bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 2
Romans 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
1
Olw'ekyo nno, wattu ggwe buli muntu asala omusango, naawe tolina buwampanyizo, anti buli lw'osalira oli omusango, naawe oba ogwesalidde, manyanga ekyo ky'olamulamu oli naawe ky'okola.
2
Anti tumanyi ng'abakola eby'engeri eyo Katonda abasalira omusango mu bwenkanya.
3
Kale, wattu ggwe omuntu, asalira omusango abakola ebyo ate naawe ng'obikola, olowooza oliwona okulamulibwa Katonda?
4
Oba weeyibaala ekisa kya Katonda ekingi, obukwatampola bwe n'okugumiikiriza kwe? Tomanyi ng'ekisa kya Katonda kigenderera kukutuusa ku kweddamu?
5
Naye olw'obukakanyavu n'obuteenenya bw'omutima gwo, weesombera busungu bwa Katonda ku lunaku lw'alyolesezaako ennamula ye entuufu.
6
Kubanga buli muntu alimuweera ng'agerera ku bikolwa bye.
7
Abo, abakola obulungi n'obugumiikiriza nga balafuubanira ettendo, ekitiibwa n'obutafa, alibawa obulamu obutaggwaawo;
8
naye abo abawalaza empaka, abatagondera mazima, wabula abagondera okukola obubi, ekibalindiridde busungu na bukambwe.
9
Ennaku n'obulumi biriba mu buli mutima gwa muntu akola obubi: Omuyudaaya nga y'asooka, Omugereeki n'addako.
10
Sso ekitiibwa, ettendo n'eddembe birifunibwa buli akola obulungi; Omuyudaaya nga y'asooka, Omugereeki n'addako.
11
Kubanga Katonda taliimu kusosola mu bantu.
12
Aboonoona nga tebalina tteeka balizikirira awatali tteeka; n'aboonoona nga balina Etteeka baliramulibwa Etteeka.
13
Kubanga si nti abawulira obuwulizi Etteeka be batuukirivu, wabula abatuukiriza Etteeka be balifuuka abatuukirivu.
14
Ab'amawanga abatalina Tteeka, mu buwangwa bwabwe bwe bakola ebyo eby'omu Tteeka, bo bennyini beebeerera etteeka, newandibadde nga tebalina Tteeka.
15
Bo booleka nti Etteeka kye lyagala kyawandiikibwa mu mitima gyabwe; emmeeme yaabwe ejulira wamu nabo; ebirowoozo byabwe bikubagana nga bibavunaana oba nga bibawolereza
16
ku lunaku olwo Katonda lw'aliramula ku bwa Yezu Kristu abantu bye baakisa, ng'Evangili yange bw'egamba.
17
Kale nno obanga oyitibwa Muyudaaya, eyeesiga Etteeka, eyeetendera mu Katonda,
18
amanyi ky'ayagala, kubanga oyigirizibwa Etteeka, eyeetwala ng'alowooza ekisinga obulungi,
19
eyeetwala nti ggwe okulembera bamuzibe, atangaaza abali mu nzikiza,
20
nti oli mugunjuzi w'ababuyabuya, omuyigiriza w'abato, alina mu Tteeka amagezi n'amazima,
21
ggwe agenda ayigiriza abalala, ate ggwe teweeyigiriza? Ggwe asomesa abalala nti tobbanga, ate ggwe obba?
22
Ggwe agamba nti toyendanga, ate ggwe oyenda? Ggwe eyeenyinyala ebifaananyi bya balubaale, ate ggwe onyagulula ebiggwa?
23
Ggwe eyeetendera mu Tteeka, ate ggwe onyoomoola Katonda ng'omenya Etteeka?
24
Anti nga bwe kyawandiikibwa nti: “Erinnya lya Katonda livumibwa mu b'amawanga olw'okubeera mmwe.”
25
Bw'oba otuukiriza Etteeka, olwo okutayirirwa kugasa; naye bw'oba olimenya, okutayirirwa kwo kufuuka obutatayirirwa.
26
Oli atali mutayirire bw'akwata ebiragiro by'Etteeka, obutatayirirwa bwe tebubalibwa ng'okutayirirwa?
27
Oli atuusa Etteeka, nandibadde mu mubiri gwe si mutayirire, agenda kukusalira omusango okukusinga ggwe alimenya sso ng'oli mutayirire, olirina ne mu buwandiike.
28
Oyo si Muyudaaya abeera obubeezi Omuyudaaya kungulu, n'okutayirirwa okwa nnamaddala tekuba kwa kungulu na kwa mubiri bubiri.
29
Wabula oyo Muyudaaya ddala aba Omuyudaaya munda, era okutayirirwa okwa nnamaddala kubeera kwa mu mutima na mu mwoyo, naye si mu nnukuta; ettendo lye teriva mu bantu, wabula mu Katonda.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16