bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 6
Romans 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
1
Awo nno tugambe ki? Tusigale mu kibi eneema eryoke yeeyongere eyitirire?
2
N'akatono! Ffe ekibi abaakibeerera abafu tuyinza tutya okukibeeramu?
3
Temumanyi nga ffe ffenna abaabatizibwa mu Kristu Yezu, twabatizibwa mu kufa kwe?
4
Ndaba mu batismu twaziikibwa wamu naye mu kufa; nga Kristu bwe yazuukira mu bafu olw'ekitiibwa kya Taata, naffe tulyoke tutambulire mu bulamu obuggya.
5
Obanga twagattibwa wamu naye mu nfa ye, era tuligattibwa wamu naye mu nzuukira ye.
6
Tumanyi nti omuntu owaffe omukadde yakomererwa naye ku musaalaba, omubiri gw'ekibi gulyoke guzikirizibwe, tuleme kuddayo kubeera baddu ba kibi.
7
Anti oli bw'afa, aba atakkuluziddwa ku kibi.
8
Oba tuli bafu ne Kristu, tukkiririza ddala nga tuliba balamu naye.
9
Anti tumanyi nti Kristu ng'amaze okuzuukira mu bafu, takyaddayo kufa; olumbe terukyamulinako buyinza.
10
Kubanga bwe yafa, ekibi yakifuukira mufu lumu n'amala; kati nga mulamu, mulamu ku lwa Katonda.
11
Nammwe nno mwebalire ddala ng'ekibi mukibeerera bafu, muli balamu ku bwa Katonda mu Kristu Yezu Mukama waffe.
12
Awo nno ekibi kireme kukajjala mu mubiri gwammwe ogw'okufa ne kibaleetera okugondera amaddu gaagwo.
13
Ebitundu by'omubiri gwammwe temubiwanga kibi bikozesebwe okukola obubi, naye mwewe Katonda ng'abantu abavudde mu kufa ne mudda mu bulamu, ate n'ebitundu byammwe eby'omubiri mubiwe Katonda bikozesebwe eby'obutuukirivu.
14
Ekibi tekigenda kubafuga, kubanga temutwalibwa Tteeka, wabula neema.
15
Awo nno ki? Tukole ebibi olw'okubeera nga tetutwalibwa Tteeka wabula neema?
16
N'akatono! Temumanyi nga bwe mwewa omuntu ng'abaddu nga mumuwulira, muba baddu b'oyo gwe muwulira: oba baddu b'ekibi ekitwala mu kufa, oba baddu b'obuwulize obutwala mu butuukirivu?
17
Naye Katonda yeebale, nti newandibadde nga mmwe olumu mwali baddu b'ekibi, naye mwawulira n'omutima gwonna ekika ky'enjigiriza gye mwaweebwa.
18
Nga mumaze okutakkuluzibwa ku kibi, mufuuse baddu ba butuukirivu.
19
Njogera ng'abantu aba bulijjo bwe boogera olw'okubeera obunafu bw'omubiri gwammwe. Ebitundu by'omubiri gwammwe nga bwe mwabiwaayo mu buseegu ne mu bugwenyufu obuyitiridde, kale nno ebitundu by'omubiri ebyo mubizze ku kuweereza obutuukirivu, mutukuzibwe.
20
Bwe mwali mukyali baddu ba kibi, mwali ba ddembe nga temufugibwa butuukirivu.
21
Naye magoba ki ge mwaggya mu ebyo kati ebibakwasa n'ensonyi? Tebireeta kirala wabula lumbe.
22
Kale nno nga mumaze okutakkuluzibwa ku kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, amagoba gammwe kwe kutukuzibwa okuleeta obulamu obutaggwaawo.
23
Anti empeera y'ekibi, lumbe; naye ekirabo kya Katonda, bulamu obutaggwaawo mu Kristu Yezu Mukama waffe.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16