bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 11
Luke 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
1
Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'ali mu kifo ekimu ng'asaba, bwe yamala okusaba, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti, “ Mukama waffe, tuyigirize okusaba, era nga Yokaana bwe yayigirizanga abayigirizwa be.”
2
N'abagamba nti, “ Bwe musabanga, mugambanga nti Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje.
3
Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey'olunaku.
4
Era otusonyiwe ebyonoono byaffe; kubanga naffe tumusonyiwa buli gwe tubanja. So totutwala mu kukemebwa.”
5
N'abagamba nti, “ Ani ku mmwe alina ow'omukwano aligenda ewuwe ettumbi, n'amugamba nti Mukwano gwange, mpola emigaati esatu;
6
kubanga mukwano gwange azze, ava mu lugendo, nange sirina kya kussa mu maaso ge;
7
n'oli ali munda n'addamu n'agamba nti, ‘Tonteganya; kaakano oluggi luggale, abaana bange nange tumaze okwebaka, siyinza kugolokoka kukuwa?’
8
Mbagamba nti Newakubadde nga tagolokoka n'amuwa kubanga mukwano gwe, naye olw'okutayirira kwe anaagolokoka n'amuwa byonna bye yeetaaga.
9
Nange mbagamba mmwe nti Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo.
10
Kubanga buli muntu yenna asaba aweebwa; n'anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo.
11
Era ani ku mmwe kitaawe w'omuntu omwana we bw'alimusaba omugaati, alimuwa ejjinja? Oba ekyennyanja, n'amuwa omusota mu kifo ky'ekyennyanja?
12
Oba bw'alisaba eggi, n'amuwa enjaba?
13
Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abo abamusaba.”
14
Yesu yali ng'agoba dayimooni omusiru. Awo dayimooni bwe yamuvaako kasiru n'ayogera, ebibiina ne byewuunya.
15
Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Agoba dayimooni ng'akozesa obuyinza bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.”
16
N'abalala, ne bamwagaza akabonero akava mu ggulu, nga bamukema.
17
Naye ye, bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti, “ Buli bwakabaka bwonna bwe bwawukanamu bwo bwokka buzikirira; n'ennyumba bw'eyawukanamu ennyumba eyo egwa.
18
Ne Setaani bw'ayawukanamu ye yekka, obwakabaka bwe buliyimirirawo butya? Kubanga mugamba nti ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli.
19
Era oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Bwe batyo kye baliva baba abalamuzi bammwe.
20
Naye bwe mba ngobesa dayimooni engalo ya Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde.
21
Omuntu ow'amaanyi ng'alina eby'okulwanyisa bw'akuuma oluggya lwe, ebintu bye bibeera mirembe:
22
naye amusinga amaanyi bw'amulumba n'amuwangula, amunyagako eby'okulwanyisa bye byonna bye yeesiga, n'agaba ebintu bye.
23
Ataba nange ye mulabe wange; era atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.”
24
“Dayimooni bw'ava ku muntu, ayita mu bifo ebitaliimu mazzi ng'anoonya aw'okuwummulira; bw'abulwa agamba nti Kanzireyo mu nnyumba yange mwe nnava.
25
Bw'ajja, agiraba ng'eyereddwa etimbiddwa.
26
Kale agenda, n'aleeta badayimooni abalala musanvu ababi okumusinga ye, ne bayingira ne babeera omwo: kale eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo bibeera bibi okusinga eby'olubereberye.”
27
Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'akyayogera ebyo, omukazi eyali mu kibiina n'ayimusa eddoboozi lye n'amugamba nti, “ Lulina omukisa olubuto olwakuzaala n'amabeere ge wayonkako.”
28
Naye ye n'agamba nti, “ Ekisinga, balina omukisa abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma.”
29
Awo ebibiina bwe byali nga bikuŋŋaanira w'ali, n'atandika okugamba nti, “ Emirembe gino mirembe mibi: ginoonya akabonero, naye tegiriweebwa kabonero wabula akabonero ka Yona.
30
Kuba Yona nga bwe yali akabonero eri ab'e Nineeve, bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'aliba eri emirembe gino.
31
Kabaka omukazi ow'obukiikaddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, alibasinza omusango: kubanga yava ku nkomerero z'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.
32
Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'emirembe gino, baligisinza omusango: kubanga beenenya olw'okubuulira kwa Yona; era, laba, asinga Yona ali wano.”
33
“Tewali akoleeza ttaala n'agissa mu bunnya, oba munda w'ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo, abayingira balabe bw'eyaka.
34
Ettaala y'omubiri gwo lye liiso lyo; eriiso lyo bwe liraba obulungi, n'omubiri gwo gwonna guba gujjudde ekitangaala; naye bwe liba ebbi, n'omubiri gwo nga gujjudde ekizikiza.
35
Kale weekuumenga ekitangaala kyolina kiremenga okubeera ekizikiza.
36
Kale omubiri gwo gwonna bwe gujjula ekitangaala, nga tegulina kitundu na kimu kya kizikiza, gwonna gulijjula ekitangaala ng'ettaala bw'ekumulisiza n'ekitangaala kyayo.”
37
Awo Yesu bwe yali ng'akyayogera, Omufalisaayo n'amuyita ewuwe okulya emmere: Yesu n'ayingira n'atuula ku mmere.
38
Omufalisaayo ne yeewuunya bwe yalaba Yesu nga tasoose kunaaba nga tannalya.
39
Mukama waffe n'amugamba nti, “ Mmwe Abafalisaayo munaaza ku ngulu w'ekikompe n'aw'ekibya; naye munda yammwe mujjudde obunyazi n'obubi.
40
Mmwe abasiru, oyo eyakola kungulu si ye yakola ne munda?
41
Naye ebiri munda mubiwengayo okuba eby'okusaasira; era, laba, byonna birongoofu gye muli.”
42
“Naye zibasanze mmwe, Abafalisaayo! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira n'akakubansiri n'enva zonna, naye obwenkanya n'okwagala Katonda mubiyita bbali: ebyo kibagwanidde okubikolanga, na biri obutabirekangayo.
43
Zibasanze mmwe, Abafalisaayo kubanga mwagala entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro n'okulamusibwa mu butale.
44
Zibasanze! kubanga mufaanana amalaalo agatalabika, abantu ge batambulirako nga tebagamanyi.”
45
Awo omu ku bayigiriza b'amateeka n'addamu n'amugamba nti, “ Omuyigiriza, bw'ogamba bw'otyo ovuma naffe.”
46
N'agamba nti, “ Nammwe, abayigiriza b'amateeka, zibasanze! kubanga mutikka abantu emigugu egiteetikkika, mmwe bennyini gye mutayagala kukomako na lunwe lwammwe.
47
Zibasanze! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, naye bajjajjammwe be baabatta.
48
Bwe mutyo muli bajulirwa nti musiima ebikolwa bya bajjajjammwe: kubanga bo batta bannabbi, nammwe muzimba amalaalo gaabwe.
49
N'amagezi ga Katonda kye gaava gagamba nti Ndibatumira bannabbi n'abatume; abamu ku bo balibatta balibayigganya;
50
omusaayi gwa bannabbi bonna, ogwayiika okuva ku kutondebwa kw'ensi, kyeguliva guvunaanibwa abantu ab'emirembe gino;
51
okuva ku musaayi gwa Abbeeri okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w'ekyoto ne Yeekaalu: mazima mbagamba mmwe nti Gulivunaanibwa abantu ab'emirembe gino.
52
Zibasanze mmwe, abayigiriza b'amateeka! kubanga mwatwala ekisumuluzo eky'okutegeera: mmwe bennyini temwayingira, n'abaali bayingira mwabaziyiza.”
53
Awo bwe yavaayo, abawandiisi n'Abafalisaayo ne batandika okumuteganya ennyo, n'okumukemereza ebigambo bingi;
54
nga bamutega mu bigambo, bawulire ebinaava mu kamwa ke, balyoke bamuwawaabire.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24