bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 12
Romans 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
1
Abooluganda, mbeegayiridde, olw'ekisa kya Katonda, muweereze emibiri gyammwe ng'ekitambiro ekiramu, ekitukuvu, Katonda ky'asiima, kwe kusinza kwammwe okw'omwoyo.
2
Muleme kuyisa ng'ensi eno bw'eyisa; mufuuke nga muzza buggya emitima gyammwe, lwe munaakakasa Katonda ky'ayagala, ekirungi, ekisaana, ekituufu.
3
Olw'eneema gye nafuna, ŋŋamba buli omu mu mmwe, aleme kwewanika okusinga bw'ali, wabula alowooze ku kubeera omwegendereza, buli omu ng'alabira ku kukkiriza Katonda kwe yamupimira.
4
Kubanga nga bwe tulina mu mubiri ebitundu ebingi, sso byonna nga tebikola kimu,
5
naffe bwe tuli, yadde tuli bangi, naye ffenna tuli mubiri gumu mu Kristu, ate buli kinnoomu abeera bitundu bya munne.
6
Nga bwe tulina ebitone ebyawufu ng'ogerera ku neema eyatuweebwa, tubyeyambe: Oba bulanzi, okusinziira ng'oli bw'akkiriza,
7
ow'okuweereza abeere ku kuweereza; omusomesa abeere ku gwa kusomesa,
8
abuulirira abeere ku gwa kubuulirira, aliko ky'agaba akiweese mutima gumu; alabirira asseeko omwoyo, agirira ekisa abanaku akikoze na ssanyu.
9
Okwagala kwammwe kubulemu obukuusa; ekibi mukikyawe, ekirungi mukinywerereko;
10
mwagalane n'okwagala kw'ab'oluganda, musiŋŋane mu kuwaŋŋana ekitiibwa.
11
Temuddirira mu kwagala, mubugujje mu Mwoyo, muweereze Omukama.
12
Musanyukire mu bye musuubira, mu nnaku nga muguma, mwegayirire lutata.
13
Abatuukirivu abali mu bwetaavu, mubadduukirire; abagenyi mubaanirize.
14
Ababayigganya mubasabire emikisa; temubakolimira, mubasabire busabizi.
15
Musanyuke n'abasanyuka; mukaabe n'abakaaba.
16
Buli omu asse kimu ne munne, temwewanika, mukolagane n'abanaku, temweragaalaga bugezi.
17
Ekibi nga kibaddewo, temukisasuzangamu kibi, wabula omwoyo mugusse ku ekyo ekirungi eri buli muntu.
18
Nga bwe kisoboka, era nga bwe musobola, munoonye okubeera ab'emirembe n'abantu bonna.
19
Abooluganda, temuwooleranga ggwanga, wabula mubirekere obusungu bwa Katonda; anti kyawandiikibwa nti: “Okuwoolera eggwanga kyange, nzija kusasula,” Omukama y'agamba.
20
Naye ggwe omulabe wo nga muyala, muwe ekyokulya; nga muyonta, muwe ekyokunywa. Bw'okola bw'otyo olituumira ku mutwe gwe amanda agengeredde.
21
Towangulibwanga kibi, wabula ekibi kiwangule na kirungi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16