bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 10
Romans 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
1
Abooluganda, omutima gwange kye gwegomba era kye nsaba Katonda mu ssaala ku lwabwe kye kino, nti batuuke ku kulokoka.
2
Nange mbajulira nti batakabanira Katonda naye tebamanyi kukikola bulungi.
3
Kubanga olw'obutamanya butuukirivu buva wa Katonda, baageza okutuuka ku butuukirivu mu ngeri eyaabwe ku bwabwe, tebaagondera butuukirivu bwa Katonda.
4
Anti Kristu ye nkomerero y'Etteeka, buli yenna amukkiriza afuuke omutuukirivu.
5
Musa yawandiika nti omuntu atuukiriza obutuukirivu obuli mu Tteeka, oyo aliba abutuusizza, aliba mulamu olw'okubeera bwo.
6
Sso obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwo bugamba nti: “Togambanga mu mutima gwo nti: ‘Ani anaayambukayo mu ggulu?’ - kwe kugamba nti okunonayo Kristu.
7
Oba nti: ‘Ani alikka mu nnyanga?’ - kwe kugamba nti okuzuukiza Kristu mu bafu.”
8
Ekitabo ekitukuvu kigamba kitya? Kigamba nti: “Ekigambo kikuli kumpi, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo” – kwe kugamba nti ekigambo ky'okukkiriza kye tuyigiriza.
9
Kubanga bw'oyatula n'akamwa ko nti Yezu ye Mukama, ate mu mutima gwo n'okkiriza nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka.
10
Omuntu bw'akkiriza n'omutima gwe, n'afuuka mutuukirivu; bw'ayatula n'akamwa ke, alokoka.
11
Anti Ekiwandiiko ekitukuvu kigamba nti: “Buli yenna amukkiriza taliswazibwa.”
12
Tewali nno njawulo, oba Muyudaaya oba Mugereeki, anti ng'Omukama wa bonna ye omu, agabira ebingi bonna abamukoowoola.
13
Anti: “Buli alikoowoola erinnya ly'Omukama aliwonyezebwa.”
14
Naye abantu balimukoowoola batya gwe batakkiriza, ate balimukkiriza batya gwe batawulirangako? Baliwulira batya awatali ayigiriza?
15
Abantu baliyigiriza batya wabula beppo nga batumiddwa? Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Ebigere by'abo abalangirira amawulire amalungi nga bisanyusa!”
16
Kyokka si bonna nti baagondera Evangili; anti Yisaaya agamba nti: “Ayi Mukama, ani yakkiriza bye yawulira okuva gye tuli?”
17
Awo nno okukkiriza kuva mu kuwulira, ate ekiwulirwa kiva mu kigambo kya Kristu ky'ayogera.
18
Naye mbuuza, tebawuliranga? Okuwulira baawulira; manyanga: “Eddoboozi lyabwe lyatuuka mu nsi yonna, ebigambo byabwe ku nkingi z'ensi.”
19
Era mbuuza, Yisirayeli teyamanya? Musa ye yasooka n'agamba nti: “Nzija kubakwasisa obuggya ku bantu abatali ggwanga; mbanyiize n'eggwanga essiru.”
20
Ne Yisaaya n'agamba n'obuvumu nti: “Nazuulibwa abo abatannoonyangako; nalabibwa abo abatanneebuuzanga.”
21
Bw'atuuka ku Yisirayeli n'agamba nti: “Namala olunaku lwonna emikono gyange nga njanjululizza eri abantu abatampuliriza, abampakanya.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16