bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 9
Romans 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
1
Njogera mazima mu Kristu, sirimba; emmeeme yange enjulira mu Mwoyo Mutuukirivu,
2
nti ennaku nnina nnyingi nnyo n'okunyolwa mu mutima okutasalako.
3
Neegomba nze mwene kiryose nkolimirwe, nkutulwe ku baganda bange ab'ekika, bwe tuli ab'olulyo olumu.
4
Bo Bayisirayeli, be baafuna okwebonanyizibwa ng'abaana, ekitiibwa n'ebiragaano, be baaweebwa Etteeka, n'okusinza n'ebisuubizo;
5
be bannannyini bajjajja, mu lulyo lwabwe mu mubiri mwe mwasibuka Kristu, oyo Katonda assukkulumye byonna, atenderezebwe emirembe gyonna. Amiina.
6
Togamba nti Katonda kye yagamba kyagwa butaka. Kubanga bonna ab'enda ya Yisirayeli si ba Yisirayeli,
7
na bonna si baana ba Yiburayimu olw'okubeera nti zzadde lye, wabula nti: “Mu Yizaake ezzadde lyo mwe linaafuniranga erinnya.”
8
Kwe kugamba nti abaana b'omubiri si be baana ba Katonda, wabula abaana b'ebisuubizo be babalibwa ng'ezzadde.
9
Kubanga ekisuubizo kyagamba bwe kiti nti: “Ndidda mu bbanga nga lino, olwo Sara aliba alina omwana wa bulenzi.”
10
Si oyo yekka, naye ne Rebekka bwe yali afunye olubuto olw'omusajja omu, ye jjajjaffe Yizaake,
11
ne bwe baali tebannazaalibwa, nga tebannabaako kirungi oba kibi kyonna kye bakola, enteekateeka ya Katonda ey'okulonda okusobola okugenda mu maaso, si lwa kubeera bikolwa wabula olw'okubeera oyo ayita,
12
Rebekka baamugamba nti: “Omukulu aliweereza omuto.”
13
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Nayagala Yakobo, Ezawu ne mmukyawa.”
14
Awo nno tugambe ki? Nti Katonda ku ludda simwenkanya? N'akatono!
15
Anti yagamba Musa nti: “Gwe nnaagiriranga ekisa nnaamugiriranga ekisa, ne gwe nnaasaasiranga naye nnaamusaasiranga.”
16
Awo nno tekiva ku kwagala kwa muntu, oba ku kufaabiina kwe, naye ku Katonda asaasira.
17
Kubanga Ekitabo ekitukuvu kigamba Faraawo nti: “Eno y'ensonga eyakunzisisaawo, njoleseze mu ggwe obuyinza bwange, erinnya lyange liryoke lirangirirwe mu nsi yonna.”
18
Bw'atyo nno, asaasira gw'ayagadde, n'agugubya omutima gw'oyo gw'ayagadde.
19
Mujja kuŋŋamba nti: “Lwaki ate akyasanga ensobi? Ani anaamuwakanya okukola ky'ayagala?”
20
Ggwe ani omuntu obuntu ayanukula Katonda? Ekibumbe kigamba omubumbi nti: “Lwaki wankola bw'oti?”
21
Omubumbi si y'alina obuyinza ku bbumba? Mu kitole ky'ebbumba kye kimu tasobola kubumbamu kibya kimu eky'okukozesa mu by'ekitiibwa n'ekirala eky'okukozesa mu bitali bya kitiibwa?
22
Oba oli awo Katonda olw'okwagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa amaanyi ge, aguumiikirizza nnyo ebibya eby'obusungu ebyakolerwa okuzikirira,
23
alyoke alage obugagga bw'ekitiibwa kye olw'ebibya by'okusaasira kwe bye yakolera ekitiibwa okuva edda,
24
naffe be yayita, si kuva mu Bayudaaya mwokka, naye ne mu b'amawanga.
25
Ng'era bw'agamba mu Ozeya nti: “Abatali bantu bange ndibayita abantu bange, n'oyo ataali mwagalwa, ndimuyita mwagalwa wange.
26
Ate mu kifo we baagambirwa nti: ‘Mmwe temuli baana bange,’ we baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”
27
Yisaaya ng'ayogera ku Yisirayeli aleekaana nti: “Omuwendo gw'abaana ba Yisirayeli ne bwe guliba ng'omusenyu gw'ennyanja, abaasigalawo be baliwonawo.”
28
Kubanga Omukama aliwa ensala ye ku nsi mu bwangu awatali kulwa.
29
Nga ne Yisaaya bwe yali amaze okukyogera nti: “Omukama w'Amagye taba kutulekerawo zzadde, twandifuuse nga Sodoma, twandifaananye nga Gomorra.”
30
Kale nno tugambe ki? Ab'amawanga abataagobereranga butuukirivu baatuuka ku butuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza;
31
sso Yisirayeli eyagoberera obutuukirivu obwesigamiziddwa ku Tteeka, teyasobola kutuukiriza Tteeka.
32
Lwaki? Kubanga tebaabunoonya mu kukkiriza, wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja ery'okwesittalako,
33
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Laba, nteeka mu Siyoni ejjinja, omuntu kw'aneesittala; olwazi omuntu kw'aneekoona; buli yenna amukkiriza taliswazibwa.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16