bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 1
Romans 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
1
Nze Pawulo, omuweereza wa Kristu Yezu, eyayitibwa okuba Omutume, ne njawulibwa okulangirira Evangili ya Katonda,
2
gye yasuubiza okuva edda ng'ayita mu balanzi ne mu Biwandiiko ebitukuvu,
3
eyogera ku Mwana we, oyo mu bw'omuntu ava mu lulyo lwa Dawudi,
4
ate eyabalibwa nti Mwana wa Katonda mu maanyi ga Mwoyo ow'obutuukirivu ageeragira mu kuzuukira kwe mu bafu, Yezu Kristu Mukama waffe,
5
mwe twafunira omukisa gw'obutume, mu linnya lye tutuuse eri amawanga gonna obuwulize obuva mu kukkiriza;
6
mu ago nammwe mwe mubalirwa, mmwe abaayitibwa mubeere aba Yezu Kristu.
7
Y'abo bonna abali e Roma, abaagalwa ba Katonda abaayitibwa mubeere abatuukirivu. Eneema ebeere nammwe n'emirembe okuva ewa Katonda Kitaffe n'Omukama Yezu Kristu.
8
Okusooka byonna, neebaza Katonda wange nga mpita mu Yezu Kristu ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kulangirirwa mu nsi yonna.
9
Kubanga Katonda gwe mpeereza mu mwoyo gwange, mu Vangili y'Omwana we, ye mujulirwa wange nti mbajjukira buli kadde bulijjo
10
mu ssaala zange, nga mpanjaga nti: Katonda ng'abadde ayagadde, ku luno nsobole okubatuukako.
11
Anti neegomba okubalabako, ndyoke mbaweeko ku birabo eby'omwoyo okubagumya;
12
kwe kugamba nti tugumyaŋŋane olw'okukkiriza okwa buli omu, okwammwe n'okwange.
13
Abooluganda, njagala mumanye ng'emirundi mingi nategeka okujja ewammwe, nga njagala mbeeko ebibala bye nkungula mu mmwe nga bwe nabikungula mu b'amawanga abalala, naye n'okutuusa kati nkyalemeseddwa.
14
Bonna mbalinako ebbanja: Abagereeki n'abagwira, abayigirize n'abatali bayigirize.
15
Kale njagala nammwe abali mu Roma okubayigiriza Evangili.
16
Ddala nze Evangili tenkwasa nsonyi, anti ge maanyi ga Katonda okulokola bonna abakkiriza: Omuyudaaya y'asooka, n'Omugereeki n'addako.
17
Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda mwe bwolekerwa mu kukkiriza okutwala mu kukkiriza; nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omutuukirivu aliba mulamu olw'okukkiriza.”
18
Anti obusungu bwa Katonda bwayolekebwa okuva mu ggulu ku bikolwa by'abantu byonna eby'obukafiiri n'obutali butuukirivu nga basibira amazima ga Katonda mu butali buutuukirivu.
19
Kubanga ekisoboka okumanyika ku Katonda kyaboolekebwa; anti Katonda yakibooleka.
20
Okuviira ddala ensi lwe yatondebwa, enfaanana ye eterabika: bwe buyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe, baabitegeerera bulungi mu ebyo ebyakolebwa; awo nno tebalina buwampanyizo,
21
kubanga Katonda bwe baamumanya, tebaamussaamu kitiibwa nga Katonda, era tebaamwebaza, wabula badda mu kulowooza bitagasa, n'omutima gwabwe ogutategeera ne gujjako ekifu.
22
Baawozanga tuli bagezi, kazzi nga bafuuse basiru.
23
Ekitiibwa kya Katonda atafa ne bakiwaanyisa n'ebifaananyi by'omuntu afa, n'eby'ennyonyi n'ensolo n'ebyewalula.
24
Katonda kyeyava abaawaayo eri amaddu g'emitima gyabwe ne mu buseegu, ne mu kujaajaamya bennyini emibiri gyabwe mu bokka na bokka.
25
Abo amazima ga Katonda baagakyusa ne bagayita obulimba, ne badda mu kusinza ebitonde, ne balekerera Omutonzi oyo atenderezebwa emirembe gyonna. Amiina!
26
Olw'okubeera ekyo Katonda kyeyava abawaayo mu kwegomba okusonyiwaza: anti abakazi baabwe enkozesa y'emibiri ey'obutonde baagiwanyisaamu n'eyo ekontana n'obutonde;
27
n'abasajja nabo baava ku nkozesa ey'emibiri ey'obutonde n'abakazi ne babugujja n'okukwatirwagana amaddu bokka na bokka, abasajja nga bakola eby'ensonyi ne basajja bannaabwe, ne bafuna mu bo bennyini empeera egya mu nsobi yaabwe.
28
Olw'obutafaayo kumanya Katonda, ne Katonda kyeyava abawaayo eri endowooza ezitajja n'enneeyisa etasaana,
29
ne bajjula buli bugwagwa bwonna, obugwenyufu, omululu gw'ebintu, n'ettima, ne bajjula obuggya, obutemu, empaka, obulimba, n'effutwa; ba ŋŋambo,
30
bawaayiriza, bakyawa Katonda, bavuma, beekuza, beepansi, bayiiyayiiya ebibi, batenguwa abazadde,
31
basiru, batiiratiira, tebalina kwagala, tebalina kisa.
32
Abo nandibadde ekiragiro kya Katonda bakimanyi nti abeeyisa bwe batyo basaanira kufa, tebakoma ku kya kubikola kyokka, naye bakkirizaganya n'abo ababikola.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16