bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 12
Mark 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
1
Awo n'atandika okwogera nabo mu ngero nti: “Omuntu omu yasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agisibako olukomera, n'asimamu ekinnya ky'essogolero, n'azimbamu omunaala, n'agikwasa abalimi, n'agenda ku ggwanga.
2
Obudde bwe bwatuuka, n'atumira abakozi omuweereza anone ku bakozi ebibala by'ennimiro ye ey'emizabbibu.
3
Bo ne bamukwata, ne bamukuba, ne bamugoba ngalo nsa.
4
N'abatumira ate omuweereza omulala; n'oyo ne bamukuba olubale, ne bamuvumaavuma.
5
Era n'atuma omulala; ne bamutta; n'abalala bangi, abamu ne babaweweenyula, abandi ne babattira ddala.
6
Naye nno yalinayo omulala, mutabani we omu omwagalwa, n'amubatumira ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamutya.’
7
Naye abakozi ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika; mugire tumutte, obusika butuddire.’
8
Ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'ennimiro y'emizabbibu.
9
Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu alikola ki? Alijja n'azikiriza abalimi abo n'ennimiro ye ey'emizabbibu n'agiwa abalala.
10
Ekyawandiikibwa kino temukisomanga nti: “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka lukulwe mu nsonda;
11
ekyo Omukama ye yakikola; kya kyewuunyo mu maaso gaffe’?”
12
Baali banoonya okumukwata, naye ne batya ekibiina; kubanga baategeera ng'olugero aluyisizza ku bo bennyini; ne bamuleka, ne bagenda.
13
Ne bamutumira abamu ku Bafarisaayo n'abamu ku b'ekibiina kya Erode, bamukwate mu bigambo.
14
Ne bajja, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, nga teweeguya muntu; obukulu bw'omuntu si bw'otunuulira, wabula ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda. Kale nno, kisaanye okuwa Kayisari omusolo, nandiki tekisaanye?
15
Tuwe oba tetuwa?” N'ategeera enkwe zaabwe, n'abagamba nti: “Munkemera ki? Mundeetere dinaari ndabe.”
16
Ne bagireeta. N'abagamba nti: “Ekifaananyi kino n'ekiwandiiko ebiriko by'ani?” Ne bamugamba nti: “Bya Kayisari.”
17
Yezu n'abagamba nti: “Ebya Kayisari mubiddize Kayisari; n'ebya Katonda mubiddize Katonda.” Ne bamwewuunya.
18
Abasaddukaayo, abo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja gy'ali, ne bamubuuza nti:
19
“Muyigiriza, Musa yaleka atuwandiikidde nti singa muganda w'omuntu afanga n'aleka omukazi, naye n'ataleka baana, muganda we awasanga omukazi oyo n'asibusiza muganda we ezzadde.
20
Waaliwo ab'oluganda musanvu: omubereberye yawasa omukazi, n'afa nga talese mwana.
21
N'owookubiri n'amuwasa, era naye n'afa nga talese mwana. N'owookusatu bw'atyo.
22
Bonna omusanvu ne bataleka baana. N'oluvannyuma lwa bonna omukazi n'afa.
23
Kale mu mazuukira, aliba muka ani? Anti bonna omusanvu baamuwasaako.”
24
Awo Yezu n'abaanukula nti: “Si kyemuva musobya olw'obutamanya Biwandiiko yadde obuyinza bwa Katonda?
25
Kubanga bwe balimala okuzuukira mu bafu, tebagenda kuwasa yadde okufumbirwa, wabula baliba nga bamalayika mu ggulu.
26
Okumanya ng'abafu balizuukizibwa, temusomangako mu kitabo kya Musa, we boogerera ku kisaka, Katonda nga bwe yamugamba nti: ‘Nze Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, ne Katonda wa Yakobo’?
27
Katonda taba wa bafu, wabula wa balamu. Musobya nnyo.”
28
Awo omu ku bawandiisi eyali awulidde bwe bawakana, bwe yalaba abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti: “Kiragiro ki ekisooka mu byonna?”
29
Yezu n'amuddamu nti: “Ekiragiro ekisooka kye kino: ‘Wulira Yisirayeli, Omukama Katonda waffe yekka ye Mukama.
30
Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna.’
31
Ate ekyokubiri kye kino: ‘Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.’ Teri kiragiro kirala kikira ebyo.”
32
Omuwandiisi n'amugamba nti: “Ky'ekyo, Muyigiriza; oyogedde mazima, nti ali omu, teri mulala okuggyako ye;
33
ate nti okumwagala n'omutima gwonna, n'amagezi gonna, n'amaanyi gonna, era nti n'oli okwagala munne nga bwe yeeyagala yennyini, kye kisinga ebitambiro byonna ebyokye n'ebyonziira.”
34
Yezu bwe yalaba ng'azzeemu na magezi, n'amugamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda tobuli wala.” Era tewali n'omu yageza nate kumubuuza kibuuzo kirala.
35
Bwe yali ayigiriza mu Kiggwa, Yezu n'agamba nti: “Abawandiisi basobola batya okugamba nti: Kristu mwana wa Dawudi?
36
Kubanga Dawudi yennyini, ku bwa Mwoyo Mutuukirivu agamba nti: “ ‘Omukama yagamba Mukama wange, nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa abalabe bo lwe ndibassa wansi w'ebigere byo.” ’
37
Dawudi yennyini amuyita Mukama, ate abeera atya omwana we?” Ekibiina ekinene ne kimuwulira n'essanyu.
38
Era mu njigiriza ye n'abagamba nti: “Mwekengere abawandiisi, abaagala okukumbira mu matanvuuwa, n'okulamusibwa mu mbuga,
39
n'entebe ez'oku mwanjo mu sinaagooga, n'ebifo ebisinga ekitiibwa ku bijjulo;
40
abakaliza ennyumba za bannamwandu, ne beefukuutiriza essaala empanvu. Balifuna ekibonerezo ekisingako obukambwe.”
41
Yezu yali atudde mu maaso g'eggwanika ng'atunuulide ekibiina bwe kisuula ensimbi mu ggwanika; abagagga bangi nga basuulamu nnyingi.
42
Ne wajjawo nnamwandu omwavu, n'asuulamu obusente bubiri obuweza ekyokuna ky'ennusu.
43
Awo n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu asuddemu kingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika,
44
kubanga bonna basuddemu nga baggya ku bibafikkiridde, sso ng'ono mu bwavu bwe ataddemu kyonna ky'abadde nakyo, kyonna ekibadde eky'okumuliisa.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16