bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 4
Mark 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
1
N'atandika ate okuyigiriza ku mabbali g'ennyanja; ekibiina kinene ne kimukuŋŋaanirako, ye kwe kusaabala mu lyato n'atuula omwo ku nnyanja, ekibiina kyonna ne kibeera emitala ku lubalama.
2
N'abayigiriza bingi mu ngero; mu kubayigiriza n'abagamba nti:
3
“Muwulirize; omusizi yafuluma okusiga ensigo.
4
Yali asiga, ensigo emu n'egwa ku kkubo, ebinyonyi ne bijja ne bigirya.
5
Endala n'egwa ku luyinjayinja w'etaalina ttaka lingi; amangu ago n'emeruka, olw'obutaba na ttaka ggwanvu;
6
enjuba bwe yavaayo, n'ewotoka; olw'obutaba na mirandira, n'ekala.
7
Endala n'egwa mu maggwa, amaggwa ne gaduuma, ne gagifuuwa, n'etabala.
8
Endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zireeta ebibala; zaameruka, ne zikula, ne zibala, emu n'ebalamu asatu, endala nkaaga n'endala kikumi.”
9
N'agamba nti: “Alina amatu okuwulira, awulire.”
10
Bwe yali asigadde yekka, ekkumi n'ababiri abaali naye ne bamubuuza ku ngero.
11
Ye n'abagamba nti: “Mmwe mwaweebwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda; naye bali abali ebweru byonna bibabuulirwa mu ngero;
12
“okutunula batunule naye nga tebalaba, okuwulira bawulire naye nga tebategeera; baleme kudda nate basonyiyibwe.”
13
N'abagamba nti: “Olugero olwo temulutegedde? Kale engero endala zonna munaazitegeera mutya?
14
Omusizi asiga ekigambo.
15
Bano be bali ku kkubo, ekigambo kwe kisigibwa, beebo bwe bawulira, naye mangu ago Sitaani ajja n'akwakkula ekigambo ekibasigiddwamu.
16
Mu ngeri ye emu abaasigibwa mu ttaka ery'oluyinjayinja beebo bwe bawulira ekigambo, bakikkiriza mangu n'essanyu,
17
naye kubanga tebalina mirandira mu bo, bagumiikiriza akabanga, naye bwe wagwawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, beesittala mangu.
18
Abalala beebo abasigibwa mu maggwa: beebo abawulira ekigambo,
19
naye okweraliikirira okw'ensi n'okuguya okw'obugagga, n'okwegomba ebirala, bwe bibayingiramu, bituga ekigambo ne kitabala.
20
Abaasigibwa mu ttaka eddungi beebo abawulira ekigambo ne bakikkiriza, ne baleeta ebibala: ekimu ne kibala asatu, ekirala nkaaga, n'ekirala kikumi.”
21
Era n'abagamba nti: “Ettawaaza ereetebwa mu nnyumba kussibwa mu kibbo, yadde wansi mu kitanda, oba ku kikondo?
22
Kubanga mpaawo kyakisibwa, wabula nga lwa kwolesebwa; wadde kyakwekebwa, wabula nga lwa kujja mu kitangaala.
23
Oba oli alina amatu okuwulira, awulire.”
24
Era n'abagamba nti: “Mwekkaanye bye muwulira. Ekipimo kye mugera nammwe kye kiribagererwa, n'okwongerwa ne mwongerwa.
25
Kubanga alina alyongerwako; ate buli atalina, ne ky'alina kirimuggyibwako.”
26
Era n'abagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda buli ng'omuntu bw'amansa ensigo ku ttaka,
27
ne yeebaka, n'agolokoka ekiro n'emisana; yo ensigo n'emeruka, n'ekula, ye nga tamanyi bw'ekikola.
28
Kubanga ettaka libaza ku bwalyo; okusooka lireeta olusubi, ne kuddako ekirimba, oluvannyuma empeke mu kirimba.
29
Ate ekibala bwe kituuka, amangu ago n'assaako ekiwabyo, anti ng'okukungula kutuuse.”
30
Era n'abagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeranya ku ki? Lugero ki lwe tunaabuleetera?
31
Tunaabugeza ku mpeke ya kaladaali; bw'esigibwa mu ttaka, y'eba esingayo obutono mu nsigo eziri ku nsi;
32
naye bw'esigibwa, ekula n'egejja okusinga emiddo gyonna; esuula amatabi amanene, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bisobola okusula mu kisiikirize kyayo.”
33
N'abayigiriza era ekigambo mu ngero nnyingi ezifaananako ng'ezo, nga bwe baayinzanga okukiwulira.
34
Teyabagambanga kintu wabula mu ngero; kyokka bwe yabanga n'abayigirizwa be, ng'abannyonnyola byonna bokka.
35
Ate ku lunaku olwo, obudde bwe bwawungeera, Yezu n'abagamba nti: “Tusomoke, tulage emitala.”
36
Bwe baaleka ekibiina, ne bamutwala mu lyato nga bwe yali, n'amaato amalala gaali naye.
37
Awo omuyaga gw'empewo mungi ne gusituka, amayengo nga gayiika mu lyato, eryato ne libula okujjula amazzi.
38
Ye yali yeebase mu kiwenda ku kigugu; ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, ggwe tofaayo oba tusaanawo?”
39
N'agolokoka, empewo n'agikomako, n'ennyanja n'agiragira nti: “Sirika, towuuna.” Empewo n'ekoma, ne guba mulaala nnyo.
40
N'abagamba nti: “Mutidde ki? Temulina kukkiriza?”
41
Entiisa n'ebakwata, ne bagambagana nti: “Ono ye ani, okuba nti empewo n'ennyanja bimuwulira?”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16