bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 16
Mark 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
1
Sabbaato ng'emaze okuyita, Mariya ow'e Magudala ne Mariya owa Yakobo ne Salome ne bagula ebyakaloosa bagende bamuzirage.
2
Mu matulutulu, ku lusooka mu wiiki, ne batuuka ku ntaana, enjuba ng'evuddeyo.
3
Baali bagambagana nti: “Ani anaatuyiringisizaawo ejjinja ku mulyango gw'entaana?”
4
Bwe baatunula, ne balaba ng'ejjinja lyayiringisiddwawo; kubanga lyali ddene nnyo.
5
Ne bayingira mu ntaana, ne balaba omuvubuka ng'atudde ku mukono ogwa ddyo, ng'ayambadde ekkanzu enjeru. Ne bawuniikirira.
6
Ye n'abagamba nti: Muleke kusamaalirira nnyo; munoonya Yezu ow'e Nazareti eyakomererwa ku musaalaba, azuukidde, muno taliimu; mulabe ekifo mwe yabadde ateekeddwa.
7
Kale mugende, mubuulire abayigirizwa be ne Petero nti: “Abeesooseeyo mu Galilaaya; eyo gye mulimulabira, nga bwe yabagamba.”
8
Ne bafuluma, ne badduka mu ntaana; kubanga baali bakankana nga bawuniikiridde; ne batabuulira n'omu kintu; kubanga baali batidde.
9
Bwe yazuukira ku makya ku olwo olusooka mu wiiki, yasooka kulabikira Mariya ow'e Magudala gwe yali agobyemu emyoyo emibi omusanvu.
10
Ye n'agenda n'abuulira abaabeeranga naye, abaali mu kunyolwa ne mu kukaaba.
11
Naye bo bwe baawulira nti mulamu n'okumulaba amulabyeko, ne batakikkiriza.
12
Oluvannyuma, n'alabikira mu nfaanana endala bannaabwe babiri abaali batambula nga bagenda mu kyalo.
13
Era n'abo ne bagenda babuulira abalala, naye ne batabakkiriza.
14
Oluvannyuma, n'alabikira bennyini ekkumi n'omu nga batudde balya. N'abavunaana obutakkiriza bwabwe n'obukakanyavu bw'emitima, kubanga baali bagaanyi okukkiriza bali abaali bamulabye ng'azuukidde.
15
Era n'abagamba nti: “Mugende mu nsi yonna, mulangirire Evangili eri buli kitonde.
16
Alikkiriza n'abatizibwa alirokoka; aligaana okukkiriza alisalirwa omusango okumusinga.
17
Abalikkiriza obubonero buno bulibagenderako: mu linnya lyange baligoba emyoyo emibi, balyogera ennimi engwira;
18
balikwata emisota, ne bwe balinywa obutwa, tebulibakola kabi, balissa emikono ku balwadde ne bawona.”
19
Omukama Yezu bwe yamala okwogera nabo, n'alinnyisibwa mu ggulu, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
20
Bo ne bagenda ne bayigiriza buli wantu, Omukama ng'akolera wamu nabo, ebigambo byabwe ng'abikakasa n'obubonero obwabigenderangako.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16