bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 18
Luke 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
1
Yesu n'abagerera olugero, bwe kibagwanira okusabanga bulijjo, obutakoowanga;
2
n'agamba nti, “ Waaliwo omulamuzi mu kibuga kimu, ataatyanga Katonda, era nga tassaamu muntu kitiibwa;
3
era waaliwo nnamwandu mu kibuga ekyo; eyajjanga ew'omulamuzi oyo, ng'agamba nti, Nnamula n'omulabe wange.”
4
Omulamuzi n'atasooka kukkiriza; naye oluvannyuma n'ayogera munda mu ye nti, “ Newakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa;
5
naye olw'okunteganya nnamwandu ono kw'anteganyiza nnaamulamula, aleme okuntengezza ng'ajja olutata.”
6
Mukama waffe n'agamba nti, “ Muwulire omulamuzi oyo atali mutuukirivu ky'agamba.
7
Kale ne Katonda taliramula balonde be abamukaabirira emisana n'ekiro, ng'akyagumiikiriza?
8
Mbagamba nti Alibalamula mangu. Naye Omwana w'omuntu bw'alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
9
N'abalala abaali beerowoozako ku bwabwe okuba abatuukirivu nga banyooma abalala bonna, Yesu n'abagerera olugero luno nti,
10
“Abantu babiri baalinnya mu Yeekaalu okusaba, omu Mufalisaayo, omulala muwooza.
11
Omufalisaayo n'ayimirira n'asaba yekka ebigambo bino nti, ‘Ayi Katonda, nkwebaza kubanga siri nga bantu balala bonna, abanyazi, abalyazaamaanyi, abenzi, newakubadde ng'ono omuwooza.
12
Nsiiba emirundi ebiri mu ssabbiiti; mpaayo ekitundu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna’
13
Naye omuwooza n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge mu ggulu, naye ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti, ‘Ayi Katonda, onsaasire nze alina ebibi.’
14
Mbagamba nti Oyo yakka okuddayo mu nnyumba ye ng'aweereddwa obutuukirivu okusinga oli; kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
15
Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, naye abayigirizwa bwe baabalaba, ne bababoggolera.
16
Naye Yesu n'abayita ng'agamba nti, “ Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng'abo obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe.
17
Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.”
18
N'omuntu omukulu omu n'amubuuza ng'agamba nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”
19
Yesu n'amugamba nti, “ Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi wabula omu yekka, ye Katonda.
20
Amateeka ogamanyi nti Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.”
21
N'agamba nti, “ Ebyo byonna nnabikwatanga okuva mu buto bwange.”
22
Yesu bwe yawulira ekyo n'amugamba nti, “ Okyaweebuuseeko kimu; tunda by'oli nabyo byonna, obigabire abaavu, kale oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.”
23
Naye bwe yawulira ebyo n'anakuwala nnyo kubanga yali mugagga nnyo.
24
Awo Yesu bwe yalaba n'agamba nti, “ Nga kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
25
Kubanga kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
26
Abaawulira ebyo ne bagamba nti, “ Kale ani ayinza okulokoka?”
27
Naye Yesu n'agamba nti, “ Ebitayinzika eri abantu biyinzika eri Katonda.”
28
Peetero n'agamba nti, “ Laba, ffe twaleka ebyaffe ne tukugoberera.”
29
N'abagamba nti, “ Mazima mbagamba nti Tewali muntu eyaleka ennyumba, oba mukazi, oba ba luganda, oba bazadde, oba baana, olw'obwakabaka bwa Katonda,
30
ataweebwa nate emirundi mingi mu biro bino, ne mu biro ebigenda okujja obulamu obutaggwaawo.”
31
Yesu n'atwala abo ekkumi n'ababiri (12) n'abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, n'ebyo byonna ebyawandiikibwa bannabbi ku Mwana w'omuntu birituukirira.
32
Kubanga aliweebwayo mu b'amawanga aliduulirwa, aliswazibwa, aliwandirwa amalusu:
33
balimukuba enkoba balimutta; era ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
34
Abayigirizwa be ne batategeererawo ku ebyo n'ekimu n'ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa, ne batategeera ebyayogerwa.
35
Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'anaatera okutuuka e Yeriko, omuzibe w'amaaso yali ng'atudde ku kkubo ng'asabiriza;
36
awo bwe yawulira ekibiina nga kiyita, n'abuuza nti, “kiki ekyo.”
37
Ne bamubuulira nti, “ Yesu Omunazaaleesi ayita.”
38
N'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “ Yesu, omwana wa Dawudi, onsaasire.”
39
N'abo abaali bakulembedde ne bamuboggolera okusirika; naye ye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti, “ Ggwe omwana wa Dawudi, onsaasire.”
40
Yesu n'ayimirira, n'alagira okumuleeta w'ali; awo bwe yasembera okumpi n'amubuuza nti,
41
“ Oyagala nkukolere ki?” N'addamu nti, “ Mukama wange, njagala okuzibula.”
42
Yesu n'amugamba nti, “Zibula: okukkiriza kwo kukulokodde.”
43
Amangwago n'azibula, n'amugoberera ng'agulumiza Katonda: n'abantu bonna bwe baalaba ne batendereza Katonda.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24