bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Mark 14
Mark 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
1
Ennaku zaali zisigadde bbiri zokka okutuuka ku Pasika ne ku mbaga enkulu ey'Emigaati Egitazimbulukuse; bakabona abakulu n'abawandiisi baali banoonya engeri y'okumukwata nga bamusoonookereza, bamutte.
2
Naye ne bagamba nti: “Kyokka si ku mbaga enkulu, sikulwa nga wabaawo akeegugungo k'abantu.”
3
Bwe yali e Betaniya mu nnyumba ya Simoni omugenge, ng'atudde alya, omukazi n'ajja ng'alina n'akasumbi k'alabasiteri ak'omuzigo ogwa narudo omwereere, ogw'omuwendo; n'ayasa akasumbi k'alabasiteri, omuzigo n'agumufuka ku mutwe.
4
Ne wabaawo abanyiiga ne bagambagana nti: “Omuzigo ogwo gufudde ki?
5
Kubanga omuzigo guno gubadde guyinza okutundibwa ku muwendo gwa dinaari ebikumi bisatu n'okusoba, ne zigabirwa abaavu.” Ne banyiigira omukazi.
6
Yezu n'agamba nti: “Mumuleke, mumutawaanyiza ki? Ankoledde ekintu kirungi.
7
Abaavu muli nabo bulijjo, muyinza okubakolera obulungi buli lwe mwagadde; sso nze temujja kubeeranga nange bulijjo.
8
Ye akoze ky'ayinzizza; asiigiddewo omubiri gwange omuzigo olw'okunziika.
9
Mazima mbagamba nti wonna Evangili eno gy'eribuulirwa mu nsi yonna, ky'akoze kiryogerwangako okumujjukira.”
10
Awo Yuda Yisikariyoti, omu ku Kkumi n'Ababiri, n'agenda eri bakabona abakulu, amuweeyo gye bali.
11
Bo bwe baawulira, ne basanyuka, ne bamulazaanya okumuwa ensimbi. Ye n'anoonya akakisa amuweeyo.
12
Ku lunaku olusooka olw'Emigaati Egitazimbulukuse, akaliga ka Pasika lwe kaatambirwa, abayigirizwa ne bamugamba nti: “Oyagala tugende tuteeketeeke wa gy'onooliira Pasika?”
13
N'asindika babiri ku bayigirizwa be, n'abagamba nti: “Mugende mu kibuga, omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi anaabasisinkana; mumugoberere;
14
wonna w'anaaba ayingidde, mugambe nnannyinimu nti: ‘Omuyigiriza agambye nti: “Eddiiro liri wa mwe nnaaliira Pasika wamu n'abayigirizwa bange?” ’
15
Ajja kubalaga ekisenge ekya waggulu ekyaliiriddwa, ekiwedde okuteeekateeka; omwo mwe muba mututegekera.”
16
Abayigirizwa be ne bagenda, ne batuuka mu kibuga; ne basanga nga bwe yali abagambye, ne bateekateeka Pasika.
17
Obudde bwe bwawungeera, n'atuuka n'Ekkumi n'Ababiri.
18
Bwe baali batudde nga balya, Yezu n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti munnammwe omu, alya nange, ajja kumpaayo.”
19
Bo ne basooka okunakuwala, n'okumubuuza kinnoomu nti: “Ye nze?”
20
N'abagamba nti: “Omu ku Kkumi n'Ababiri, oyo akoza nange mu kibya.
21
Weewaawo Omwana w'Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, kyokka zimusanze oyo anaawaayo Omwana w'Omuntu! Singa omuntu oyo teyazaalibwa, kyandibadde kirungi gy'ali.”
22
Bwe baali balya, Yezu n'akwata omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu, n'agubawa, ng'agamba nti: “Mukwate, kino mubiri gwange.”
23
N'akwata ekikompe, ne yeebaza, n'akibawa, ne banywako bonna.
24
N'abagamba nti: “Kino musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiibwa ku lw'abangi.
25
Mazima ka mbabulire, siriddayo kunywa ate ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa obuggya mu bwakabaka bwa Katonda.”
26
Bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma, ne bagenda ku Lusozi olw'Oliva.
27
Yezu n'abagamba nti: “Mmwe mwenna ekiro kino mujja kwesittala, kubanga baawandiika nti: ‘Ndikuba omusumba, endiga ne zibuna emiwabo.’
28
Naye bwe ndimala okuzuukira, ndibeesooka mu Galilaaya.”
29
Petero n'amugamba nti: “Abalala bonna ne bwe baneesittala, nze nedda.”
30
Yezu n'amugamba nti: “Mazima nkugamba nti mu kiro kino enkoko eneeba tennakookolima emirundi ebiri, onooba onneegaanyi emirundi esatu.”
31
Naye ye n'ayogera ng'akaalaamuse nti: “Ne bwe nnaaba ndi wa kufa wamu naawe, sijja kukwegaana.” Na bonna ne boogera bwe batyo.
32
Ne bagenda mu kifo ekiyitibwa Getisemani; n'agamba abayigirizwa be nti: “Mutuule wano, nze nga bwe neegayirira.”
33
N'atoolako Petero, Yakobo ne Yowanna, n'agenda nabo. N'asooka okutya n'okukabirirwa.
34
N'abagamba nti: “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi ezaagala n'okunzita; mubeere wano, mutunule.”
35
Ne yeeyongerayo akabanga, n'agwa ku ttaka ne yeegayirira, oba kiyinzika, akadde ako kamuyiteko.
36
N'agamba nti: “Abba, Taata, anti byonna ku ggwe bisoboka; ekikompe kino kimpiteko; naye si nze kye njagala, wabula ggwe ky'oyagala.”
37
N'ajja, n'abasanga nga beebase, n'agamba Petero nti: “Simoni, weebase, toyinzizza kutunula yadde essaawa emu eti?
38
Mutunule, mwegayirire, muleme kugwa mu kukemebwa; kubanga omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”
39
Era n'agenda, ne yeegayirira ng'ayogera ebigambo bye bimu.
40
N'ajja era, n'abasanga nga beebase; kubanga amaaso gaabwe gaali gakambagga; ne batalaba kye bamuddamu.
41
N'ajja ogwokusatu, n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummuddeko? Kimala, akadde katuuse; Omwana w'Omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'aboonoonyi.
42
Musituke, tugende; anampaayo wuuyo ali kumpi.”
43
Amangu ago, yali akyayogera, Yuda Yisikariyoti, omu ku Kkumi n'Ababiri, n'atuuka n'ekibiina kinene eky'abakutte ebitala n'emiggo okuva mu bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde.
44
Eyamuwaayo yali abawadde akabonero, ng'agambye nti: “Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate, mumutwale nga mumukuuma.”
45
Bwe yatuuka, amangu ago n'amusemberera, n'agamba nti: “Rabbi!” n'amunywegera.
46
Awo bali ne bamussaako engalo, ne bamukwata.
47
Omu ku baali bayimiridde awo, n'asowola ekitala, n'atema omuddu wa kabona omukulu, n'amusalako okutu.
48
Yezu n'abagamba nti: “Muvuddeyo n'ebitala n'emiggo okunkwata ng'abajjirira omunyazi?
49
Buli lunaku nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Kiggwa, naye temwankwata. Kale, ebiwandiiko ka bituukirizibwe.”
50
Awo bonna ne bamwabulira, ne badduka.
51
Waaliwo omulenzi eyali amugoberera nga ku mubiri gwe omwereere yeezingiriddeko ssuuka, ne bamukwata;
52
naye ye n'abalekera essuuka, n'adduka bwereere.
53
Awo ne batwala Yezu ewa kabona omukulu; bakabona abakulu bonna, abawandiisi n'abakadde ne bakuŋŋaana.
54
Petero n'amugoberera ng'ayima walako okutuukira ddala mu luggya lwa kabona omukulu, n'atuula n'abakuumi ng'ayota omuliro.
55
Bakabona abakulu n'Olukiiko lwonna ne banoonya obujulizi obulumiriza Yezu kwe banaasinziira okumutta, naye ne batabuzuula.
56
Bangi ne bamuleetako obujulizi obw'obulimba, naye obujulizi bwabwe nga tebukwanagana.
57
Abalala ne bayimirira, ne bamulumiriza n'obujulizi obw'obulimba nga bagamba nti:
58
“Ffe twamuwulira ng'agamba nti: ‘Nnyinza okumenyawo Ekiggwa kino ekyakolebwa n'emikono, mu nnaku ssatu ne nzizaawo ekirala ekitakoleddwa na mikono.’ ”
59
Naye ng'obujulizi bwabwe nabwo tebukwanagana.
60
Awo kabona omukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yezu nti: “Tolina ky'oyanukula? Kiki kino abantu bano kye bakulumiriza?”
61
Ye n'asirika busirisi, n'atabaako ky'addamu. Kabona omukulu n'amubuuza ogwokubiri nti: “Ggwe Kristu, Omwana w'Eyaweebwa Omukisa?”
62
N'amugamba nti: “Ye nze! Era muliraba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'Obuyinza era ng'ajjira ku bire eby'oku ggulu.”
63
Awo kabona omukulu n'ayuza ekkanzu ye n'agamba nti: “Tukyetaagira ki abajulizi?
64
Anti mwewuliridde ekivumo kye. Mmwe mukiraba mutya?” Bonna ne bamusalira omusango nti asaanidde kufa.
65
Abamu ne basooka okumufujjira amalusu, ne bamubikka mu maaso, ne bamukuba, ne bagamba nti: “Lagula!” N'abaweereza ne bamukuba empi.
66
Petero bwe yali wansi mu luggya, omuzaana wa kabona omukulu n'ajja;
67
bwe yalaba Petero ng'ayota, n'amutunuulira, n'agamba nti: “Naawe wali ne Yezu ow'e Nazareti.”
68
Ye ne yeegaana, n'agamba nti: “Simanyi, n'okutegeera sitegeera ky'ogamba.” N'afuluma, n'agenda mu luggya olw'omu maaso. Awo enkoko n'ekookolima.
69
Naye omuzaana bwe yamulaba, n'addamu n'agamba abaali bayimiridde awo nti: “Ono, omu ku bo.”
70
Ne yeegaana nate. Ate nga wayiseewo akabanga, abaali bayimiridde awo ne bagamba Petero nti: “Kya mazima oli omu ku bo, kubanga oli Mugalilaaya.”
71
Naye ye n'asooka okuvumirira n'okulayira nti: “Omuntu oyo gwe mwogerako simumanyi.”
72
Amangu ago enkoko n'ekookolima ogwokubiri. Awo Petero n'ajjukira ekigambo Yezu kye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onooba onneegaanye emirundi esatu.” N'atulika n'akaaba.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16