bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 10
Mark 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
1
Eyo n'avaayo, n'ajja mu bitundu bya Buyudaaya n'emitala wa Yorudani; ebibiina ne bikuŋŋaanira w'ali nate, era n'abayigiriza nga bwe yali amanyidde okukola.
2
Abafarisaayo ne basembera w'ali ne bamubuuza nti: “Omusajja akkirizibwa okugoba mukazi we?”
3
N'abaanukula nti: “Musa yabalagira ki?”
4
Ne bagamba nti: “Musa yakkiriza omusajja okumuwandiikira ebbaluwa ey'obugobe n'okumusiibula.”
5
Yezu n'abagamba nti: “Musa yalagira ekiwandiiko ekyo olw'okubeera obukakanyavu bw'emitima gyammwe;
6
naye okuva mu masooka g'okutondebwa Katonda yabakola omusajja n'omukazi.
7
Olw'ekyo omusajja kyaliva alirekanga kitaawe ne nnyina n'agattibwa ne mukazi we,
8
ababiri balifuuka omubiri gumu. Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu.
9
Awo nno Katonda ky'aggasse awamu, omuntu takigattululanga.”
10
Mu nnyumba abayigirizwa be ne baddamu okumubuuza ku kigambo ekyo.
11
N'abagamba nti: “Buli agoba mukazi we n'awasa omulala, aba ayenze eri mukazi we;
12
n'omukazi singa anoba ku bba, n'afumbirwa omulala, aba ayenze.”
13
Awo ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne babakomako.
14
Yezu bwe yabalaba, n'anyiiga, n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza; kubanga abafaanana nga bano be bannannyini bwakabaka bwa Katonda.
15
Mazima mbagamba nti yenna atayaniriza bwakabaka bwa Katonda nga mwana muto, talibuyingiramu n'akamu.”
16
N'abakwata mu mikono gye, n'abawa omukisa ng'abassaako emikono.
17
Bwe yali yaakessa mu kkubo, omu n'amweyuna, n'amufukaamirira, n'amubuuza nti: “Muyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”
18
Yezu n'amugamba nti: “Ompitidde ki omulungi? Teri mulungi okuggyako Katonda yekka.
19
Ebiragiro obimanyi: ‘Tottanga; Toyendanga; Tobbanga; Tojuliranga bya bulimba; Tolyakulanga; Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ ”
20
Ye n'ayanukula, n'amugamba nti: “Muyigiriza, ebyo byonna nabikwata okuva mu buto bwange.”
21
Yezu n'amwekaliriza, n'amwagala, n'amugamba nti: “Okyabulwako kimu: genda, tunda by'olina owe abaavu, obugagga olibeera nabwo mu ggulu, ojje ongoberere.”
22
Naye oli ne yennyika olw'ekigambo ekyo; n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina eby'obugagga bingi.
23
Awo Yezu ne yeebunguluza amaaso, n'agamba abayigirizwa be nti: “Nga kiriba kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”
24
Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo ebyo. Yezu era n'addamu n'abagamba nti: “Obwana, nga kizibu okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
25
Kiba kyangu eŋŋamiya okuyita mu nnyindo y'empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
26
Bo ne bawuniikirira n'okusingawo ne bagambagana nti: “Awo nno ani asobola okulokoka?”
27
Yezu n'abatunuulira, n'abagamba nti: “Ku bantu kino tekisoboka, naye si ku Katonda; kubanga ku Katonda byonna bisoboka.”
28
Petero n'asooka okumugamba nti: “Kale ffe twaleka byonna ne tukugoberera.”
29
Yezu n'ayanukula nti: “Mazima mbagamba nti tewali muntu yaleka nnyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba baana, oba bibanja okubeera nze n'okubeera Evangili,
30
atalifuna mu nsi muno mirundi kikumi nnyumba, baganda be, bannyina, bazadde abakazi, abaana ko n'okuyigganyizibwa, ate mu mirembe egirijja obulamu obutaggwaawo.
31
Naye bangi ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma, n'ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye.”
32
Awo baali mu kkubo, nga bambuka e Yeruzaalemu, Yezu nga y'abakulembedde; nga bawuniikirivu, abamugoberera nga batya. N'azza ebbali Ekkumi n'Ababiri n'asooka okubabuulira ebigenda okumujjira,
33
n'agamba nti: “Tuutuno twambuka e Yeruzaalemu; Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira ogw'okufa ne bamukwasa ab'amawanga;
34
balimuduulira ne bamufujjira amalusu, balimuswanyuula era balimutta, naye oluvannyuma lw'ennaku ssatu alizuukira.”
35
Awo Yakobo ne Yowanna batabani ba Zebedaayo ne basembera w'ali, ne bagamba nti: “Muyigiriza, twagala otukolere kyonna kye tunaakusaba.”
36
Ye n'abagamba nti: “Mwagala mbakolere ki?”
37
Ne bagamba nti: “Tuwe tutuule omu ku mukono gwo ogwa ddyo n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono mu kitiibwa kyo.”
38
Yezu n'abagamba nti: “Kye musaba temukimanyi. Muyinza okunywa ekikompe kye nnywa oba okubatizibwa batismu gye mbatizibwa?”
39
Bo ne bamugamba nti: “Tuyinza.” Yezu n'abagamba nti: “Weewaawo ekikompe kye nnywa nammwe mulikinywa, ne batismu gye mbatizibwa nammwe muligibatizibwa,
40
naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku mukono gwange ogwa kkono okukibawa si mulimu gwange, wabula kiriweebwa abo be kyategekerwa.”
41
Ekkumi bwe baawulira, ne basooka okunyiigira ab'oluganda Yakobo ne Yowanna.
42
Yezu n'abayita w'ali, n'abagamba nti: “Mumanyi ng'abo abalowoozebwa okuba abafuzi b'amawanga bagalaga obuyinza, n'abakulu baabwe babafuza maanyi;
43
sso mu mmwe si bwe kiri. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeere muweereza wammwe;
44
ayagala okubeera omubereberye mu mmwe, abeere muddu wa bonna.
45
Era ng'Omwana w'Omuntu, teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza n'okuwaayo obulamu bwe ng'omutango ku lw'abangi.”
46
Ne batuuka e Yeriko. Bwe yali ava mu Yeriko ng'ali n'abayigirizwa be n'ekibiina kinene, Barutimayo mutabani wa Timayo, omusabiriza muzibe, yali atudde ku kkubo.
47
Bwe yawulira nti yali Yezu ow'e Nazareti, n'atandika okukoowoola nti: “Yezu, Omwana wa Dawudi, nsaasira!”
48
Bangi ne bamukomako, ne bamugamba asirike, naye ye n'aleekaana nnyo n'okusingawo nti: “Omwana wa Dawudi, nsaasira!”
49
Yezu n'ayimirira, n'agamba nti: “Mumuyite.” Ne bayita muzibe, ne bamugamba nti: “Guma omwoyo, situka, akuyita.”
50
Ye n'asuula eri omunagiro gwe, n'asituka n'ajja gy'ali.
51
Yezu n'amugamba nti: “Oyagala nkukolere ki?” Muzibe n'amugamba nti: “Muyigiriza, ndabe.”
52
Yezu n'amugamba nti: “Weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangu ago n'addamu okulaba, n'agenda ng'amugoberera mu kkubo.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16