bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 5
Mark 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
1
Ne bagenda emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasa.
2
Bwe yava mu lyato, amangu ago omuntu aliko omwoyo omugwagwa, n'ajja okumusisinkana ng'ava mu biggya.
3
Yali asula mu biggya, nga tewali akyayinza kumusiba, newandibadde n'enjegere;
4
emirundi mingi yateekebwako mu masamba ne mu njegere, enjegere n'azikutulakutula, n'amasamba n'agamenyaamenya; tewaali ayinza kumusobola.
5
Bulijjo emisana n'ekiro yabeeranga mu biggya ne mu nsozi ng'awowoggana, ne yeesalaasala n'amayinja.
6
Olwalengera Yezu eri, n'addukanako n'amusinza,
7
n'awowoggana n'eddoboozi ddene nti: “Onjagaza ki ggwe Yezu Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ddala? Nkulabidde Katonda, tombonyaabonya.”
8
Kubanga yali amugamba nti: “Mwoyo ggwe omugwagwa, vva mu muntu ono.”
9
N'amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” N'amugamba nti: “Ggye, lye linnya lyange, kubanga tuli nkumu.”
10
N'amwegayirira nnyo aleme kumugoba mu nsi eyo.
11
Awo okumpi n'olusozi waaliwo eggana ly'embizzi nga lirya;
12
emyoyo ne gimusaba nti: “Tusindike mu ggana ly'embizzi, tuleke tudde omwo.”
13
N'agikkiriza. Awo emyoyo emigwagwa ne givaamu, ne giyingira mu mbizzi; eggana eriweza embizzi ng'enkumi bbiri ne lifubutuka okuva waggulu ku bbanga, ne lyesolessa mu nnyanja, ne lisaanawo mu mazzi.
14
Abaali bazirunda ne badduka, ne bagenda babuulira ab'omu kibuga n'ab'omu byalo. Ne bavaayo ne bagenda okulaba kiki ekyali kiguddewo.
15
Ne bajja awali Yezu, ne balaba omuntu oyo eyali akwatiddwa emyoyo emibi ng'atudde, ayambadde era ng'ategeera bulungi, oyo omusajja eyalimu eggye; ne batya.
16
Abaali balabye ne babanyumiza ebyali bigudde ku yali akwatiddwa emyoyo emibi ne ku mbizzi.
17
Ne batandika okumwegayirira ave mu kitundu kyabwe.
18
Bwe yali asaabala mu lyato, eyali akwatiddwa emyoyo emibi n'amwegayirira abeerenga naye.
19
Naye ye n'atamukkiriza, wabula n'amugamba nti: “Genda ewammwe eri ababo obanyumize Omukama by'akukoledde, nga bw'akusaasidde.”
20
N'agenda, n'atandika okulangirira eri ab'e Dekapoli ebyo Yezu bye yali amukoledde. Bonna ne beewuunya.
21
Yezu bwe yawunguka nate mu lyato, n'ajja emitala, ekibiina ekinene ne kikuŋŋaanira w'ali era ng'ali ku lubalama lw'ennyanja.
22
Awo ne wajjawo omu ku bakulu ba sinaagooga, erinnya lye Yayiro, bwe yamulaba, n'agwa ku bigere bye,
23
n'amwegayirira ng'agamba nti: “Kawala kange kaliko kateetera; jjangu okasseeko emikono gyo kawone, kalamuke.”
24
N'agenda naye. Ekibiina ekinene ne kimugoberera, nga bagenda bamunyigiriza.
25
Waaliwo omukazi eyali alwadde endwadde eya ggerenge emyaka kkumi n'ebiri,
26
ng'abonyaabonyezeddwa nnyo abasawo bangi; yali awaddeyo ebibye byonna, naye nga talungiwako, wabula nga yeeyongera kubeera bubi.
27
Bwe yawulira ebyogerwa ku Yezu, n'ajjira mu kibiina emabega, n'akomako ku kyambalo kye.
28
Kubanga yali agamba nti: “Ne bwe nnaakoma obukomi ku byambalo bye, nzija kuwona.”
29
Amangu ago omusaayi ogwajjanga ne gukalira, n'awulira muli mu mubiri gwe ng'awonye endwadde.
30
Ne Yezu n'awulira nga waliwo amaanyi agamuvuddemu, n'akyukira ekibiina, n'abagamba nti: “Ani akomye ku byambalo byange?”
31
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Naawe olaba ekibiina kikusindiikiriza, n'ogamba nti: ‘Ani ankomyeko?’ ”
32
N'amagamaga alabe ani eyali akikoze.
33
Omukazi bwe yategeera ekikoleddwa mu ye, n'ajja ng'atidde, ng'akankana, n'avunnama ku bigere bye n'amutegeeza amazima gonna.
34
Awo Yezu n'amugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe, owonere ddala endwadde yo.”
35
Yali akyayogera, ne wabaawo abajja okuva ew'omukulu wa sinaagooga, ne bagamba nti: “Muwala wo afudde; omuyigiriza okyamuteganyiza ki ate?”
36
Naye Yezu bwe yawulira ekigambo kye boogedde, n'agamba omukulu wa sinaagooga nti: “Totya, kkiriza bukkiriza.”
37
N'ataganya muntu mulala yenna kumugoberera, okuggyako Petero ne Yakobo ne Yowanna muganda wa Yakobo.
38
Bwe baatuuka ku nnyumba y'omukulu wa sinaagooga, n'alaba oluyoogaano n'abantu abakaaba n'abakuba ebiwoobe ebinene.
39
N'ayingira, n'abagamba nti: “Muyoogaanira ki? Mukaabira ki? Omuwala tafudde, yeebase bwebasi.” Ne bamusekerera.
40
N'abagobera bonna ebweru, awo n'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina na bali abaali naye, n'ayingira omuwala mwe yali.
41
N'akwata omukono gw'omuwala n'amugamba nti: “Talita, kumi,” kwe kugamba nti: “Kawala, nkugamba golokoka.”
42
Amangu ago omuwala n'asituka n'atambula, kubanga yali wa myaka nga kkumi n'ebiri. Amangu ago ne bawuniikirira nnyo.
43
N'abakuutira nnyo wabulewo omuntu akimanyaako; n'abagamba okumuwa ekyokulya.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16