bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 15
Mark 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
1
Amangu ago obudde nga bwakakya, bakabona abakulu, abakadde, abawandiisi n'olukiiko lwonna ne bateesa, ne basiba Yezu, ne bamutwala, ne bamukwasa Pilato.
2
Awo Pilato n'amubuuza nti: “Ggwe kabaka w'Abayudaaya?” N'addamu nti: “Oyogedde.”
3
Awo bakabona abakulu ne bamuwawaabira ebintu bingi.
4
Pilato n'amubuuza ogwokubiri nti: “Toliiko ky'oddamu? Laba bye bakulumiriza nga bwe biri ebingi!”
5
Naye Yezu era teyamwanukula kigambo; Pilato ne yeewuunya.
6
Naye ku mbaga enkulu yabateeranga omu ku basibe gwe baasabanga.
7
Waaliwo omu eyali ayitibwa Barabba, ng'asibiddwa mu kkomera wamu n'abajeemu abaali batemudde abantu mu kasambattuko.
8
Ekibiina bwe kyamala okwambuka, ne basaba abakolere nga bw'abakolera bulijjo.
9
Awo Pilato n'addamu n'abagamba nti: “Kale, mwagala mbateere kabaka w'Abayudaaya?”
10
Kubanga yali amanyi nga bakabona abakulu baali bamuleesezza buggya.
11
Naye bakabona abakulu ne bavujjuula ekibiina waakiri abateere Barabba.
12
Pilato n'addamu okubagamba nti: “Kale, ono gwe muyita kabaka w'Abayudaaya mmukole ntya?”
13
Bo ne bayoogaana buggya nti: “Mukomerere ku musaalaba.”
14
Pilato n'agamba nti: “Ddala yakola kibi ki?” Bo ne beeyongera okukaalaama nti: “Mukomerere ku musaalaba.”
15
Awo Pilato olw'okwagala okusanyusa ekibiina, n'abateera Barabba. Yezu n'amukuba enkoba, n'amuwaayo akomererwe ku musaalaba.
16
Awo abaserikale ne bamutwala mu lubiri munda, ye Purayitoriyo, ne bakuŋŋaanyizaayo ekibinja ky'abaserikale kyonna,
17
ne bamwambaza omunagiro ogwa kakobe, ne bazinga omuge ogw'amaggwa, ne bagumussaako;
18
ne batandika okumulamusa nti: “Mirembe, kabaka w'Abayudaaya.”
19
Ne bamukuba mu mutwe n'olumuli, ne bamufujjira amalusu, ne bamufukaamirira ne bamusinza.
20
Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu omunagiro ogwa kakobe, ne bamwambaza engoye ze, ne bamufulumya bamutwale okumukomerera ku musaalaba.
21
Ne bawaliriza omusajja omuyise, Simoni ow'e Kureni, eyali ava mu kyalo, ye kitaawe wa Alekisanduro ne Rufo, ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwe.
22
Ne bamuleeta mu kifo ekiyitibwa Golugota, ekitegeeza 'ekifo ky'akawanga'.
23
Ne bamuwa evviini okunywa ng'etabuddwamu mirra; naye n'atanywa.
24
Ne bamukomerera ku musaalaba, ne bagabanyaamu ebyambalo bye nga babikubako akalulu balabe buli omu ky'anaatwala.
25
Essaawa yali ya kusatu we baamukomererera ku musaalaba;
26
n'ekiwandiiko ky'omusango gwe ne kiwandiikibwa nti: KABAKA W'ABAYUDAAYA.
27
Ne bamukomerera n'abanyazi babiri omu ku ddyo, omulala ku kkono.
29
Abayise ne bamusekerera, ne bamunyeenyeza omutwe nga bagamba nti: “Ha, ggwe amenya Ekiggwa kya Katonda n'okizimba mu nnaku ssatu?
30
Weewonye! kka ove ku musaalaba.”
31
Ne bakabona abakulu n'abawandiisi nabo ne bamuduulira nga bagamba nti: “Yawonyanga balala; ye tayinza kwewonya.
32
Kristu Kabaka wa Yisirayeli, akke ave ku musaalaba tulyoke tumukkirize.” N'abanyazi abaali bakomereddwa naye, ne bamuvuma.
33
Essaawa bwe zaawera mukaaga, enzikiza n'ebikka ensi yonna okutuusa ku ssaawa eyoomwenda.
34
Ku ssaawa eyoomwenda, Yezu n'aleekaana n'eddoboozi ddene nti: “Eloyi, Eloyi, lama sabakitani?” ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
35
Abamu ku baali bayimiridde awo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Wulira ayita Eliya.”
36
Awo omu n'adduka, n'annyika ekyangwe mu nkaatu, n'akitunga ku lumuli, n'amuwa anywe, nga bw'agamba nti: “Muleke, ka tulabe oba Eliya anajja okumuwanulayo.”
37
Naye Yezu n'akoowoola n'eddoboozi ddene, n'assa omukka omuvannyuma.
38
Awo olutimbe lw'omu Kiggwa ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi.
39
Senturiyo eyali ayimiridde awo mu maaso bwe yalaba bw'akoowodde atyo ng'assa omukka omuvannyuma, n'agamba nti: “Omuntu ono mazima abadde Mwana wa Katonda!”
40
Era waaliwo n'abakazi abaali balengera nga bayima walako; mu bo mwalimu Mariya ow'e Magudalena ne Mariya nnyina Yakobo omuto ne Yoze, ne Salome,
41
abaayitanga naye ng'akyali mu Galilaaya, nga bamuweereza. Waaliwo n'abakazi abalala bangi abaali bambuse naye e Yeruzaalemu.
42
Bwe bwawungeera, ate olunaku olwo nga lwe lw'Okuteekateeka, kwe kugamba, olunaku olukulembera Sabbaato,
43
ne wajjawo Yozefu ow'e Arimateya, omukiise mu Lukiiko assibwamu ekitiibwa, era naye yali alindirira obwakabaka bwa Katonda, n'aguma, n'agenda eri Pilato, n'asaba omubiri gwa Yezu.
44
Pilato ne yeewuunya okulaba nga yafudde dda; n'ayita Senturiyo n'amubuuza obanga yafudde dda.
45
Senturiyo bwe yamala okukakasa, omulambo n'aguwa Yozefu.
46
Yozefu n'agula essuuka, n'amuwanulayo, n'amuzinga mu ssuuka, n'amuteeka mu ntaana eyali ensime mu lwazi, n'ayiringisiza ejjinja ku mulyango gw'entaana.
47
Mariya Magudalena ne Mariya owa Yoze baalaba we yali ateekeddwa.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16