bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Romans 11
Romans 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
1
Awo nno mbuuza, Katonda yayabulira abantu be? N'akatono! Nze nzennyini ndi Muyisirayeli, muzzukulu wa Yiburayimu, ow'omu kika kya Benyamiini.
2
Katonda tasuuliriranga bantu be be yamanya okuva edda. Temumanyi Ebiwandiiko ebitukuvu kye byogera ku Eliya ng'alaajanira Katonda olw'Abayisirayeli, nti:
3
“Ayi Mukama, abalanzi bo babasse, emyaliiro gyo bagisimbuddewo; nze nzekka nze nsigaddewo, ate nange bannoonya okunzita.”
4
Katonda okumwanukula yamugamba atya? Yamugamba nti: “Neeterekeddewo abasajja kasanvu abatakubiranga Baali mavi.”
5
Bwe guli na kati; waliwo abaasigalawo, eneema be yeeroboza.
6
Oba nno neema, awo nno sibaalobozebwa lwa bikolwa, kubanga olwo eneema teyandibadde neema n'akamu.
7
Awo nno kiki? Yisirayeli yalemwa okufuna kye yali agoba; abalondemu be bakifunye; abasigaddewo baaguguba,
8
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Katonda yabawa omwoyo gw'otulo otungi, amaaso agataalabe, n'amatu agataawulire n'okutuusa ku lunaku luno olwa leero.”
9
Dawudi naye n'agamba nti: “Olujjuliro lwabwe lubafuukire omutego, ekitimba, ekyesittazo, ekibonerezo;
10
amaaso gaabwe gajjeko ekifu, baleme kulaba, n'emigongo gyabwe gibenduke ennaku zonna.”
11
Awo nno mbuuza, beesittala ne bagwa? N'akatono! Kyokka olw'okusobya kwabwe okulokoka kwatuuka ku b'amawanga Yisirayeli alyoke akwatibwe obuggya.
12
Oba okusobya kwagaggawaza ensi, era bo okulemwa nga kyagaggawaza ab'amawanga, obugagga bulyenkana wa Yisirayeli yenna ng'akkiriza?
13
Kati ab'amawanga mmwe ŋŋamba: Nga nkyali Mutume w'amawanga, omulimu gwange nagussangamu ekitiibwa,
14
nga njagala mu b'olulyo lwange nsiikuulemu obuggya, mbeeko abamu mu bo be ndokola.
15
Oba okubasuula kyaleeta okutabagana kw'ensi, okubakkiriza kiritegeeza ki? Si kuzza bulamu ababadde abafu?
16
Ebibala ebisooka bwe biba ebitukuvu, n'obutta bwonna buba butukuvu; ekikolo bwe kiba ekitukuvu, n'amatabi gonna bwe gaba.
17
Naye singa amatabi agamu gawawaagulwako, ate ggwe oliva ey'oku ttale, ne bakuwaayira kuli mu kifo kyago, okugabana ku bugimu bw'oliva,
18
leka nno kwetendera ku matabi; bw'oba weetenda jjukira nti si ggwe owaniridde ekikolo, ekikolo kye kikuwaniridde.
19
Ojja kugamba nti: “Anti amatabi gaawawaagulwako nze bampaayireko.”
20
Kituufu. Gaawawaagulwako olw'obutakkiriza; ggwe wooli lwa kubeera kukkiriza. Awo nno leka kwetenda, tya buti.
21
Obanga Katonda amatabi agaakulirako teyagasaasira, nammwe tagenda kubasaasira.
22
Mutegeere nno ekisa kya Katonda ate n'obukambwe bwe. Bukambwe ku bali abaagwa, naye ku mmwe kisa kya Katonda singa musigala mu kisa kye, oba si ekyo nammwe mulitemwako.
23
Na bali nabo bwe bataligugubira mu butakkiriza bwabwe, baliwaayirwako, kubanga Katonda asobola bulungi okubawaayirako ogwokubiri.
24
Oba wasalibwa ku oliva ey'oku ttale kwe wakulira ne bakuwaayira ku oliva ennime, mu butonde ekitali kya bulijjo, nga kiriba kyangu amatabi agaakulirako okuddamu okuwaayirwa ku oliva yaago.
25
Abooluganda, saagala mubeere awo nga temumanyi kyama kino, sikulwa nga mweyita abagezi: okuguguba kwajjira kitundu butundu eky'Abayisirayeli, okutuusa ab'amawanga bonna lwe bannaggwayo okuyingira,
26
olwo nno Abayisirayeli bonna ne balyoka balokoka, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omulokozi aliva mu Siyoni, aliggyawo mu Yakobo obukafiiri bwonna;
27
eno y'eriba endagaano yange nabo, bwe ndiggyawo ebibi byabwe.”
28
Weewaawo okusinziira ku Vangili balabe ba Katonda olw'okubeera mmwe; naye okusinziira ku kulondebwa kwabwe, bakyali baganzi olw'okubeera bajjajjaabwe.
29
Katonda bw'agaba oba bw'ayita, teyejjusa.
30
Nga mmwe luli bwe mwali mutawulira Katonda, ate kati n'abagirira ekisa olw'okubeera obutawulira bwa bali,
31
nabo kati tebawulira olw'okubeera ekisa ekibagiriddwa nabo balyoke basaasirwe.
32
Kubanga Katonda abantu bonna yabasibira mu butawulira alyoke bonna abasaasire.
33
Obugagga, amagezi n'okumanya kwa Katonda nga biwanvu kuzimiriza! By'ateesa nga tebyefumiitirizika, n'amakubo ge nga tegawenjeka!
34
Ani yali ategedde Omukama by'alowooza? Ani yali amusalidde ku magezi?
35
Ani yali amutonedde nti ye kati amuddize?
36
Kubanga byonna byava mu ye, byayita mu ye era bidda wuwe. Atenderezebwe emirembe gyonna. Amiina.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16