bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 17
Luke 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
1
Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Ebyesittaza tebiyinza butajja; naye zimusanze oyo abireeta!
2
Waakiri oyo okusibibwa olubengo mu bulago bwe, n'asuulibwa mu nnyanja, okusinga okwesittaza omu ku abo abato.
3
Mwekuumenga mwekka na mwekka, muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga.
4
Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi egyo omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga.”
5
Abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “ Otwongereko okukkiriza.”
6
Mukama waffe n'agamba nti, “ Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde.”
7
“Naye ani ku mmwe, alina omuddu ng'alima oba ng'alunda endiga, bw'akomawo ng'ava mu lusuku, alimugamba nti Jjangu mangu otuule olye;
8
naye atamugamba nti Jjula emmere ndye, weesibe, ompeereze, mmale okulya n'okunywa; naawe olyoke olye era onywe?
9
Amwebaza omuddu oyo olw'okukola by'alagiddwa?
10
Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti, ‘ Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.’”
11
Awo olwatuuka bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi, yali ng'ayita wakati wa Samaliya ne Ggaliraaya.
12
Awo bwe yayingira mu kyalo ekimu, abagenge kkumi (10) ne bamusisinkana, ne baayimirira walako;
13
ne boogerera waggulu ne bagamba nti, “ Yesu, Mukama waffe, otusaasire.”
14
Bwe yabalaba n'abagamba nti, “Mugende mwerage eri bakabona.” Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa.
15
Awo omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo n'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene;
16
n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebaza: era oyo yali Musamaliya.
17
Yesu n'addamu n'agamba nti, “Ekkumi (10) bonna tebalongoosebbwa? Naye bali omwenda bali ludda wa?
18
Tebalabise abakomawo okutendereza Katonda, wabula omugenyi ono?”
19
N'amugamba nti, “ Yimuka, ogende: okukkiriza kwo kukuwonyezza.”
20
Awo Yesu bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” N'abaddamu n'agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese:
21
so tebaligamba nti Laba, buli wano! oba nti buli wali! kubanga, laba, obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe.”
22
N'agamba abayigirizwa be nti, “Ennaku zigenda okujja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'omuntu, so temulirulaba.
23
Kale balibagamba nti Laba, wali! Laba, wano! temugendanga, so temubagobereranga;
24
kubanga ng'okumyansa bwe kumyansiza ku luuyi olumu olw'eggulu, ne kutangaaza n'oluuyi olulala olw'eggulu, bw'atyo Omwana w'omuntu bw'aliba ku lunaku lwe.
25
Naye okusooka kimugwanira okubonyaabonyezebwa ennyo, n'okugaanibwa ab'emirembe gino.
26
Era nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa, bwe bityo bwe biriba ne mu nnaku z'Omwana w'omuntu.
27
Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna.
28
Era nga bwe byali mu nnaku za Lutti; baali nga balya, nga banywa, nga bagula, nga batunda, nga basiga, nga bazimba,
29
naye ku lunaku luli Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n'ekibiriiti ne bitonnya okuva mu ggulu ne bibazikiriza bonna:
30
bwe bityo bwe biriba ku lunaku Omwana w'omuntu lw'alibikkulibwa.
31
Ku lunaku olwo, alibeera waggulu ku nnyumba, n'ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu; n'ali mu lusuku bw'atyo taddanga mabega.
32
Mujjukire mukazi wa Lutti.
33
Buli anoonya okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli abubuza alibuwonya.
34
Mbagamba nti Mu kiro ekyo babiri baliba ku kitanda kimu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
35
Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
36
[Ababiri baliba mu lusuku; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.”]
37
Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Ludda wa, Mukama waffe?” N'abaddamu nti, “ Awaba omulambo n'ensega we zikuŋŋaanira.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24