bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 4
Luke 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
1
Awo Yesu bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu n'akomawo ng'ava ku mugga Yoludaani, Omwoyo n'amutwala mu ddungu,
2
n'amalayo ennaku ana (40), ng'akemebwa Setaani. So teyalyanga kintu mu nnaku ezo; awo bwe zaggwaako, enjala n'emuluma.
3
Setaani n'amugamba nti, “ Oba oli Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.”
4
Yesu n'amuddamu nti, “ Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka.”
5
Awo n'amulinnyisa, n'amulaga obwakabaka bwonna obw'omu nsi mu kaseera katono.
6
Setaani n'amugamba nti, “ Nnaakuwa ggwe obuyinza buno bwonna, n'ekitiibwa kyamu; kubanga nnaweebwa nze: era ngabira buli gwe njagala.
7
Kale nno bw'onoonsinza, buno bwonna bunaaba bubwo.”
8
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.”
9
N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya Yeekaalu, n'amugamba nti, “ Oba oli Mwana wa Katonda, sinziira wano, weesuule wansi;
10
kubanga kyawandiikibwa nti, “Alikulagiririza bamalayika be bakukuumire ddala;
11
Era nti Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.”
12
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “ Kyawandiikibwa nti Tokemanga Mukama Katonda wo.”
13
Setaani bwe yamala buli kikemo n'amulekako ekiseera.
14
Awo Yesu n'akomawo e Ggaliraaya mu maanyi ag'Omwoyo: ettutumu lye ne ligenda nga libuna mu nsi zonna eziriraanyeewo.
15
N'ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe bonna nga bamutendereza.
16
Yesu n'ajja e Nazaaleesi gye yakulira; ku lunaku olwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro nga bwe yali empisa ye, n'ayimirira okusoma.
17
Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'abikkula ekitabo, n'alaba ekitundu awaawandiikibwa nti,
18
“Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, Kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebirungi: Antumye okutegeeza abanyage okuteebwa, N'okuzibula abazibe b'amaaso, Okuta abanyigirizibwa,
19
Okulangirira omwaka gwa Mukama ogwakkirizibwa.”
20
N'abikkako ekitabo, n'akiddiza omuweereza n'atuula; abantu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro ne bamusimbako amaaso.
21
N'atandika okubagamba nti, “Olwaleero ebyawandiikibwa bino bituukiridde mu matu gammwe.”
22
Bonna ne bamwogerako bulungi, era ne beewuunya olw'ebigambo eby'ekisa ebivudde mu kamwa ke: ne bagamba nti, “ Ono si ye Mwana wa Yusufu?”
23
N'abagamba nti, “Ddala temulirema kuŋŋamba lugero luno nti Omusawo, weewonye wekka: byonna bye twawulira nga bikolerwa e Kaperunawumu, bikolere na wano mu kyalo ky'ewammwe.”
24
Era n'abagamba nti, “ Mazima mbagamba nti Tewali nnabbi akkirizibwa mu kyalo ky'ewaabwe.
25
Naye mazima mbagamba nti Waaliwo bannamwandu bangi mu Isiraeri mu biro bya Eriya, eggulu lwe lyaggalirwa emyaka esatu n'emyezi mukaaga, enkuba nga tetonya enjala nnyingi bwe yagwa ku nsi yonna;
26
Eriya teyatumibwa eri omu ku bo wabula e Zalefasi, mu nsi ya Sidoni, eri omukazi nnamwandu.
27
Era waaliwo abantu bangi abagenge mu Isiraeri mu biro bya Erisa nnabbi; tewali n'omu ku bo eyalongoosebwa, wabula Naamani yekka Omusuuli.”
28
Ne bajjula obusungu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro bwe baawulira ebigambo ebyo;
29
ne bayimuka, ne bamusindiikiriza ebweru w'ekibuga ne bamutwala ku kagulungujjo k'olusozi lwe baakubako ekibuga kyabwe, balyoke bamusuule wansi.
30
Naye n'abayitamu wakati n'agenda.
31
Awo Yesu n'aserengeta e Kaperunawumu, ekibuga eky'e Ggaliraaya: n'abayigirizanga ku lunaku olwa ssabbiiti:
32
ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe, kubanga ekigambo kye kyalina obuyinza.
33
Awo mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu eyaliko dayimooni; n'akaaba n'eddoboozi ddene nti,
34
“Woowe, Otuvunaana ki ggwe, Yesu Omunazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nkumanyi ggwe bw'oli, Omutukuvu wa Katonda.”
35
Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti, “ Sirika, muveeko.” Dayimooni bwe yamusuula wakati waabwe n'amuvaako nga tamukoze kabi.
36
Okuwuniikirira ne kubakwata bonna ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti, “ Kigambo ki kino? Kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi badayimooni ne bava ku bantu!”
37
Ettutumu lye ne libuna mu buli kifo eky'ensi eriraanyeewo.
38
Awo Yesu n'asituka n'ava mu kkuŋŋaaniro n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Awo nnyazaala wa Simooni yali ng'akwatiddwa omusujja mungi, ne bamwegayirira ku lulwe amuwonye.
39
Yesu n'agenda n'ayimirira awali omulwadde, n'aboggolera omusujja; ne gumuwonako: amangwago n'agolokoka n'abaweereza.
40
Awo enjuba bwe yali ng'egwa, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde ezitali zimu ne babamuleetera, Yesu n'akwata ku buli mulwadde, n'abawonya.
41
Ne badayimooni ne bava ku bantu bangi, ne bakaaba nga bagamba nti, “ Ggwe oli Mwana wa Katonda.” N'ababoggolera, n'atabaganya kwogera, kubanga baamanya nga ye Kristo.
42
Awo obudde bwe bwakya, n'avaayo n'agenda mu kifo eteri bantu: ebibiina ne bimunoonya ne bajja w'ali, era ne baagala okumuziyiza aleme okubavaako.
43
Naye n'abagamba nti, “ Kiŋŋwanidde okubuulira Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga ekyo kye kyantumya.”
44
Awo n'abuuliranga mu makuŋŋaaniro g'e Ggaliraaya.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24