bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 2
Mark 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
1
Oluvannyuma lw'ennaku nga ziizo bwe yakomawo mu Kafarunawumu, ne bawulira ng'ali waka,
2
ne bakuŋŋaana bangi nga tewakyali na kafo wadde mu mulyango; yali abayigiriza ekigambo.
3
Awo ne wajjawo abaaleeta omulwadde akonzibye, ng'asituddwa abantu bana.
4
Bwe baalemwa okumusembeza w'ali olw'ekibiina, ne basereekulula ku kasolya waggulu ne Yezu we yali; bwe baafunawo omwagaanya, ne bakkiririzaawo olunnyo omulwadde kwe yali agalamidde.
5
Yezu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba akonzibye nti: “Mwana wange, ebibi byo bisonyiyiddwa.”
6
Naye waali watuddewo abamu ku bawandiisi; ne beebuuza mu mitima gyabwe nti:
7
“Ono ekimwogeza atyo kiki? Avuma Katonda. Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?”
8
Amangu ago, Yezu mu mwoyo gwe bwe yategeera bye beebuuza munda yaabwe, n'abagamba nti: “Lwaki mwebuuza mutyo mu mitima gyammwe?
9
Ekisinga obwangu okugamba akonzibye kiruwa: okugamba nti: ‘Ebibi byo bisonyiyiddwa?’ nandiki okugamba nti: ‘Situka, otwale olunnyo lwo, otambule?’
10
Kale mmwe okumanya ng'Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi obw'okusonyiwa ebibi,” - awo n'agamba akonzibye nti:
11
“Nkugamba: situka, kwata olunnyo lwo ogende ewammwe.”
12
Ye n'asituka amangu ago, n'akwata olunnyo lwe, n'afuluma ebweru bonna nga balaba. Bonna ne bawuniikirira, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Tetulabanga kiringa kino!”
13
N'afuluma ate n'agenda ku nnyanja; ekibiina kyonna ne kijja gy'ali, n'abayigiriza.
14
Naye yali ayita, n'alaba Leevi, mutabani wa Alufayo; yali atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti: “Ngoberera.” N'asituka n'amugoberera.
15
Bwe yali atudde mu nnyumba y'oyo okulya, abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi nabo ne batuula ne Yezu n'abayigirizwa be, kubanga bangi mu bo baali bamugoberera.
16
Abawandiisi b'Abafarisaayo bwe baalaba ng'alya n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi, ne bagamba abayigirizwa be nti: “Lwaki alya n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?”
17
Yezu bwe yawulira, n'abagamba nti: “Abalamu si be beetaaga omusawo, wabula abalwadde. Abatuukirivu si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
18
Kale nno abayigirizwa ba Yowanna n'Abafarisaayo baasiibanga; awo abantu abamu ne bajja, ne bamugamba nti: “Abayigirizwa ba Yowanna Baptista n'abayigirizwa b'Abafarisaayo basiiba, naye lwaki abayigirizwa bo tebasiiba?”
19
Yezu n'abagamba nti: “Ddala abagenyi ku mbaga y'obugole ng'awasizza akyali nabo bayinza okusiiba? Ng'awasizza akyali nabo tebasobola kusiiba.
20
Ennaku zirituuka, awasizza n'abaggyibwako, olwo ku lunaku olwo balisiiba.
21
Tewali muntu atunga kiwero kiggya ku kyambalo kikadde; bw'akola atyo, ekiraka kyeyuza ku kyambalo, ekiggya ne kiva ku kikadde, okuyulika ne kweyongera bweyongezi.
22
Era tewali afuka vviini nsu mu nsawo nkadde; bw'akola atyo, evviini eyabya ensawo, evviini n'efiira bwereere, n'ensawo ne zifa. Naye evviini ensu eteekebwa mu nsawo mpya.”
23
Awo ku Sabbaato emu bwe yali ayita mu nnimiro z'eŋŋano, abayigirizwa be ne batandika okunuula ebirimba by'eŋŋano.
24
Abafarisaayo ne bamugamba nti: “Laba, lwaki bakola ekitakkirizibwa ku Sabbaato?”
25
N'abagamba nti: “Temusomanga Dawudi kye yakola lwe yali mu bwetaavu ng'enjala emuluma, ye n'abaali naye,
26
nga bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu mirembe gya Abiyatari kabona omukulu, n'alya Emigaati gy'Okwolesebwa egyaziranga okuliibwa omuntu omulala yenna, wabula bakabona bokka, n'awaako n'abo abaali naye?”
27
Era n'abagamba nti: “Sabbaato yassibwawo kubeera muntu; sso si muntu kubeera Sabbaato;
28
bw'atyo Omwana w'Omuntu ye mukama era n'owa Sabbaato.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16