bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 9
Mark 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
1
N'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti waliwo abamu ku bayimiridde wano, abatalirega ku lumbe okutuusa nga balabye obwakabaka bwa Katonda nga bujja n'amaanyi.”
2
Nga wayise ennaku mukaaga, Yezu n'atoola Petero ne Yakobo ne Yowanna, n'abambusa ku lusozi oluwanvu ku bbali bokka, n'afuuka mu maaso gaabwe.
3
Ebyambalo bye ne bimasamasa, nga byeru nnyo, nga tewali na mwozi mu nsi ayinza kubitukuza bw'atyo.
4
Ne balabikirwa Eliya ne Musa; baali boogera ne Yezu.
5
Petero n'agamba Yezu nti: “Rabbi, kirungi ffe okubeera wano; ka tukole wano ensiisira ssatu: emu yiyo, emu ya Musa n'emu ya Eliya.”
6
Yali tamanyi ky'ayogera, kubanga baali batidde nnyo.
7
Ekire ne kijja kibabuutikira; eddoboozi ne liva mu kire, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, mumuwulirenga.”
8
Amangu ago bwe baamagamaga, nga tebakyalaba muntu mulala ali nabo, wabula Yezu yekka.
9
Bwe baali baserengeta olusozi, n'abakuutira obutabuulirako muntu kye balabye, okutuusa Omwana w'Omuntu ng'amaze okuzuukira mu bafu.
10
Ekigambo ne bakyekuumira bokka, naye nga beebuuza 'kiki ng'amaze okuzuukira mu bafu' kye kitegeeza.
11
Ne bamubuuza nti: “Lwaki abawandiisi bagamba nti Eliya alina okusooka okujja?”
12
N'ayanukula nti: “Kituufu Eliya ajja, atereeze byonna; ate kyawandiikibwa kitya ku Mwana w'Omuntu nti: ‘Wa kulaba ennaku nnyingi n'okujolongebwa’?
13
Naye nze mbagamba nti Eliya yajja, wabula ne bamukola kyonna kye baagala nga bwe kyali kimuwandiikiddwako.”
14
Bwe baatuuka awali abayigirizwa be, n'alaba ekibiina kinene ekibeebunguludde, n'abawandiisi nga bawakana nabo.
15
Era amangu ago ekibiina olwalaba Yezu, ne basamaalirira, ne balinnimukira gy'ali, ne bamwaniriza.
16
N'ababuuza nti: “Muwakana ki nabo?”
17
Omu okuva mu kibiina n'ayanukula nti: “Muyigiriza, nkuleetedde mutabani wange aliko omwoyo gukasiru,
18
buli lwe gumukwata, gumukuba ebigwo, n'abimba ejjovu, n'aluma amannyo, n'alambaala. Nasaba abayigirizwa bo bagugobe, ne batayinza.”
19
N'abaddamu nti: “Owa, ezzadde lino eritakkiriza! Ndituusa wa okubeera nammwe? Ndituusa wa okubagumiikiriza? Mumundeetere.”
20
Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba, amangu ago ne gumusikaasikanya, n'agwa ku ttaka, ne yeeziribanga, n'abimba ejjovu mu kamwa.
21
Awo n'abuuza kitaawe nti: “Yaakamala bbanga ki nga kino kimujjira?” Ye n'agamba nti: “Okuva mu buto;
22
ate gumusuula lunye mu muliro ne mu mazzi, gumuzikirize. Naye obanga olina ky'oyinza okukola, tusaasire, otuyambe.”
23
Yezu n'amugamba nti: “Obanga osobola! Byonna bisoboka eri oyo akkiriza.”
24
Amangu ago kitaawe w'omwana n'agamba nti: “Nzikiriza, yamba obutakkiriza bwange.”
25
Yezu bwe yalaba ekibiina nga kikuŋŋaana, n'akabukira omwoyo omubi nti: “Mwoyo ggwe omuggavu gw'amatu, ogutayogera, nze nkulagira, mumaamukeko, ate togezanga kumuddamu.”
26
Ne guwowoggana, ne gumusikaasikanya nnyo, ne gumuvaako, n'aba ng'afudde. Bangi ne bagamba nti: “Afudde.”
27
Naye Yezu n'amukwata ku mukono, n'amugolokosa, n'asituka.
28
Yezu bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza mu kyama nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugugoba?”
29
N'abaddamu nti: “Engeri eno tegobeka, wabula na kwegayirira.”
30
Ne bava eyo, ne basalira mu Galilaaya, nga tayagala wabeerewo akimanya,
31
Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa be, ng'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; bw'alimala okuttibwa, nga wayise ennaku ssatu alizuukira.”
32
Naye bo ne batategeera kigambo ekyo, ate baali batya okumubuuza.
33
Ne batuuka e Kafarunawumu. Bwe yali mu nnyumba, n'ababuuza nti: “Mu kkubo mubadde mwogera ku ki?”
34
Bo ne basirika, kubanga mu kkubo baali bawakana bokka na bokka ku ani asinga obukulu mu bo.
35
N'atuula, n'ayita Ekkumi n'Ababiri, n'abagamba nti: “Buli ayagala okubeera omubereberye, abeere muvannyuma mu bonna, era muweereza wa bonna.”
36
Awo n'akwata omwana omuto n'amuyimiriza mu makkati gaabwe, n'amukwata mu mikono gye, n'abagamba nti:
37
“Buli ayaniriza omwana omuto ng'ono mu linnya lyange, aba ayanirizza nze; na buli annyaniriza, tayaniriza nze, wabula ayaniriza oli eyantuma.”
38
Awo Yowanna n'amugamba nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi mu linnya lyo, ne tumuziyiza, kubanga yali tayita naffe.”
39
Yezu n'agamba nti: “Muleke kumuziyiza; kubanga tewali akola kikolwa kya maanyi mu linnya lyange ate ayinza amangu ago okunjogerako obubi.
40
Kubanga oyo atatuwakanya, aba ku ludda lwaffe.
41
“Buli alibawa ekikopo ky'amazzi olw'erinnya nti muli ba Kristu, mazima ka mbabuulire, talibulwa mpeera ye.
42
Naye buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze obulungi ku ye, lwe lubengo olunene okusibibwa mu bulago bwe n'asuulibwa mu nnyanja.
43
Era obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko; waakiri oyingire mu bulamu ng'oli wa kikuggu, n'otosuulibwa mu Geyenna ng'olina emikono gyombi, mu muliro ogutazikira.
45
Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; waakiri oyingire mu bulamu obutaggwaawo ng'oli mulema n'otogenda mu Geyenna ng'olina ebigere byombi.
47
Era obanga eriiso lyo likwesittaza, linokolemu; waakiri oyingire mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Geyenna ng'olina amaaso gombi,
48
eyo envunyu yaabwe mw'etefiira, n'omuliro mwe gutazikira.
49
Kubanga buli omu alungwamu omuliro.
50
Omunnyo guba mulungi, naye omunnyo bwe gusaabulukuka, munaagulunga naki? Mubeere n'omunnyo mu mmwe, n'emirembe mubeere nagyo mwekka na mwekka.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16