bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 7
Romans 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
1
Abooluganda, kazzi temumanyi – njogera eri abo abamanyi Etteeka – ng'etteeka omuntu limufuga ng'akyali mulamu?
2
Bw'atyo omukazi etteeka limusiba ku bba ebbanga lyonna ng'akyali mulamu; naye kasita bba afa, ng'asumuluddwa ku tteeka erimusiba ku bba.
3
N'olw'ekyo bw'abeera n'omusajja omulala nga bba akyaliwo, bamuyita mwenzi; sso bba bw'afa, ng'atakkuluziddwa ku tteeka, era bw'afumbirwa omusajja omulala taba mwenzi.
4
Awo nno, abooluganda, nammwe mu mubiri gwa Kristu Etteeka mwalifuukira bafu, mulyoke mubeere ba mulala, b'oyo eyazuukira mu bafu, tulyoke tubalire Katonda ebibala.
5
Sso bwe twali tukyagoberera omubiri, amaddu gaffe amabi nga gamaze okusiikuulibwa Etteeka, gaakozanga ebitundu by'omubiri gwaffe ne bibala ebibala eby'olumbe.
6
Naye kati twatakkuluzibwa ku Tteeka, ne tubeerera bafu ekyo ekyatusibanga, kyetuva tusobola okuweereza mu ngeri empya mu mwoyo, naye si mu eri enkadde ey'ennukuta.
7
Kale tugambe ki? Nti Etteeka kibi? N'akatono! Naye ate teriba kubeera Tteeka, ekibi sandikimanye. Sandimanye kwegomba singa Etteeka teryaŋŋamba nti: “Teweegombanga.”
8
Naye ekibi kyeyamba ekiragiro, ne kireeta mu nze buli kwegomba kwonna. Awatali Tteeka ekibi kiba kifu.
9
Nali mulamu olumu nga tewali Tteeka; naye ekiragiro bwe kyajja, ekibi ne kiramuka, ne nfa.
10
Ne neesanga ng'ekiragiro kyennyini ekyali kizze okumpa obulamu, kindeetedde kufa.
11
Kubanga ekibi kyeyamba akakisa k'ekiragiro ne kinnimba, ne kyeyamba ekiragiro okunzita.
12
Weewaawo Etteeka lyo ttukuvu, n'ekiragiro kitukuvu, kituukirivu era kirungi.
13
Awo nno ekirungi kye kyandeetera okufa? N'akatono! Wabula ekibi; ekyo kyandeetera okufa nga kiyita mu kiri ekirungi, kyo kiryoke kyeyoleke ng'ekibi, nga kiyita mu kiragiro kifuukire ddala ekibi okuyitirira.
14
Tumanyi bulungi ng'Etteeka kintu kya mwoyo; naye nze ndi wa mubiri, eyatundibwa eri ekibi.
15
Sitegeera bye nkola, kubanga sikola kye njagala, wabula nkola ebyo bye nkyawa.
16
Oba kye saagala kye nkola, olwo nange nzikiriza ng'Etteeka ddungi.
17
Leero nno si yali nze akikola, wabula ekibi ekisula mu nze.
18
Anti mmanyi nga mu nze, kwe kugamba nti mu mubiri gwange, temuli kirungi; kubanga okwagala okukola ekirungi mu nze mwe kuli, naye okukikola tekuliimu.
19
Anti ekirungi kye njagala si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola.
20
Oba kye saagala ate kye nkola, awo nno si nze nkikola, wabula ekibi ekisula mu nze.
21
Kati nno linfuukidde tteeka nti bwe njagala okukola ekirungi, ekibi kindi awo.
22
Munda muli Etteeka lya Katonda ndisanyukira,
23
naye nsanga mu bitundu by'omubiri gwange etteeka eddala erirwanyisa etteeka eriri mu mwoyo gwange, ne linfuula musibe wa tteeka ery'ekibi eriri mu bitundu by'omubiri gwange.
24
Nga ndabye nze! Ani alimponya omubiri guno ogusuliridde okufa?
25
Katonda yeebazibwe ku lwa Yezu Kristu Mukama waffe. Bwe kityo ku lwange mu mutima mpeereza Etteeka lya Katonda, naye mu mubiri mpeereza tteeka lya kibi.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16