bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 6
Mark 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
1
Ate n'ava awo n'agenda mu nsi yaboobwe; abayigiriza be ne bamugoberera.
2
Ku lunaku lwa Sabbaato n'atandika okuyigiriza mu sinaagooga; bangi bwe baawulira, ne bawuniikirira olw'enjigiriza ye, ne bagamba nti: “Omuntu ono yaggya wa ebintu bino? Magezi ki agaamuweebwa? Bikolwa bya maanyi ki bino ebikolebwa n'emikono gye?
3
Ono si ye mubazzi, mutabani wa Mariya, era muganda wa Yakobo ne Yoze ne Yuda ne Simoni? Bannyina bonna tebali kwaffe?” Ne bamwesittalako.
4
Yezu n'abagamba nti: “Omulanzi tabulwa kitiibwa wabula mu kyalo kyaboobwe, mu b'oluganda lwe ne mu nnyumba y'ewaabwe.”
5
Teyasobola kukolerayo bikolwa bya maanyi; wabula yassa emikono ku balwadde abatonotono n'abawonya.
6
Ne yeewuunya obutakkiriza bwabwe. Ne yeetooloola mu byalo ng'ayigiriza.
7
Awo n'ayita Ekkumi n'Ababiri, n'atandika okubatuma kinnababirye, n'abawa obuyinza ku myoyo emigwagwa.
8
N'abalagira obutatwala kantu mu kkubo, wabula omuggo gwokka; si nsawo, newandibadde omugaati, newandibadde ffeeza mu misipi gyabwe;
9
wabula bambale musaasaane, era baleme kwambala kkanzu bbiri.
10
Ate n'abagamba nti: “We muyingiranga mu nnyumba, mubeeranga omwo okutuusa lwe muvaayo.
11
Ekifo kyonna we banaagaananga okubaaniriza, ne bagaana okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo, mukunkumulanga enfuufu eri ku bigere byammwe ng'obujulizi obubalumiriza.”
12
Ne bagenda ne balangirira abantu beenenye.
13
Ne bagoba emyoyo emibi, abalwadde bangi ne babasiiga omuzigo ne babawonya.
14
Awo Erode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lya Yezu lyali lyatiikiridde. Abamu baali bagamba nti “Yowanna eyabatizanga azuukiziddwa mu bafu; amaanyi g'okukola ebikolwa eby'amaanyi kyegava gakola mu ye.”
15
Abalala ne bagamba nti: “Ye Eliya” Ko abalala nti: “Ye mulanzi, ng'omu ku balanzi.”
16
Ye Erode bwe yawulira ebyo, n'agamba nti: “Yowanna gwe natemako omutwe azuukidde.”
17
Kubanga Erode yali atumye bakwate Yowanna, n'amussa mu kkomera olw'okubeera Erodiya muka Filippo muganda we gwe yali awasizza.
18
Kubanga Yowanna yagambanga Erode nti: “Tokkirizibwa kwezza muka muganda wo.”
19
Erodiya yamulinako ekkonda ng'ayagala okumutta, naye n'atasobola,
20
Kubanga Erode yali atya Yowanna, ng'amumanyi bw'ali omuntu omutuufu era omutuukirivu; n'amukuumanga. Bwe yamuwuliranga, ng'asoberwa nnyo, kyokka ng'asanyuka okumuwulira.
21
Naye olunaku olw'akakisa ne lutuuka: Erode ku mazaalibwa ge n'afumbira abakungu be embaga, n'abakulu b'eggye lye n'abaami mu Galilaaya.
22
Muwala wa Erodiya n'ayingira n'azina, n'asanyusa Erode n'abaali batudde naye. Kabaka n'agamba omuwala nti: “Nsaba kyonna ky'oyagala, nzija kukikuwa.”
23
N'amulayirira n'okumulayirira nti: “Kyonna ky'onoosaba nnaakikuwa, yadde ekitundu ky'obwakabaka bwange.”
24
Omuwala n'afuluma, n'agamba nnyina nti: “Nsabe ki?” Nnyina n'amugamba nti: “Omutwe gwa Yowanna eyabatizanga.”
25
Amangu ago n'ayanguwako okudda eri kabaka, n'asaba ng'agamba nti: “Njagala ompe kati wano ku ssowaani omutwe gwa Yowanna Batista.”
26
Kabaka n'anakuwala nnyo; naye okubeera ebirayiro bye, n'okubeera abagenyi be, n'atayagala kumenyawo kye yamusuubiza.
27
Amangu ago n'atumya omumbowa, n'amulagira okuleeta omutwe gwa Yowanna. Omusajja n'agenda n'amutemako omutwe mu kkomera,
28
n'aleeta omutwe gwe ku ssowaani, n'aguwa omuwala, omuwala ye n'aguwa nnyina.
29
Abayigirizwa be bwe baawulira, ne bajja, ne batwala omulambo gwe, ne bagussa mu ntaana.
30
Abatume ne badda awali Yezu, ne bamunyumiza byonna bye baakola ne bye baayigiriza.
31
Ye n'abagamba nti: “Mujje ku mabbali, mu kifo ekyesudde, muwummuleko katono.” Kubanga bangi baali bajja nga bwe bagenda, nga tebalina na bbanga lya kulya.
32
Ne basaabala mu lyato, ne bagenda mu kifo ekyesuddeko ebbali bokka.
33
Abantu ne babalaba nga bagenda, bangi ne bamanya; ne bava mu byalo byonna, be baddukira ku bigere, ne babeesookayo.
34
Yezu bwe yagoba ku mwalo, n'alaba ekibiina kinene; ne bamukwasa ekisa, kubanga baali ng'endiga ezitaliiko musumba; n'atandika okubayigiriza ebintu bingi.
35
Obudde bwe bwagenda bweyerawo, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bagamba nti: “Ekifo kino kyesudde, n'obudde buyise;
36
basiibule bagende mu nnimiro ezitwetoolodde ne mu byalo beegulireyo kye banaalya.”
37
Ye n'abaddamu nti: “Mmwe mubawe kye banaalya.” Ne bamugamba nti: “Tugende tugule emigaati egiweza dinaari ebibiri tugibawe balye?”
38
Ye n'abagamba nti: “Mulinawo emigaati emeka? Mugende mulabe.” Bwe baazuula, ne bamugamba nti: “Etaano, ko n'ebyennyanja bibiri.”
39
N'abalagira babatuuze bonna mu bibinja ku muddo.
40
Ne batuula mu bibinja bya kikumi kikumi n'ataano ataano.
41
Awo n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula ku ggulu, ne yeebaza, emigaati n'agimenyamu, n'agikwasa abayigirizwa be bagigabire abantu; n'ebyennyanja n'abigabira bonna.
42
Bonna ne balya ne bakkuta.
43
Ne baggyawo ebisero kkumi na bibiri ebijjudde obutundutundu n'ebyennyanja.
44
Abaalya emigaati baali abasajja enkumi ttaano.
45
Amangu ago n'awaliriza abayigirizwa be okusaabala mu lyato, bakulemberemu, balage emitala w'eri e Betisayida, ye nga bw'asiibula ekibiina.
46
Bwe yamala okubasiibula, n'ayambuka ku lusozi okwegayirira.
47
Obudde bwe bwawungeera, eryato lyali likyali mu buziba, ye ng'ali yekka ku ttale.
48
N'alaba nga bategana okuvuga, kubanga empewo yali ebafuluma mu maaso. Mu kisisimuka ekyokuna, n'ajja gye bali ng'atambula ku nnyanja; n'aba ng'ayagala okubayitako.
49
Naye bo bwe baamulaba ng'atambula ku nnyanja, ne balowooza nti muzimu, ne bawowoggana,
50
Kubanga bonna baamulaba, ne batya. Amangu ago n'ayogera gye bali, n'abagamba nti: “Mugume; ye Nze. Temutya.”
51
N'asaabala mu lyato mwe baali; empewo n'ekoma; ne bongera nnyo okuwuniikirira,
52
Kubanga n'eky'emigaati baali tebakitegedde; emitima gyabwe gyali gigubye.
53
Bwe baawunguka, ne batuuka mu nsi y'e Gennesareti, ne bagoba.
54
Bwe baava mu lyato, abantu ne bamutegeera mangu.
55
Ne bayitaayita mangu mu nsi eyo yonna, ne batandika okusombera abalwadde ku nnyinyo wonna we baamuwuliranga.
56
Buli we yalaganga, mu mayumba oba mu byalo, oba mu bibuga, nga bateeka abalwadde mu mbuga ne bamwegayirira yadde bakome ku lukugiro lw'ekyambalo kye; bonna abaalukomako ne bawona.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16