bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 16
Romans 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
1
Mbakwasizza mmwannyinaffe Febe, omudyakoni w'omu Ekleziya y'e Cenkureya;
2
mumwanirize mu Mukama nga bwe kisaanira abatuukirivu; mumuyambe mu byonna by'anaaba abeetaazeeko, kubanga naye yayamba bangi nga nange mw'ontwalidde.
3
Mundabire Prisika ne Akwila, bakozi bannange mu Kristu Yezu,
4
abaawaayo ensingo zaabwe okuwonya obulamu bwange. Abo si nze nzekka abeebaza, naye n'Ekleziya zonna ez'omu mawanga zibeebaza.
5
Era mundabire n'Ekleziya akuŋŋaanira mu nnyumba zaabwe. Mundabire omwagalwa Epeneto, ekibala kya Aziya ekibereberye eri Kristu.
6
Mundabire Mariya eyakola ebingi mu mmwe.
7
Mundabire Anduroniko ne Yuniya, abooluganda era basibe bannange, abatendebwa mu Batume, abaali mu Kristu nze nga sinnaba.
8
Mundabire Ampuliyato, omwagalwa mu Mukama.
9
Mundabire Wurubano, mukozi munnaffe mu Kristu, era ne Sitako omwagalwa.
10
Mundabire Apelle eyakakata mu Kristu. Mundabire ab'ewa Arisitobulo.
11
Mundabire muganda wange Erodiyoni; mundabire abo mu Mukama ab'omu nnyumba ya Narikisso.
12
Mundabire Tirufayina ne Tirufoza abafaabiina mu Mukama. Mundabire mukwano gwange Perisi akoze ebingi mu Mukama.
13
Mundabire Rufo omwawufu mu Mukama; mundabire ne nnyina era mmange.
14
Mundabire Asunkurito, Fulegoni, Erime, Paturoba, Erume n'abooluganda bwe bali.
15
Mundabire Filologo, Yuliya, Nerewo ne mwannyina, ne Olimpa, n'abatuukirivu bonna bwe bali.
16
Mulamusaganye n'okunywegeragana okutukuvu. Ekleziya za Kristu zonna zibatumidde.
17
Abooluganda, mbeegayiridde mwekkaanye abo ababaleetera enjawukana n'okusobeza ne bakontana n'enjigiriza gye mwayiga; mubeewale.
18
Anti ab'engeri eyo tebaweereza Mukama waffe Kristu, wabula baweereza mbuto zaabwe, era balimbalimba ab'emitima emyangu n'ebigambo byabwe ebiweweevu ebisuutasuuta.
19
Anti obuwulize bwammwe bumanyiddwa bonna, bwe ntyo mbeenyumirizaamu; nandyagadde mubeere bagezi mu buli kirungi, abatakuusa awali ekibi.
20
Olwo Katonda Kiwamirembe ajja kubetentera mangu Sitaani wansi w'ebigere byammwe. Eneema ya Mukama waffe Yezu Kristu ebeere nammwe.
21
Timotewo mukozi munnange, abatumidde, era ne Lukiyo ne Yasoni ne Sosipateri, baganda bange.
22
Nange Terisiyo awandiise ebbaluwa eno, mbalamusa mu Mukama.
23
Gayiyo, asuza nze n'Ekleziya yenna, abatumidde. Erasto, omuwanika w'ekibuga, abatumidde, ko n'owooluganda Kwarito.
25
Eri oyo asobola okubafuula ab'amaanyi, olw'Evangili yange n'enjigiriza ya Yezu Kristu, olw'okubikkulibwa kw'ekyama ekyakisibwa okuva edda n'edda,
26
kati ekyoleseddwa ne kimanyisibwa, n'abalanzi kye baawandiika, olw'ekiragiro kya Katonda ataggwaawo, ekimanyisiddwa amawanga gonna, okugatuusa ku buwulize obuva mu kukkiriza,
27
oyo nno Katonda, yekka omugezi, aweebwe ettendo mu Yezu Kristu emirembe n'emirembe. Amiina.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16