bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 15
Romans 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
1
Ffe ab'amaanyi tuteekwa okugumiikiriza abanafu; tuleme kwesanyusa ffekka.
2
Buli omu mu ffe asanyuse munne lwa bulungi bwe, okumuzimba.
3
Anti Kristu teyeesanyusa yekka, naye nga bwe kyawandiikibwa: “Ebivumo by'abakuvuma byagwa ku nze.”
4
Anti byonna ebyasooka okuwandiikibwa byawandiikibwa kutuyigiriza; olw'okugumiikiriza n'olw'Ebiwandiiko okutugumya, tusuubire.
5
Katonda nnyini kugumiikiriza n'okukubagiza abawe mwenna mubeere kimu nga mulabira ku Kristu Yezu,
6
olwo n'akamwa kamu mutendereze Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yezu Kristu.
7
Awo nno buli omu akkirize munne nga Kristu bwe yabakkiriza olw'ekitiibwa kya Katonda.
8
Kubanga mbagamba nti Kristu yafuuka muweereza w'abatayirire okulaga amazima ga Katonda, akakase ebisuubizo ebyasuubizibwa bajjajjaffe,
9
n'ab'amawanga batendereze Katonda olw'ekisa kye, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Kyendiva nkugulumiza mu mawanga, ndiyimbira erinnya lyo ettendo.”
10
Ate era awalala wagamba nti: “Amawanga, mujaguze n'abantu be;”
11
ate nti: “Amawanga mwenna, mutendereze Omukama, nammwe abantu mwenna, mumugulumize.”
12
Ate era ne Yisaaya n'agamba nti: “Ekikolo kya Yesse kirijja, oyo alisituka okufuga amawanga, mu ye amawanga mwe galisuubira.”
13
Kale Katonda nnyini ssuubi abajjuze n'essanyu lyonna n'eddembe mu kukkiriza, mulyoke muyitirire mu ssuubi olw'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu.
14
Baganda bange, nange nzennyini ndi mumativu ku mmwe, nti mubugaanye obulungi, mujjudde okumanya kwonna era musobola okubuuliragana.
15
Sso era abooluganda, mu bimu mbawandiikidde nga ndi mukalangafu nga njagala okubibajjukiza ku lw'eneema ya Katonda gye yampa
16
okubeera omuweereza w'ebitukuvu owa Kristu Yezu mu b'amawanga, mpeereze ekitambiro ky'Evangili ya Katonda, ab'amawanga bafuuke ekitone ekisiimibwa, Mwoyo Mutuukirivu ky'atukuzizza.
17
Awo nno mu Kristu Yezu nnina kwe nsinziira okwetenda olw'ebyo bye nkola olwa Katonda.
18
Kubanga siguma kwogera ku kintu kyonna okuggyako ebyo Kristu by'akoze ng'ayita mu nze nsobole okuwangula obuwulize bw'ab'amawanga, mu bigambo ne mu bikolwa,
19
mu maanyi g'obubonero n'ebyewuunyo, mu maanyi ga Mwoyo Mutuukirivu; leero okuviira ddala e Yeruzaalemu n'okutuukira ddala okwetooloola Yilliriko, wonna nabunyaayo Evangili ya Kristu.
20
Ne nfuba bwe ntyo Evangili eno okugiyigiriza, naye nga siyigiriza gye baamala edda okuwulira ku Kristu, nneme kuzimbira ku ntandikwa ya mulala, wabula nga bwe kyawandiikibwa,
21
“Abo abaali batamubuulirwanga baliraba, abo abaali batawuliranga balitegeera.”
22
Eyo y'ensonga eyanziyiza emirundi egiwera okujja ewammwe, n'okutuusa kati ekyanziyiza.
23
Naye kati mu bitundu bino nga bwe sikyalinamu kifo, ate nga n'emyaka giigino mingi nga neegomba okujja ewammwe,
24
bwe ndiba ndaga mu Sipaniya, nsuubira okuyita ewammwe mbalabeko; bwe ndimala okubeerako nammwe ne tusanyukamu akabanga, mulimperekerako okweyongerayo eri.
25
Kati nkyalagako Yeruzaalemu mbeeko kye nnyambamu abatuukirivu baayo.
26
Kubanga ab'omu Masedoniya ne mu Akayiya baasiima okubaako kye bakuŋŋaanyaawo olw'abatuukirivu abaavu abali e Yeruzaalemu.
27
Baalaba nga kisaana, era ggwe wamma babalinako ebbanja, kubanga ab'amawanga kati nabo baagabanye ku birungi eby'omwoyo bye balina, awo nno bano nabo balagirwa okubayamba mu by'omubiri.
28
Kale nno bwe ndimala omulimu ogwo, n'okutuusa ebyakuŋŋaanyizibwa, nzija kuyitira ewammwe nga ŋŋenda mu Sipaniya.
29
Mmanyi nga bwe ndijja ewammwe, ndijjira mu mukisa mujjuvu ogwa Kristu.
30
Awo nno, abooluganda, mbeegayiridde ku lwa Mukama waffe Yezu Kristu n'olw'okwagala kwa Mwoyo Mutuukirivu, munyiikire wamu nange okwegayirira Katonda nga munsabira,
31
ntaasibwe abatakkiriza ab'omu Buyudaaya; era n'obuyambi bwe ntwalira abatuukirivu e Yeruzaalemu busiimibwe,
32
Katonda ng'ayagadde, ndyoke ntuuke ewammwe nga ndi mu ssanyu, mpeereko nga tuli wamu.
33
Kale Katonda Kiwamirembe abeere nammwe mwenna. Amiina.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16