bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 19
Luke 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
1
Yesu n'ayingira mu kibuga Yeriko n'aba ng'akiyitamu.
2
Kale, laba, waaliwo omusajja erinnya lye Zaakayo, eyali omukulu w'abawooza, era nga mugagga.
3
N'asala amagezi okulaba Yesu bw'ali; n'atasobola olw'ekibiina, kubanga ekigera kye yali mumpi.
4
N'adduka n'abakulembera n'alinnya ku muti omusukomooli alabe Yesu: kubanga yali agenda kuyita mu kkubo eryo.
5
Awo Yesu bwe yatuuka mu kifo w'ali, n'atunula waggulu, n'amugamba nti, “ Zaakayo, kka mangu; kubanga leero kiŋŋwanidde okutuula mu nnyumba yo.”
6
N'akka mangu, n'amwaniriza ng'asanyuka.
7
Bwe baalaba, ne bamwemulugunyiza, nga bagamba nti, “ Ayingidde okusula omw'omuntu alina ebibi.”
8
Zaakayo n'ayimirira n'agamba Mukama waffe nti, “ Mukama wange, laba ekitundu ky'ebintu byange nkiwa abaavu; era oba nga waliwo omuntu yenna gwe nnalyazaamaanya ekintu kye, mmuliyira emirundi ena.”
9
Yesu n'amugamba nti, “ Leero okulokolebwa kuzze mu nnyumba muno, kubanga naye mwana wa Ibulayimu.
10
Kubanga Omwana w'omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyo ekyabula.”
11
Awo bwe baawulira ebyo, Yesu ne yeeyongera n'abagerera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemi, era kubanga baali balowooza ng'obwakabaka bwa Katonda bugenda kulabika mangwago.
12
Kyeyava agamba nti, “ Waaliwo omuntu omukulu eyagenda mu nsi y'ewala, okulya obwakabaka alyoke akomewo.
13
N'ayita abaddu be kkumi (10), n'abawa siringi bibiri (200), n'abagamba nti Musuubuzenga ensimbi zino okutuusa we ndijjira.
14
Naye abasajja be ne bamukyawa, ne batuma ababaka okugenda gye yalaga, bagambe nti, ‘Tetwagala oyo kutufuga.’
15
Awo olwatuuka bwe yakomawo ng'amaze okulya obwakabaka, n'alagira okumuyitira abaddu abo be yawa ensimbi, alyoke amanye amagoba ge bafuna.
16
Ow'olubereberye n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, siringi zo abiri (20) zewampa zaakola amagoba ga siringi bibiri (200).’
17
N'amugamba nti, ‘Weebale, omuddu omulungi: kubanga wali mwesigwa ku kintu ekitono ennyo, kale on'oba n'obuyinza okufuga ebibuga kkumi (10).’
18
Ow'okubiri n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, siringi zo abiri (20) zaakola amagoba ga siringi kikumi (100).’
19
N'oyo n'amugamba nti, ‘Naawe ojja kufuga ebibuga bitaano.’
20
N'omulala n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, laba, siringi zo zino abiri (20) nnazisiba mu kiwero nnenzitereka:
21
Kubanga nnakutya kubanga oli muntu mukakanyavu: olonda ky'otaateekawo, okungula ky'otaasiga.’
22
N'amugamba nti, ‘ Akamwa ko ke kanaakunsaliza omusango, ggwe omuddu omubi. Wali omanyi nga ndi muntu mukakanyavu, nga nnonda kye ssaateekawo, nga nkungula kye ssaasiga;
23
kale kiki ekyakulobera okuwa siringi zange abasuubuzi, nange bwe nnandizze nnandizitutte n'amagoba gaazo?’
24
N'agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko siringi ze, muziwe oyo alina siringi ebibiri (200).’
25
Ne bamugamba nti, ‘ Mukama waffe, alina siringi bibiri (200).’
26
Mbagamba nti, ‘Buli alina aliweebwa; naye oyo atalina, era ekyo kyali nakyo kirimuggibwako.
27
Naye abo abalabe bange abatayagala nze kubafuga, mubaleete wano mu batte nga ndaba.’”
28
Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'akulembera n'ayambuka e Yerusaalemi.
29
Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'anaatera okutuuka e Besufaage n'e Bessaniya, okumpi n'olusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n'atuma babiri ku bayigirizwa be,
30
ng'abagamba nti, “Mugende mu mbuga eri mu maaso gammwe; bwe munaayingira omwo munaalaba omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa oguteebagalwangako muntu: mugusumulule muguleete.
31
Era omuntu bw'ababuuza nti, ‘Mugusumululira ki?’ Mumugambe bwe muti nti, ‘ Mukama waffe ye agwetaaga.’”
32
N'abo abaatumibwa ne bagenda, ne basanga byonna nga biri nga bwe yabagamba.
33
Awo bwe baali nga basumulula omwana gw'endogoyi, bannannyini gwo ne babagamba nti, “Musumululira ki omwana gw'endogoyi ogwo?”
34
Ne bagamba nti, “Mukama waffe ye agwetaaga.”
35
Ne baguleeta eri Yesu: ne baaliirira engoye zaabwe ku mwana gw'endogoyi, ne beebagazaako Yesu.
36
Awo yali ng'agenda, abantu ne baaliirira engoye zaabwe mu luguudo.
37
Awo bwe yali ng'anaatera okutuuka mu kikko ky'olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky'abayigirizwa ne batandika okusanyuka n'okutendereza Katonda n'eddoboozi ddene olw'eby'amagero byonna bye baalaba;
38
nga bagamba nti, “Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama: emirembe gibe mu ggulu, n'ekitiibwa kibe waggulu ennyo.”
39
Abafalisaayo abamu abaali mu kibiina ky'abantu ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.”
40
Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mbagamba nti Abo bwe banaasirika, amayinja amangwago ganaayogerera waggulu.”
41
Awo bwe yasembera okumpi, n'alaba ekibuga n'akikaabira,
42
ng'agamba nti, “Singa omanyi ku lunaku luno, ggwe, ebigambo eby'emirembe! naye kaakano bikwekeddwa amaaso go.
43
Kubanga ennaku zirikujjira, abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo, balikwetooloola, balikuzingiza enjuyi zonna,
44
balikusuula wansi, n'abaana bo abali mu nda yo; so tebalikulekamu jjinja eriri kungulu ku jjinja; kubanga tewamanya biro bya kukyalirwa kwo.”
45
N'ayingira mu Yeekaalu, n'agobamu abaali batundiramu
46
ng'abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti Era ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabirangamu: naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”
47
Awo n'ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakulu b'abantu ne basala amagezi okumuzikiriza:
48
ne batalaba kye banaakola; kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwulira.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24