bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 13
Romans 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
1
Buli muntu agondere abakulu abali mu buyinza, kubanga mpaawo buyinza butava eri Katonda, na bwonna obuliwo kati Katonda ye yabussaawo.
2
Awo nno awaganyalira abali mu buyinza awaganyalira Katonda kye yassaawo, era abo abawaganyala balisalirwa omusango okubasinga.
3
Abafuzi tebatiisa bantu balungi, wabula ababi. Oyagala obutatya ali mu buyinza? Kola bulungi, ajja kukusiima.
4
Anti muweereza wa Katonda olw'obulungi bwo. Naye bw'okola obubi, tya, kubanga ekitala takutte kya busa. Anti muweereza wa Katonda okulaga obusungu bwe ku oyo akola obubi.
5
Awo nno muteekwa okuwulira si lwa kutya busungu, naye olw'okubeera emmeeme yammwe ky'egamba.
6
Muwe emisolo lwa nsonga ye emu, kubanga bano baweereza ba Katonda olw'okutuukiriza omulimu ogwo bulijjo.
7
Bonna mubawe kye balina okuweebwa: ow'omusolo, musolo; ow'empooza, mpooza; ow'ekitiibwa, kitiibwa; ow'obukulu, bukulu.
8
Tewabangawo n'omu gwe mulinako bbanja, wabula mpozzi ery'okwagalana; kubanga ayagala munne, aba atuukirizza Etteeka;
9
anti ebiragiro: Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Teweegombanga. Oba waliyo mpozzi n'ekiragiro ekirala, byonna bifunzibwa mu kiragiro kimu kino: “Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.”
10
Okwagala tekukolera munno bubi; okwagala nno kyekuva kubeera okutuukiriza Etteeka.
11
Mutegeere bulungi obudde buno; kaakati ke kaseera okuva mu tulo; anti okulokoka kuli kumpi naffe okusinga luli nga twakakkiriza;
12
ekiro kigenze, olunaku lusembedde. Tweyambule nno ebikolwa eby'ekizikiza, twambale ebyokulwanyisa eby'ekitangaala.
13
Tutambule na ssimbo nga mu budde obw'emisana; tuleme kudda mu biduula, mu kutamiira, si mu bitanda na mu kugwenyuka, si mu ndasano na mu kukwatiragana buggya,
14
wabula mwambale Mukama Yezu Kristu; muleme kumalira birowoozo ku mubiri nga munoonya bwe munaamatiza amaddu gaagwo.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16