bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 5
Romans 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
1
Kale nno tumaze okufuuka abatuukirivu olw'okukkiriza, tulina emirembe ne Katonda waffe ku lwa Mukama waffe Yezu Kristu.
2
Mu ye mwe twayita ne tutuuka ku neema eno gye tulimu, era twetendera mu ssuubi ery'okugabana ku kitiibwa kya Katonda.
3
Si ekyo kyokka, twetendera ne mu nnaku zaffe, kubanga tumanyi ng'ennaku zireeta kugumiikiriza,
4
okugumiikiriza kuleeta kubanguka, ate okubanguka kuleeta ssuubi;
5
okusuubira kwo tekutuswaza, anti ng'okwagala kwa Katonda kwayiibwa mu mitima gyaffe olwa Mwoyo Mutuukirivu eyatuweebwa.
6
Kristu, obudde bwe bwatuuka, n'afiirira ffe abatatya Katonda n'obwaffe nga bwe twali nga tetweyinza.
7
Omuntu nno kizibu okufiirira omutuukirivu; sso nno waakiri omulungi wandibaawo ayeewaayo okumufiirira.
8
Naye ye Katonda yatwoleka nga bw'atwagala, anti twali tukyali boonoonyi, Kristu n'atufiirira.
9
Leero nno tumaze okufuulibwa abatuukirivu mu musaayi gwe, mu ye mwe tuliwonera obusungu.
10
Oba twali tukyali balabe, ne tutabagana ne Katonda olw'okufa kw'Omwana we, alabisa kati nga tumaze okutabagana, tugenda kulokolebwa obulamu bwe bwennyini.
11
Si kye kyokka, n'okwetenda twetenda mu Katonda ku lwa Mukama waffe Yezu Kristu, oyo mwe tufunidde okutabagana kwaffe kati.
12
Kale nno ng'ekibi bwe kyayingira mu nsi muno nga kiyita mu muntu omu, n'okufa ne kujja nga kuyita mu kibi, okufa ne kubuna mu bantu bonna, kubanga bonna baayonoona…
13
Ekibi kyaliwo mu nsi okutuusa etteeka lwe lyajja; naye ekibi tekibalibwa etteeka we litali.
14
Naye okufa kwakajjala okuviira ddala ku Adamu okutuuka ku Musa, ne mu abo ebibi byabwe ebitaali kumenya tteeka ng'okusobya kwa Adamu eyali ekifaananyi ky'oyo eyali ow'okujja.
15
Naye ekirabo tekigeranyizika ku nsobi; oba abantu enkuyanja baafa olw'okusobya kw'omuntu omu, eneema ya Katonda n'ekirabo byayitirira nnyo, olw'eneema y'omuntu omu Yezu Kristu.
16
N'ekirabo tekigeranyizika na kwonoona kw'omuntu omu. Kubanga okulamula okwaddirira okwonoona kw'omuntu omu kwamalira mu kumusinza musango, naye ekirabo ekyaddirira ensobi ennyingi kyaleeta butuukirivu.
17
Oba olw'ensobi y'omuntu omu okufa kwakajjala nga kufulumye mu omu, abalifuna omwero gw'eneema n'ekirabo ky'obutuukirivu balisingawo okukajjala mu bulamu nga bafuluma mu omu Yezu Kristu.
18
Kale nno ng'ensobi y'omu bwe yaleetera abantu bonna okusalirwa omusango, bwe kityo era n'ekikolwa eky'omu eky'obutuukirivu bwe kyaleetera abantu bonna obutuukirivu obw'obulamu.
19
Anti ng'era olw'obutawulira bw'omuntu omu bangi bwe bafuuka aboonoonyi, bwe kityo era olw'obuwulize bw'omu bangi bwe balifuuka abatuukirivu.
20
Etteeka lyajja kwongera bwongezi nsobi; naye ekibi gye kyakomya okweyongera, n'eneema nayo gye yakomya okuyitirira.
21
Ng'ekibi bwe kyakajjala nga kiyita mu kufa, n'eneema bw'erikajjala etyo ng'eyita mu butuukirivu okuleeta obulamu obutaggwaawo ku lwa Yezu Kristu Mukama waffe.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16