagamba nti: “Nzija kubabuuzaayo ekigambo kimu; munziremu, nange ndyoke mbabuulire obuyinza obunkoza ebyo.
30
Kale, batismu ya Yowanna yava mu ggulu, nandiki mu bantu?”
31
Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti: “Bwe tugamba nti: ‘Yava mu ggulu,’ ajja kubuuza nti: ‘Awo nno lwaki temwamukkiriza?’
32
Tugambe nti: ‘Yava mu bantu?’ ” Naye nno baali batya abantu, kubanga bonna baali bakkiriza nga Yowanna yali mulanzi ddala.
33
Kwe kuddamu Yezu nti: “Tetumanyi.” Ne Yezu n'abagamba nti: “Nange siibabuulire buyinza bunkoza ebyo.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16