bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 8
Luke 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
1
Awo olwatuuka oluvannyumako katono Yesu n'atambula mu bibuga ne mu mbuga ng'abuulira ng'atenda Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda, abayigirizwa be ekkumi n'ababiri (12) nga bali naye,
2
n'abakazi abaawonyezebwako dayimooni n'endwadde, Malyamu eyayitibwa Magudaleene, eyavaako dayimooni omusanvu,
3
ne Yowaana, muka Kuza, omuwanika wa Kerode, ne Susaana, n'abalala bangi abaabaweerezanga n'ebintu bye baalina.
4
Awo ekibiina ekinene bwe kyakuŋŋaanira awali Yesu, awamu n'abaavanga mu buli kibuga bwe bajja w'ali, n'agera olugero nti,
5
“Omusizi yafuluma okusiga ensigo ze; bwe yali ng'asiga, ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo; ne zirinnyirirwa, ennyonyi ez'omu bbanga ne zizirya.
6
Endala ne zigwa ku lwazi; bwe zaamala okumera ne ziwotookerera, olw'obutaba na mazzi.
7
Endala ne zigwa wakati mu maggwa; amaggwa ne gamerera wamu nazo ne gazizisa.
8
Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibalako emmere buli emu n'ebala empeke kikumi (100).” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'ayogerera waggulu nti, “ Alina amatu ag'okuwulira awulire.”
9
Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “ Olugero olwo amakulu gaalwo ki?”
10
N'agamba nti, “ Mmwe muweereddwa okumanya ebyama eby'obwakabaka bwa Katonda: naye abalala mu ngero; era bwe balaba baleme okulaba, era bwe bawulira baleme okutegeera.”
11
Era olugero lwe luno, “Ensigo kye kigambo kya Katonda.
12
Bali ab'oku mabbali g'ekkubo be bawulira ekigambo; awo Setaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu mitima gyabwe baleme okukkiriza n'okulokolebwa.
13
N'abo ku lwazi be bawulira ekigambo ne bakikkiriza n'essanyu; kyokka tebalina mmizi, bakikkirizaako kaseera katono, naye mu biro eby'okukemebwa ne baterebuka.
14
N'ezo ezaagwa mu maggwa, abo be bawulira ekigambo, awo bwe bagenda ne baziyizibwa n'okweraliikirira n'obugagga n'essanyu ery'omu bulamu buno ne batatuukiriza ku kuza mmere.
15
N'ezo ez'omu ttaka eddungi, abo be bawulira ekigambo mu mutima omugolokofu, omulungi, ne bakinyweza, ne babala ebibala n'okugumiikiriza.”
16
“Era tewali muntu akoleeza ttaala n'agisaanikira mu kibbo, oba okugissa wansi w'ekitanda; naye agissa ku kikondo abayingiramu balabe bw'eyaka.
17
Kubanga tewali kigambo ekyakisibwa ekitalirabisibwa; newakubadde ekyakwekebwa ekitalimanyibwa ne kirabika mu lwatu.
18
Kale mwekuumenga bwe muwulira; kubanga buli alina aliweebwa; era buli atalina n'ekyo ky'alowooza nti ali nakyo kirimuggibwako.”
19
Awo nnyina wa Yesu ne baganda be ne bajja gy'ali, ne batayinza kumutuukako olw'ekibiina.
20
Ne bamubuulira nti, “ Nnyoko ne baganda bo bayimiridde ebweru baagala okukulaba.”
21
Naye n'addamu n'abagamba nti, “ Mmange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikola.”
22
Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo, Yesu n'asaabala mu lyato ye n'abayigirizwa be; n'abagamba nti, “Tuwunguke tugende emitala w'ennyanja;” ne bagenda.
23
Awo bwe baali nga baseeyeeya ne yeebaka otulo. Omuyaga mungi ne gukunta ku nnyanja; amazzi ne gaba nga gaagala okujjula mu lyato, ne baba mu kabi.
24
Ne bajja w'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti, “ Mukama waffe, Mukama waffe, tufa.” Yesu n'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'okwefuukuula kw'amazzi; ne bikkakkana, ennyanja neteeka.
25
N'abagamba nti, “ Okukkiriza kwammwe kuli luuyi wa?” Ne batya ne beewuunya, ne boogeragana bokka na bokka nti, “ Kale ani ono, kubanga n'empewo n'amazzi abiragira ne bimuwulira? ”
26
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagoba ku nsi y'Abagerasene etunuulidde e Ggaliraaya.
27
Awo bwe yava mu lyato n'atuuka ku ttale, n'asanga omuntu ng'ava mu kibuga eyaliko dayimooni. Omusajja oyo yali amaze ennaku nnyingi nga tayambala lugoye, era nga ne mu nnyumba tatuulamu, naye ng'abeera mu ntaana.
28
Bwe yalaba Yesu n'ayogerera waggulu n'avuunama mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “ Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda ali waggulu ennyo? Nkwegayiridde, tombonereza.”
29
Kubanga Yesu yali alagidde dayimooni okuva ku muntu oyo. Kubanga yali amaze ebbanga ddene nga amukutte: yasibibwanga mu njegere ne mu masamba ng'akuumibwa; n'akutulanga ebyamusiba, dayimooni n'amugoberanga mu ddungu.
30
Yesu n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'agamba nti, “ Liigyoni;” Kubanga dayimooni bangi abaamuyingiramu.
31
Badayimooni ne bamwegayirira aleme okubalagira okumuvaako okugenda mu bunnya.
32
Awo waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nga zirya ku lusozi, badayimooni ne bamwegayirira abalagire baziyingiremu. N'abalagira.
33
Awo badayimooni ne bava ku muntu ne bayingira mu mbizzi; eggana ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku lusozi, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi.
34
Awo abasumba bwe baalaba ebibaddewo ne badduka ne babyogera mu kibuga ne mu byalo.
35
Abantu ne bavaayo okulaba ebibaddewo; ne bajja eri Yesu ne balaba omuntu oyo eyavuddeko badayimooni ng'atudde awali ebigere bya Yesu, ng'ayambadde olugoye, ng'okutegeera kwe kumuzzeemu: ne batya.
36
N'abo abaalaba ne babuulira abalala bwe yakoleddwa oyo eyali akwatiddwa badayimooni.
37
N'abantu bonna ab'ensi y'Abagerasene eriraanyeewo ne bamwegayirira ave gyebali, kubanga obuti bungi bwali bubakutte: awo n'asaabala mu lyato n'addayo.
38
Naye omuntu eyavaako badayimooni n'amwegayirira abeere naye; naye Yesu n'amusiibula ng'agamba nti,
39
“Ddayo mu nnyumba yo, onnyonnyole ebigambo Katonda by'akukoledde bwe biri ebikulu.” N'agenda ng'abuulira ekibuga kyonna bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera.
40
Awo Yesu bwe yakomawo, ekibiina ne kimwaniriza n'essanyu; kubanga bonna baali nga bamulindiridde.
41
Kale, laba, omuntu erinnya lye Yayiro omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ajja n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu n'amwegayirira ayingire mu nnyumba ye:
42
kubanga yalina muwala we eyazaalibwa omu nga wa myaka ekkumi n'ebiri (12), oyo yali ng'agenda kufa. Naye bwe yali ng'agenda ebibiina ne bimunyigiriza.
43
N'omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri (12), ng'awadde abasawo ebintu bye byonna n'atayinza kuwonyezebwa muntu yenna,
44
oyo n'ajja emabega wa Yesu, n'akoma ku lukugiro lw'olugoye lwe: amangwago ekikulukuto kye ne kikalira.
45
Yesu n'abuuza nti, “ Ani ankomyeko?” Awo bwe beegaana bonna, Peetero ne banne ne bagamba nti, “ Mukama waffe, ebibiina bikwetoolodde bikunyigiriza.” Era ogamba nti, “Ani ankomyeko?”
46
Naye Yesu n'agamba nti, “Omuntu ankomyeko: kubanga mpulidde ng'amaanyi ganvuddemu.”
47
Awo omukazi oyo bwe yalaba nga takwekeddwa, n'ajja ng'akankana n'afukamira n'amubuulira mu maaso g'abantu bonna ensonga bw'eri emukomezzaako, era ne bw'awonye amangwago.
48
Yesu n'amugamba nti, “ Mwana wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.”
49
Awo Yesu yali akyayogera, ne wajja omuntu eyava mu nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'agamba omukulu oyo nti, “Muwala wo afudde; toteganya Muyigiriza.”
50
Naye Yesu bwe yawulira n'amuddamu nti, “ Totya: kkiriza bukkiriza, anaaba mulamu.”
51
Awo bwe yatuuka ku nnyumba n'ataganya muntu mulala kuyingira naye wabula Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne kitaawe w'omuwala ne nnyina.
52
Awo baali nga bakaaba bonna, nga bamulirira; Yesu n'abagamba nti, “ Temukaaba, kubanga tafudde, naye yeebase tulo.”
53
Ne bamusekerera nnyo, kubanga baamanya ng'afudde.
54
Yesu n'amukwata ku mukono n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “ Omuwala, golokoka.”
55
Omwoyo gwe ne gukomawo n'ayimirira amangwago. N'alagira okumuwa eky'okulya.
56
Abazadde be ne bawuniikira; naye ye n'abakuutira baleme kubuulirako muntu yenna ebibaddewo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24