bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 14
Romans 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
1
Omunafu mu kukkiriza mumwanirize, naye si lwa kukaayana ku ndowooza zammwe.
2
Omu akkiririza mu kulya byonna, naye omunafu alya nva zokka.
3
Oyo alya aleme kunyooma atalya, n'oyo atalya aleme kulamula alya, anti naye Katonda yamwaniriza.
4
Ggwe ani okulamula omuweereza w'omulala? Oba ayimirira, oba agwa, ebyo bya mukama we; ajja kuyimirira, kubanga Omukama asobola okumuyimiriza.
5
Omu mu nnaku ayawulamu olw'enkizo, omulala zonna zimufaananira. Buli muntu abeere nga bwe yamatira mu mutima gwe.
6
Oli akuza olunaku, alukuza ku lwa Mukama; n'oli alya, alya ku lwa Mukama, kubanga yeebaza Katonda; n'oli alekayo okulya, alekayo ku lwa Mukama, naye yeebaza Katonda.
7
Mu ffe tewali abeerawo ku lulwe; era mu ffe tewali afa ku lulwe.
8
Oba tuli balamu, tuli balamu ku lwa Mukama; oba tufa, tufa ku lwa Mukama. Awo nno oba tuli balamu, oba tufudde, tuli ba Mukama.
9
Olw'okubeera ekyo Kristu kyeyava afa ate n'addamu okuba omulamu alyoke abeere Mukama w'abafu n'abalamu.
10
Kale ggwe lwaki olamula muganda wo? Ate ggwe, lwaki onyooma muganda wo? Anti ffenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ya Katonda ey'obulamuzi.
11
Anti kyawandiikibwa nti: “Mazima nga nze ndi mulamu, Omukama y'agamba, buli vviivi lirinfukaamirira, na buli lulimi lulitenda Katonda.”
12
Awo nno buli omu mu ffe aliwoza lulwe ewa Katonda.
13
Kale nno tulekere awo eby'ono okulamula oli, wabula tusalewo kino: obutateerawo muganda wo kimwesitazza oba kimusuula mu kibi.
14
Mmanyi era ndi mumativu mu Mukama Yezu nti mpaawo kikyafu ku bwakyo; wabula kikyafu ku oyo alowooza nti kikyafu.
15
Oba muganda wo akosebwa olw'emmere gy'olya, oba tokyatambulira mu kwagalana. Toleka mmere yo kuzikiriza oli Kristu gwe yafiirira.
16
Awo nno ekintu kyo ekirungi tokivumaganya ng'ekibi.
17
Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kulya oba mu kunywa, wabula mu butuukirivu, mu ddembe ne mu ssanyu mu Mwoyo Mutuukirivu.
18
Aweereza Kristu mu ngeri eyo asanyusa Katonda n'abantu bamusiima.
19
Kale nno tunyiikirire ebireeta eddembe n'okuzimbagana.
20
Emmere ereme kukwonoonesa mulimu gwa Katonda. Kwo okuba byonna birongoofu, naye kibi omuntu okuleetera abalala okwesittala olw'emmere gy'alya.
21
Kirungi obutalya nnyama, obutanywa mwenge oba ekirala kyonna muganda wo ky'ayinza okwesittalako.
22
Ggwe obumativu bw'olina bukuumire wakati wo ne Katonda wo. Yeesiimye oyo atalinaamu kamukyekeera olw'ekyo kye yasiima.
23
Alimu okubuusabuusa bw'alya, gumusinga, kubanga teyabadde mumativu ku ky'akola, kubanga kyonna ekitava mu bumativu kiba kibi.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16