bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 22
Luke 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
1
Awo embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa eyitibwa Okuyitako yali eneetera okutuuka.
2
Bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamutta; kubanga baali batya abantu.
3
Awo Setaani n'ayingira mu Yuda ayitibwa Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri (12).
4
N'agenda, n'ateesa ne bakabona abakulu, n'abaami ne ba sserikale nga bw'anaawaayo Yesu gyebali.
5
Ne basanyuka, era ne balagaana okumuwa effeeza.
6
N'akkiriza era n'anoonya ebbanga mw'anaamuweerayo gyebali awatali kibiina.
7
Awo olunaku olw'Embaga eriirwako emigaati egitazimbulukusiddwa ne lutuuka, olugwanidde okusalirwako endiga ey'Okuyitako.
8
Yesu n'atuma Peetero ne Yokaana ng'agamba nti, “Mugende mututegekere Embaga ejjuukirirwako Okuyitako tugirye.”
9
Ne bamubuuza nti, “Oyagala tugitegekere wa?”
10
N'abagamba nti, “Laba, bwe munaaba muyingidde mu kibuga munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi; mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira.
11
Munaagamba nnyini nnyumba nti Omuyigiriza akugambye nti, Ekisenge ky'abagenyi kiruwa, mwe nnaaliira Okuyitako awamu n'abayigirizwa bange?
12
Era oyo anaabalaga ennyumba ennene eya waggulu etimbiddwa: mutegekere omwo.”
13
Awo ne bagenda, ne balaba nga bw'abagabye, ne bategeka Okuyitako.
14
Awo ekiseera bwe kyatuuka, Yesu n'atuula ku mmere, okulya awamu n'abatume be.
15
N'abagamba nti, “Nneegombye nnyo okuliira awamu nammwe Okuyitako kuno nga sinnabonyaabonyezebwa:
16
kubanga mbagamba nti Sirigirya n'akatono, okutuusa lwerituukirira mu bwakabaka bwa Katonda.”
17
N'addira ekikompe, ne yeebaza n'agamba nti, “ Mutoole kino mugabane mwekka na mwekka:
18
kubanga mbagamba nti Okusooka kaakano sirinywa ku bibala ku muzabbibu, okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.”
19
N'addira omugaati ne yeebaza, n'agumenyamu, n'abawa ng'agamba nti, “ Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.”
20
Era n'ekikompe bwatyo bwe baamala okulya, ng'agamba nti, “ Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe.
21
Naye, laba, oyo agenda okundyamu olukwe ali wamu nange ku mmeeza.
22
Kubanga Omwana w'omuntu okugenda agenda, nga bwe kyalagirwa: naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe!”
23
Ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti anaaba ani ku bo agenda okukola ekyo.
24
Ne wabaawo n'empaka mu bo, nti ani ku bo alowoozebwa okuba omukulu.
25
Yesu n'abagamba nti, “Bakabaka b'ab'amawanga babafuga, n'abo abalina obuyinza ku bo bayitibwa abakola obulungi.
26
Naye mmwe si bwe mutyo; naye omukulu mu mmwe abeere ng'omuto; n'oyo akulembera, abe ng'aweereza.
27
Kubanga omukulu yaani, atuula ku mmere, oba aweereza? Si oyo atuula ku mmere? Naye nze wakati mu mmwe nninga aweereza.
28
Naye mmwe muumuno abaagumiikirizanga awamu nange mu kukemebwa kwange;
29
nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze,
30
mulyoke mulye era munywere ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange; era mulituula ku ntebe ez'ekitiibwa, nga musalira emisango ebika ekkumi n'ebibiri eby'abaisiraeri.”
31
“Simooni, Simooni, laba, Setaani yeegayiridde okubawewa mmwe ng'eŋŋaano:
32
naye nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme okuddirira: naawe bw'omalanga okukyuka, onywezanga baganda bo.”
33
Peetero n'amugamba nti, “ Mukama wange, nneeteeseteese okugenda naawe ne mu kkomera ne mu kufa.”
34
Yesu n'agamba nti, “ Nkubuulira ggwe, Peetero, olwaleero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu nti tommanyi.”
35
N'abagamba nti, “Bwe nnabatuma nga temulina nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto, mwaliko kye mwetaaga?” Ne bagamba nti, “Nedda.”
36
N'abagamba nti, “ Naye kaakano, alina ensawo, agitwale, n'ow'olukoba bw'atyo: era atalina kitala atunde olugoye lwe akigule.
37
Kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa kigwanidde okutuukirizibwa ku nze nti Yabalirwa wamu n'abasobya: Kubanga ekiŋŋwanira kirina okutuukirira”
38
Abayigirizwa ne bagamba nti, “Mukama waffe, laba, waliwo ebitala bibiri biibino.” N'abagamba nti, “ Binaamala.”
39
Awo Yesu n'afuluma n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni, ng'empisa ye bwe yali; n'abayigirizwa be nabo ne bamugoberera.
40
Awo bwe yatuukayo, n'abagamba nti, “Musabe muleme okuyingira mu kukemebwa.”
41
Ye n'abaawukanako ebbanga ng'awakasukibwa ejjinja; n'afukamira n'asaba,
42
ng'agamba nti, “ Kitange, bw'oyagala, nziggyaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky'oyagala ggwe kikolebwe.”
43
Malayika n'amulabikira ng'ava mu ggulu ng'amussamu amaanyi.
44
N'afuba ng'alumwa ne yeeyongera okusaba ennyo: entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi, nga gatonnya wansi.
45
Bwe yagolokoka mu kusaba, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'ennaku,
46
n'abagamba nti, “ Ekibeebasizza ki? Mugolokoke musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa.”
47
Yesu yali akyayogera, laba, ekibiina n'oyo ayitibwa Yuda, omu ku abo ekkumi n'ababiri (12), ng'abakulembedde, n'asemberera Yesu okumunywegera.
48
Naye Yesu n'amugamba nti, “ Yuda, Omwana w'omuntu omulyamu olukwe ng'omunywegera?”
49
N'abo be yali nabo bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti, “ Mukama waffe, tuteme n'ebitala?”
50
N'omu ku abo n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu kwe okwa ddyo.
51
Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “ Koma ku ekyo kyokka.” N'akoma ku kutu kwe n'amuwonya.
52
Yesu n'agamba bakabona abakulu, n'abaami b'omu Yeekaalu, n'abakadde, abajja okumukwata nti, “ Munjijiridde ng'omunyazi, nga mulina n'ebitala n'emiggo?
53
Bwe nnabanga nammwe bulijjo mu Yeekaalu, temwangololerako mukono gyammwe, naye kino kye kiseera kyammwe, n'obuyinza bw'ekizikiza.”
54
Ne bamukwata ne bamutwala, ne bamuyingiza mu nnyumba ya kabona asinga obukulu. Naye Peetero n'agoberera ng'ava walako.
55
Awo bwe baali nga bamaze okukuma omuliro mu luggya wakati, nga batudde wamu, Peetero n'atuula wakati mu bo.
56
Awo omuwala omu bwe yamulaba ng'attudde awalaba, n'amwekaliriza, n'agamba nti, “ N'ono yabadde naye.”
57
Naye ne yeegaana ng'agamba nti, “ Omukazi, omuntu oyo simumanyi.”
58
Ekiseera bwe kyayitawo, omulala n'amulaba n'agamba nti, “ Naawe oli omu ku bo.” Naye Peetero n'agamba nti, “Omuntu, si nze.”
59
Waali wayiseewo ekiseera ng'essaawa emu, omulala n'akaliriza ng'agamba nti, “ Mazima n'ono yabadde wamu naye, kubanga naye Mugaliraaya.”
60
Naye Peetero n'agamba nti, “Omuntu, simanyi ky'oyogera.” Amangwago, bwe yali ng'akyayogera, enkoko n'ekookolima.
61
Awo Mukama waffe n'akyuka, n'atunuulira Peetero. Peetero n'ajjukira ekigambo kya Mukama waffe, bwe yamugambye nti, “ Leero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
62
N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga.
63
Awo abasajja abaali bakutte Yesu ne bamuduulira nga bamukuba.
64
Ne bamubikka mu maaso, ne bamubuuza, nga bagamba nti, “ Lagula: ani akukubye?”
65
Ne bamwogerako n'ebirala bingi nga bamuvuma.
66
Awo obudde bwe bwakya, abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana, ne bakabona abakulu era n'abawandiisi; ne batwala Yesu mu lukiiko lwabwe, nga bagamba nti,
67
“Oba nga ggwe Kristo, tubuulire.” Naye n'abagamba nti, “ Ne bwe nnaababuulira, temujja kukkiriza n'akatono;
68
ne bwe nnaababuuza, temujja kuddamu n'akatono.
69
Naye okusooka kaakano Omwana w'omuntu agenda kutuula ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi ga Katonda.”
70
Bonna ne bagamba nti, “ Kale ggwe oli Mwana wa Katonda?” Yesu n'abagamba nti, “ Nga bwe mwogedde nze nzuuyo.”
71
Ne bagamba nti, “ Twetaagira ki ate abajulirwa? Kubanga ffe twewuliridde okuva mu kamwa ke ye.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24