bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 4
Romans 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
1
Leero tunaagamba ki ku Yiburayimu jjajjaffe mu mubiri?
2
Oba Yiburayimu yafuuka mutuukirivu olw'ebikolwa bye, alina eky'okwewaanamu, naye si mu maaso ga Katonda.
3
Kubanga Ekitabo ekitukuvu kigamba kitya? Kigamba nti: “Yiburayimu yakkiriza Katonda, ekyo ne kimubalirwa ng'obutuukirivu.”
4
Oli apakasa, empeera temubalirwa ng'ekirabo, wabula ng'ebbanja ly'alina okusasulibwa.
5
N'oyo atatuukiriza Tteeka naye ng'akkiriza oli, abo abatatya Katonda abafuula abatuukirivu, okukkiriza kwe kubalibwa ng'obutuukirivu.
6
Era nga ne Dawudi atenda omukisa omuntu Katonda gw'abala ng'omutuukirivu nga tasinzidde ku bikolwa, nti:
7
“Beesiimye ab'omusango ogusonyiyiddwa, ab'ebibi ebikisiddwa;
8
yeesiimye oyo Omukama gw'atavunaana kibi kye.”
9
Okwesiima okwo kwogerwa ku batayirire bokka oba ne ku batali batayirire? Tugamba nti okukkiriza kwabalirwa Yiburayimu ng'obutuukirivu.
10
Kwamubalirwa kutya? Ng'amaze okutayirirwa oba nga tannaba? Nga tannaba, si luvannyuma lwa kutayirirwa.
11
Yafuna akabonero ak'okutayirirwa ng'enkovu etegeeza obutuukirivu obuva mu kukkiriza kwe yalina nga tannatayirirwa. Bw'atyo afuuke kitaawe w'abakkiriza bonna abakkiriza nga tebannatayirirwa, nabo bwe batyo babalirwenga obutuukirivu,
12
abeere era kitaabwe w'abatayirire, naye si abo abatayirirwa kyokka, naye era abagoberera ebisinde eby'okukkiriza, okwo jjajjaffe Yiburayimu kwe yalina nga tannatayirirwa.
13
Ekisuubizo Yiburayimu kye yasuubizibwa wamu n'ezzadde lye okusikira ensi, tekyamusuubizibwa lwa kubeera Tteeka, naye lwa kubeera butuukirivu obw'okukkiriza.
14
Oba abagoberera Etteeka be baliba abasika, okukkiriza kwa bwereere n'ekisuubizo temuli kantu.
15
Anti Etteeka liwakula busungu. Etteeka we litali tewaba kusobya.
16
Okusika kyekiva kisinziira ku kukkiriza, olwo ekisuubizo kiryoke kisinziire ku neema, kiweebwe ezzadde lye lyonna. Si abo bokka abagoberera Etteeka, naye era n'abo ab'okukkiriza ng'okwa Yiburayimu, anti ffenna ye kitaffe,
17
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Nkufudde kitaawe w'amawanga amangi;” era bw'ali mu maaso ga Katonda gwe yakkiriza, oyo awa obulamu afudde, ebitaliiwo n'abiyita ne bibaawo.
18
Yakkiriza ng'asuubira w'otandisuubiriridde nti alifuuka kitaawe w'amawanga amangi; nga bwe yali agambiddwa nti: “Ezzadde lyo bwe liriba lityo.”
19
Teyaddirira mu kukkiriza ne bwe yamanya nti omubiri gwe gwali kyenkana ng'ogufudde, anti yali nga wa myaka kikumi egy'obukulu, era nti n'olubuto lwa Saara lwali lufu.
20
Teyabuusabuusa ku ebyo Katonda bye yamusuubiza, wabula yeeyongera bweyongezi maanyi mu kukkiriza, ng'assaamu Katonda ekitiibwa.
21
Yali amanyidde ddala nga Katonda yali asobola bulungi okukola byonna bye yasuubiza.
22
Okukkiriza kwe kyekwava kumubalirwa ng'obutuukirivu.
23
Kyokka ekigambo ekyo: 'Kyekwava kumubalirwa ng'obutuukirivu' tekyawandiikibwa ku lulwe yekka,
24
naye ne ku lwaffe. Naffe kulitubalirwa ffe abakkiriza oyo eyazuukiza Mukama waffe Yezu Kristu mu bafu.
25
Ye eyaweebwayo okubeera ensobi zaffe n'azuukira tulyoke tufuuke batuukirivu.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16