bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 8
Romans 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
1
Awo nno abo abali mu Yezu Kristu tebasalirwa musango.
2
Kubanga etteeka erya Mwoyo ow'obulamu mu Kristu Yezu lyantakkuluza ku tteeka ery'ekibi n'olumbe.
3
Etteeka kye litaasobola kukola olw'omubiri okulinafuya, Katonda yakikola ng'atuma Omwana we alina omubiri ddala nga guli ogw'ekibi ate olw'ekibi n'asalira ekibi omusango mu mubiri.
4
Bwe kityo ekiragiro ky'Etteeka kituukirizibwe mu ffe mu mpisa zaffe abatagoberera mubiri wabula omwoyo.
5
Abo mu bulamu bwabwe abagoberera omubiri, omutima gwabwe bagusimbye ku bya mubiri; naye abagoberera omwoyo, omutima gwabwe bagusimbye ku bya mwoyo.
6
Okussa omutima ku mubiri kireeta kufa, naye okussa omutima ku Mwoyo kireeta bulamu na ddembe.
7
Kubanga omutima ogusimbye ku mubiri gwa bulabe eri Katonda; anti tegugondera Tteeka lya Katonda, n'okusobola tegusobola.
8
Abagoberera omubiri tebasobola kusanyusa Katonda.
9
Naye mmwe temugoberera mubiri, wabula Mwoyo, bw'aba nga Mwoyo wa Katonda asula mu mmwe; oli atalina Mwoyo wa Kristu, oyo taba wuwe.
10
Naye oba Kristu ali mu mmwe, newandibadde ng'omubiri mufu olw'ekibi, omwoyo gwo mulamu olw'obutuukirivu.
11
Obanga Mwoyo w'oli eyazuukiza Yezu mu bafu asula mu mmwe, eyazuukiza Yezu Kristu mu bafu emibiri gyammwe gino egy'okufa nagyo aligiwa obulamu era ng'ayita mu Mwoyo we abasulamu.
12
Kale nno, abooluganda, tulina ebbanja, naye si na mubiri nti tuteekwa okugoberera amaddu g'omubiri,
13
kubanga bwe mugoberera omubiri, mujja kufa; naye mu Mwoyo bwe mutta ebikolwa eby'omubiri, mugenda kubeera balamu.
14
Kubanga abo bonna abatwalibwa Mwoyo wa Katonda, baana ba Katonda.
15
Kubanga temwafuna mwoyo gwa buddu okubazza mu kutya, naye mwafuna mwoyo gw'abaana abeebonanye, Katonda mwe tumukoowoolera nti: “Abba, Taata.”
16
Anti Mwoyo ajulira munda wamu n'omwoyo gwaffe nti tuli baana ba Katonda.
17
Oba nno tuli baana, tuli basika, basika ba Katonda, era abasika awamu ne Kristu, singa tubonaabona wamu naye tulyoke tugulumizibwe wamu naye.
18
Nze ndaba ng'ennaku ez'omu budde buno toyinza kuzigeranya na kitiibwa kiritwolekebwa.
19
Anti ebitonde birindiridde n'amaddu okwolekebwa kw'abaana ba Katonda.
20
Kubanga ebitonde byassibwa mu kubeera entagasa, si lwa kweyagalira, naye lwa kubeera oli eyabifuula atyo, n'abissa mu kusuubira.
21
Anti n'ebitonde byennyini birinunulibwa mu buddu bw'okuvunda ne bifuna eddembe ly'abaana ba Katonda.
22
Tumanyi nga na kati ebitonde byonna bisinda, byenyoola mu kulumwa ng'oli azaala.
23
Si byo byokka naye naffe ffennyini, newandibadde nga tufunye ku bibala ebisooka ebya Mwoyo, tusinda muli munda nga tulindirira n'amaddu okwebonanyizibwa ng'abaana emibiri gyaffe bwe girinunulibwa.
24
Mu kusuubira tuti mwe twalokolerwa. Naye okusuubira ky'olabako si kusuubira; ate ani asuubira ky'alabako?
25
Oba nno tusuubira kye tutalabako, tukisuubira n'obugumiikiriza.
26
Ne Mwoyo era atuyamba mu bunafu bwaffe, anti tetumanyi kwegayirira nga bwe tugwanira; ye Mwoyo yennyini atusabira ng'asinda ebitalojjeka.
27
Awo oli ayeekebejja emitima gy'abantu ategeera bulungi ekiri mu mutima gwa Mwoyo, kubanga Mwoyo asabira abatuukirivu nga Katonda bw'ayagala.
28
Sso tumanyi nga Katonda mu byonna akolerera bulungi abo bonna abamwagala, abo abaayitibwa okusinziira ku nteekateeka ze.
29
Anti bonna abo be yamanya okuva mu masooka, yabateebeza okutwala ekifaananyi ky'Omwana we, abeere bw'atyo omuggulanda mu b'oluganda enkumu.
30
Be yateebeza bw'atyo, be bo be yayita; ate be yayita, be bo be yafuula abatuukirivu, ate be yafuula abatuukirivu be bo be yagulumiza.
31
Awo nno bino tukyabyogeddeko ki? Oba Katonda ali ku ludda lwaffe, ani anaatuwakanya?
32
Olaba n'Omwana we yennyini teyamubalira, n'amuwaayo okubeera ffe, asobola atya byonna obutabituweerako?
33
Ani alivunaana abalonde ba Katonda? Ye Katonda abafuula abatuukirivu.
34
Ani alibasalira omusango? Ye Kristu Yezu eyafa, ate nnyini n'azuukira mu bafu, oyo ali ku ddyo gwa Katonda, ate atusabira.
35
Kale nno ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristu? Nnaku, bwemi, kiyigganyizo, njala, oba kuyita busa, oba kabenje, oba kitala?
36
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Olw'okubeera ggwe tuli mu kuttibwa olunaku lwonna, tuyisibwa ng'endiga ez'okutta.”
37
Naye mu ebyo byonna tuwangulira waggulu mw'oyo eyatwagala.
38
Nkakasiza ddala nze nti newandibadde olumbe, newandibadde obulamu, newandibadde bamalayika, yadde abafuzi, newandibadde ebiriwo, yadde ebirijja, newandibadde amaanyi,
39
newandibadde obugulumivu, yadde okukka wansi, newandibadde ekitonde ekirala kyonna tekirisobola n'akatono kutuggya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristu Yezu Mukama waffe.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16