bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 3
Romans 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
1
Awo nno Omuyudaaya asinza ki? Oba kwo okutayirira kugasa ki?
2
Okusinga kwo asinga mu buli ngeri. Okusookera ddala, bo be baakwasibwa ebigambo bya Katonda.
3
Binaaba bitya abamu mu bo bamala bataba beesigwa? Bo olw'obutaba beesigwa kitta obwesigwa bwa Katonda? N'akatono!
4
Katonda ye k'abe w'amazima, ye buli muntu k'abe mulimba, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Obeere mutuufu mu bigambo byo, osinge bwe bakuwozesa.”
5
Oba ffe obutaba batuukirivu kye kireetera Katonda okulaga obutuukirivu bwe, tunaagamba tutya? Nti Katonda si mutuufu okutulaga obusungu? - singa mbuuza ng'omuntu bwe yandibuuzizza.
6
N'akatono! Ggwe ate Katonda yandiramudde atya ensi?
7
Oba nze okulimba kireetera obutuukirivu bwa Katonda okuyitirira n'afuna ekitiibwa, lwaki nkyalamulibwa ng'omwonoonyi?
8
Olwo lwaki tetukola bibi muveemu ebirungi – ng'abamu bwe batukonjera nti bwe tugamba. Abo nno gubasinga mu butuufu.
9
Awo nno kiki? Tubasinga? Nedda, n'akatono, anti navunaanye dda Abayudaaya n'Abagereeki nti bonna bali mu maanyi ga kibi,
10
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Mpaawo mutuukirivu, teri, n'omu;
11
tewali ategeera, tewali anoonya Katonda.
12
Bonna bawabye, bonna baweddemu ensa; mpaawo akola kirungi, newandibadde omu ati!
13
Omumiro gwabwe ntaana eyasamye, beeyamba ennimi zaabwe okulimba. Obusagwa bw'enswera buli wansi w'emimwa gyabwe.
14
Akamwa kaabwe kajjudde ebikolimo n'obukaawu.
15
Ebigere byabwe byanguyira okuyiwa omusaayi;
16
mu makubo gaabwe mulimu kuzikirira na nnaku.
17
Tebamanyi kkubo lya ddembe.
18
Tebalinaamu kutya Katonda mu maaso gaabwe.”
19
Tumanyi nga byonna Etteeka bye ligamba libigamba abo abakwatibwa Etteeka, buli mumwa gulyoke gubunire, ensi yonna eryoke ebalibwe bw'eri ensobya mu maaso ga Katonda.
20
Kubanga tewali alifuuka mutuukirivu mu maaso ge olw'ebikolwa eby'omu Tteeka, kubanga okumanya ekibi kujja na Tteeka.
21
Kati nno obutuukirivu bwa Katonda bweyolekera ebweru w'Etteeka, newandibadde nga bwajulirwa Etteeka n'Abalanzi,
22
obutuukirivu bwa Katonda obuva ku kukkiriza Yezu Kristu ku bonna abakkiriza. Kubanga tewali njawulo,
23
anti bonna baayonoona, baabulwa mu bo ekitiibwa kya Katonda.
24
Bafuuka batuukirivu olw'eneema ye eyaweebwa obuwa, olw'okununulibwa mu Kristu Yezu,
25
Katonda gwe yassaawo abeere omutango mu musaayi gwe, omutango gwe tufunira mu kukkiriza. Kwali kwoleka butuukirivu bwa Katonda, kubanga mu kugumiikiriza kwa Katonda yasonyiwa ebibi ebyayita,
26
yagenderera ayoleke mu budde buno nti ye mutuufu era afuula oyo akkiriza Yezu Kristu n'aba omutuukirivu.
27
Kale okwetenda kwaffe kuluwa? Ekyo kirekebwa na bbali. Lwa tteeka ki? Olw'ebyo bye twakola? Nedda, wabula lwa tteeka lya kukkiriza.
28
Kubanga tugamba nti omuntu afuuka mutuukirivu lwa kukkiriza, awatali na bikolwa bya mu Tteeka.
29
Kazzi Katonda wa Bayudaaya bokka? Ab'amawanga si Katonda waabwe?
30
Yee, n'ab'amawanga Katonda waabwe, ndaba Katonda ye omu alifuula omutayirire omutuukirivu olw'okukkiriza n'atali mutayirire olw'okukkiriza.
31
Awo nno bwe tukkiriza ng'Etteeka tulidibizza? Nedda! N'okuba Etteeka tuba tukakasa kkakase.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16