bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 3
Luke 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
1
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano (15) ogw'obufuzi bwa Kayisaali Tiberiyo, nga Pontiyo Piraato ye w'essaza ly'e Buyudaaya, ne Kerode bwe yali nga y'afuga e Ggaliraaya, ne Firipo muganda we bwe yali nga y'afuga Ituliya n'ensi ey'e Tirakoniti, ne Lusaniya bwe yali nga y'afuga Abireene;
2
ne Ana ne Kayaafa bwe baali nga be bakabona abasinga obukulu, ekigambo kya Katonda ne kijjira Yokaana omwana wa Zaakaliya, mu ddungu.
3
N'ajja mu nsi yonna eriraanye Yoludaani, ng'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggyibwako ebibi;
4
nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo bya nnabbi Isaaya nti, “Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge.
5
Buli kiwonvu kirijjuzibwa, Na buli lusozi n'akasozi biritereezebwa: N'ekikyamye kirigololwa, N'amakubo agatali masende galitereezebwa;
6
N'abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”
7
Awo Yokaana n'agamba ebibiina ebyafulumanga okujja gyali okubatizibwa nti, “ Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?
8
Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana.
9
Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti; kale buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, gusuulibwa mu muliro.”
10
Ebibiina ne bamubuuza nga bagamba nti, “ Kale tukole ki?”
11
N'addamu n'abagamba nti, “ Alina ekkanzu ebbiri, amuweeko emu atalina, n'alina emmere naye akole bw'atyo.”
12
N'abawooza ne bajja okubatizibwa, ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza tukole ki?”
13
N'abagamba nti, “Temusoloozanga kusukkiriza okusinga ekyo kye mwalagirwa.”
14
Era n'abasserikale nabo ne bamubuuza, nga bagamba nti, “Naffe tukole ki?” N'abagamba nti, “Abantu temubanyagangako byabwe, era temubawayirizanga misango gye batazziza. Empeera yammwe ebamalenga.”
15
Awo abantu bwe baali nga basuubira, era bonna nga balowooza mu mitima gyabwe nti oba oli awo Yokaana ye Kristo.
16
Yokaana n'addamu n'agamba bonna nti, “ Mazima nze mbabatiza n'amazzi; naye ajja y'ansinga amaanyi, so nange sisaanira kusumulula buguwa bwa ngatto ze: ye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.
17
Olugali lwe luli mu mukono gwe, okulongoosa ennyo egguuliro lye, n'okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika lye; naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.”
18
Era n'ababuulirira n'ebirala bingi ng'abuulira abantu ebigambo ebirungi.
19
Era Yokaana yanenya Kerode owessaza, olwa Kerodiya muka muganda we, n'olw'ebigambo ebibi byonna Kerode bye yakola.
20
Ate ku ebyo byonna Kerode n'ayongerako kino, n'akwata Yokaana n'amussa mu kkomera.
21
Awo olwatuuka, abantu bonna bwe baali nga babatizibwa, ne Yesu bwe yamala okubatizibwa, bwe yasaba, eggulu ne libikkuka,
22
Omwoyo Omutukuvu n'akka ku ye mu kifaananyi eky'omubiri ng'ejjiba, n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu nga ligamba nti, “ Ggwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.”
23
Era Yesu yennyini, yatandika okuyigiriza, ng'aweza emyaka ng'asatu (30), era nga bwe yalowoozebwa nga ye mwana wa Yusufu, mwana wa Eri,
24
mwana wa Mattati, mwana wa Leevi, mwana wa Mereki, mwana wa Yanayi, mwana wa Yusufu,
25
mwana wa Mattasiya, mwana wa Amosi, mwana wa Nakkumu, mwana wa Esuli, mwana wa Naggayi,
26
mwana wa Maasi, mwana wa Mattasiya mwana wa Semeyini, mwana wa Yoseki, mwana wa Yoda,
27
mwana wa Yokanaani, mwana wa Lesa, mwana wa Zerubbaberi, mwana wa Seyalutiyeeri, mwana wa Neeri,
28
mwana wa Mereki, mwana wa Addi, mwana wa Kosamu, mwana wa Erumadamu, mwana wa Eri,
29
mwana wa Yoswa, mwana wa Eryeza, mwana wa Yolimu, mwana wa Mattati, mwana wa Leevi,
30
mwana wa Simyoni, mwana wa Yuda, mwana wa Yusufu, mwana wa Yonamu, mwana wa Eriyakimu,
31
mwana wa Mereya, mwana wa Menna, mwana wa Mattasa, mwana wa Nasani, mwana wa Dawudi,
32
mwana wa Yese, mwana wa Obedi, mwana wa Bowaazi, mwana wa Salumooni, mwana wa Nakusoni,
33
mwana wa Amminadaabu, mwana wa Aluni, mwana wa Kezulooni, mwana wa Pereezi, mwana wa Yuda,
34
mwana wa Yakobo, mwana wa Isaaka, mwana wa Ibulayimu, mwana wa Teera, mwana wa Nakoli,
35
mwana wa Serugi, mwana wa Lewu, mwana wa Peregi, mwana wa Eberi, mwana wa Sera,
36
mwana wa Kayinaani, mwana wa Alupakusaadi, mwana wa Seemu, mwana wa Nuuwa, mwana wa Lameka,
37
mwana wa Mesuseera, mwana wa Enoki, mwana wa Yaledi, mwana wa Makalaleri, mwana wa Kayinaani,
38
mwana wa Enosi, mwana wa Seezi, mwana wa Adamu, mwana wa Katonda.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24