bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 7
Luke 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
1
Awo bwe yamala okwogera ebigambo byonna bye yayagala okutegeeza abantu, n'ayingira mu Kaperunawumu.
2
Awo waaliwo omwami w'ekitongole Omuruumi, omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali ng'alwadde ng'agenda kufa.
3
N'oyo bwe yawulira ebigambo bya Yesu, n'atuma ku bakadde b'Abayudaaya gy'ali ng'amusaba okujja okulokola omuddu we.
4
Nabo bwe baatuuka awali Yesu, ne bamwegayirira nnyo, ne bagamba nti, “Omusajja oyo asaanidde ggwe okumukolera ekyo;
5
kubanga ayagala eggwanga lyaffe, era n'ekkuŋŋaaniro ye yalituzimbira.”
6
Awo Yesu n'agenda nabo. Awo bwe yali ng'ali kumpi okutuuka ku nnyumba, omwami oyo n'atuma mikwano gye gy'ali, ng'amugamba nti, “ Ssebo, teweeteganya kujja, kubanga nze sisaanira ggwe kuyingira wansi wa kasolya kange:
7
era kyenvudde nnema okwesaanyiza nzekka okujja gy'oli, naye yogera kigambo bugambo, n'omwana wange anaawona.
8
Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala: bwe ŋŋamba omu nti Genda, agenda, n'omulala nti Jjangu, ajja, n'omuddu wange nti Kola kino, akikola.”
9
Yesu bwe yawulira ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyali bimugoberera n'agamba nti, “ Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno newakubadde mu Isiraeri.”
10
Awo abantu abaatumibwa bwe baakomawo mu nnyumba, ne basanga omuddu ng'awonye.
11
Awo olwatuuka bwe waayitawo ebbanga ttono n'agenda mu kibuga ekiyitibwa Nayini; abayigirizwa be n'ekibiina kinene ne bagenda naye.
12
Awo bwe yasembera ku wankaaki w'ekibuga, laba, omulambo nga gufulumizibwa ebweru, gwa mwana nnyina gwe yazaala omu, ne nnyina oyo nga nnamwandu; n'abantu bangi ab'omu kibuga omwo nga bali naye.
13
Awo Mukama waffe bwe yamulaba n'amusaasira, n'amugamba nti, “ Tokaaba.”
14
N'asembera n'akoma ku lunnyo: bali abaali beetisse ne bayimirira. N'agamba nti, “Omulenzi, nkugamba nti Golokoka.”
15
Oyo eyali afudde n'agolokoka, n'atuula n'atandika okwogera. N'amuwa nnyina.
16
Bonna ne batya ne bagulumiza Katonda; nga bagamba nti, “ Nnabbi omukulu ayimukidde mu ffe: era Katonda akyalidde abantu be.”
17
N'ekigambo kye ekyo ne kibuna mu Buyudaaya bwonna ne mu nsi yonna eriraanyeewo.
18
Awo abayigirizwa ba Yokaana ne bamubuulira ebigambo ebyo byonna.
19
Yokaana n'ayita babiri ku bayigirizwa be n'abatuma eri Mukama waffe, ng'agamba nti, “ Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala?”
20
Awo abasajja abo bwe baatuuka gy'ali, ne bamugamba nti, “ Yokaana Omubatiza atutumye gy'oli ng'agamba nti Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala?”
21
Awo mu kiseera ekyo Yesu n'awonya bangi endwadde n'okubonaabona ne dayimooni, n'abazibe b'amaaso bangi n'ebazibula.
22
Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Mugende, mubuulire Yokaana ebyo bye mulabye, ne bye muwulidde; abazibe b'amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukira, n'abaavu babuulirwa Enjiri.
23
Era alina omukisa oyo atalinneesittalako.”
24
Awo ababaka ba Yokaana bwe baamala okugenda n'atandika okwogera n'ebibiina ebifa ku Yokaana nti, “ Kiki kye mwagenderera mu ddungu okulaba? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?
25
Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba, abambala engoye ez'obuyonjo, abalya emmere ennungi, baba mu mpya za bakabaka.
26
Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi.
27
Oyo ye yawandiikibwako nti,” “Laba nze ntuma omubaka wange mu maaso go, Alirongoosa oluguudo lwo gy'ogenda.”
28
“Mbagamba nti mu abo abazaalibwa abakazi, temuli asinga Yokaana obukulu: naye omuto mu bwakabaka bwa Katonda ye mukulu okusinga Yokaana.”
29
Abantu bonna, n'abawooza bwe baawulira ne bakkiriza Katonda okuba omutuukirivu, abo bonna abaabatizibwa mu kubatiza kwa Yokaana.
30
Naye Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne beegaana okuteesa kwa Katonda kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
31
Yesu n'ayongera n'agamba nti, “Kale abantu ab'emirembe gino n'abafaananya ki? Era balinga ki?
32
Balinga abaana abatuula mu katale, nga bayitaŋŋana; ne bagamba nti Tubafuuyidde emirere ne mutazina; tukubye ebiwoobe, ne mutakaaba maziga.
33
Kubanga Yokaana Omubatiza yajja nga talya mmere so nga tanywa mwenge; ne mugamba nti Aliko dayimooni.
34
Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne mugamba nti Laba, omuntu omuluvu, omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi!
35
Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'abaana baago bonna.”
36
Awo Omufalisaayo omu n'ayita Yesu okulya naye. N'ayingira mu nnyumba ey'Omufalisaayo oyo n'atuula ku mmere.
37
Kale, laba, omukazi eyali mu kibuga omwo, eyalina ebibi, bwe yamanya nga Yesu atudde ku mmere mu nnyumba ey'Omufalisaayo, n'aleeta eccupa ey'amafuta ag'omugavu,
38
n'ayimirira emirannamiro ku bigere bye ng'akaaba, n'atandika okumutonnyeza amaziga ku bigere bye n'abisiimuula n'enviiri ez'oku mutwe gwe, n'anywegera ebigere bye n'abisiiga amafuta ago.
39
Awo Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba, n'ayogera munda mu ye nti, “ Omuntu ono, singa abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako bw'ali, era bw'afaanana, ng'alina ebibi.”
40
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “ Simooni, ndiko kye njagala okukubuulira.” N'agamba nti, “ Omuyigiriza, yogera.”
41
“Waliwo omuntu eyawolanga, naye yalina b'abanja babiri; omu ng'abanjibwa eddinaali bitaano (500), n'omulala ataano (50).
42
Awo bwe baali nga tebalina kya kumusasula n'abasonyiwa bombi. Kale ku abo alisinga okumwagala aluwa?”
43
Simooni n'addamu n'agamba nti, “Ndowooza oyo gwe yasinga okusonyiwa ennyingi.” N'amugamba nti, “ Osaze bulungi.”
44
N'akyukira omukazi oyo, n'agamba Simooni nti, “ Olaba omukazi ono? Nnyingidde mu nnyumba yo, n'otompa mazzi ga bigere byange: naye ono atonnyezza amaziga ge ku bigere byange, n'abisiimuuza enviiri ze.
45
Tonywegedde ggwe, naye ono nnaakayingirira tannalekayo kunywegera bigere byange.
46
Tonsiize mafuta ku mutwe: naye ono ansiize amafuta ag'omugavu ku bigere byange.
47
Kyenva nkugamba nti Asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi; naye asonyiyibwa akatono, okwagala kwe kutono.”
48
N'amugamba nti, “ Osonyiyiddwa ebibi byo.”
49
Awo abaali batudde ku mmere naye ne batandika okwogera bokka na bokka nti, “ Ono y'ani asonyiwa n'ebibi?”
50
Yesu n'agamba omukazi nti, “Okukkiriza kwo kukulokodde; genda mirembe.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24