bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 13
Mark 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
1
Bwe yali afuluma mu Kiggwa, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Muyigiriza, laba amayinja amakula! Laba ebizimbe amakula!”
2
Yezu n'ayanukula, n'amugamba nti: “Olaba ebizimbe bino gaggadde? Wano tewalisigala jjinja liri ku linnaalyo litalisuulibwa wansi.”
3
Bwe yali atudde ku Lusozi lw'Oliva, emitala w'Ekiggwa, Petero, Yakobo, Yowanna ne Andureya ne bamubuuza mu kyama nti:
4
“Tubuulire, ebyo birituuka ddi, ate kabonero ki akalyoleka ng'ebyo byonna binaatera okutuukirizibwa?”
5
Yezu n'asooka okubagamba nti: “Mwekkaanye, tewabaawo abawubisa;
6
Bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti: ‘Nze nzuuyo!’ era baliwubisa bangi.
7
Kale bwe muwuliranga entalo n'eŋŋambo z'entalo, temwekanganga. Ebyo tebirirema kubaawo; naye yo enkomerero eriba tennatuuka.
8
Kubanga eggwanga lirisitukira mu linnaalyo, n'obwakabaka mu bunnaabwo; walibaawo musisi mu bifo ebimu, n'enjala erigwa; naye ebyo byonna kwe kusookereza kw'okulumwa.
9
Awo nno mwerinde, kubanga balibawaayo mu nkiiko, balibakubira mu sinaagooga; mulisimbibwa mu maaso g'abalamuzi n'aga bakabaka okubeera nze mujulire mu maaso gaabwe.
10
Anti Evangili eteekwa okusooka okubuulirwa amawanga gonna.
11
Ate bwe babatwalanga ne babawaayo, temweraliikiriranga kye munaagamba. Mwogere kye munaaweebwanga mu kaseera ako, kubanga si mmwe munaabanga mwogera, wabula Mwoyo Mutuukirivu.
12
Ow'oluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana, omwana we; abaana balisitukira mu babazaala ne babawaayo battibwe.
13
Mulikyayibwa bonna olw'okubeera erinnya lyange. Naye aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero, alirokoka.
14
“Era bwe muliraba ekyenyinyalwa ekizikiriza nga kiri we kitasaanidde kubeera, asoma bino ategeere, olwo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi,
15
aliba ku kasolya waggulu takkanga kuyingira mu nnyumba ye kuggyamu kantu;
16
n'alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala munagiro gwe.
17
Zibasanze abo abaliba embuto n'abayonsa mu nnaku ezo!
18
Kyokka mwegayirire ebyo bireme kubaawo mu budde bwa butiti.
19
Kubanga mu nnaku ezo mulibaamu ebibonoobono bingi, ebitabangawo okuva mu masooka g'okutondebwa Katonda lwe yatonda n'okutuusa kati, era tebiribaawo nate.
20
Era singa Omukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonye muntu n'omu; naye olw'okubeera abalondemu abo be yeeroboza, ennaku ezo yazikendezaako.
21
“Awo nno bwe wabangawo abagamba nti: ‘Laba, Kristu wuuno wano,’ oba nti: ‘Laba, wuuli wali!’ temukkirizanga.
22
Kubanga Bakristu ab'obulimba n'abalanzi ab'obulimba bagenda kusituka; balikola obubonero n'ebyewuunyisa okuwubisa newandibadde abalondemu, singa kiyinzika.
23
Mmwe nno mwerinde; byonna mbibabuuliriddewo.
24
“Mu nnaku ezo, ebibonoobono bwe biriba byakaggwa, enjuba eriddugala, omwezi gulirekayo okwaka,
25
emmunyeenye ez'omu ggulu zirigwa okuva ku ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa.
26
Awo baliraba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi mangi n'ekitiibwa.
27
Alituma bamalayika be ne bakuŋŋaanya abalonde be okuva mu njuyi ennya, okuva ensi gy'ekoma okutuuka eggulu gye likoma.
28
“Mulabire ku mukunyu: ettabi lyagwo bwe lidda obuto, ne lissaako amakoola, mutegeera ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka.
29
Nammwe nno bwe mulabanga ebyo byonna bibaawo, mumanyanga nti ali kumpi, ku miryango kwennyini.
30
Mazima mbagamba nti ezzadde lino teririggwaawo ebyo byonna nga tebinnatuukirira.
31
Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
32
“Kyokka olunaku lwennyini oba akadde tewali abimanyi, newandibadde bamalayika mu ggulu, yadde Mwana, wabula Taata yekka.
33
Mubeere bulindaala, mutunule, kubanga temumanyi kaseera.
34
Kiri ng'omuntu eyali agenda olugendo, bwe yali ava awaka, obuvunaanyizibwa n'abukwasa abaweereza be, buli omu omulimu gwe, n'omuggazi n'amulagira okutunula.
35
Mutunule nno, kubanga temumanyi nnannyinimu w'alituukira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba mu nkoko, oba ku makya;
36
bw'alibagwako, aleme kusanga nga mwebase.
37
Kye ŋŋamba mmwe, nkigamba bonna: Mutunule.”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16