bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 23
Luke 23
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
1
Ekibiina kyonna ne kisituka, ne kimutwala ewa Piraato.
2
Ne batandika okumuloopa nga bagamba nti, “Ono twamulaba ng'akyamya abantu b'eggwanga lyaffe, ng'abagaana okuwa Kayisaali omusolo, era nga ye yennyini yeeyita Kristo, kabaka.”
3
Piraato n'amubuuza ng'agamba nti, “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu n'agamba nti, “ Kyekyo nga bwoyogedde.”
4
Piraato n'agamba bakabona abakulu n'ebibiina nti “Siraba musango gwonna ku muntu ono.”
5
Naye bo ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamaza abantu, ng'ayigiriza mu Buyudaaya bwonna, yasookera Ggaliraaya okutuuka ne wano.”
6
Naye Piraato bwe yawulira ebyo, n'abuuza oba ng'omuntu oyo Mugaliraaya.
7
Bwe yategeera nga wa mu matwale ga Kerode, n'amuweereza ewa Kerode, kubanga naye yali mu Yerusaalemi mu nnaku ezo.
8
Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo: kubanga okuva edda yayagalanga okumulaba kubanga yawulira ebigambo bye; n'asuubira okulaba ng'akola akabonero.
9
N'abuuza Yesu ebibuuzo bingi, naye ye n'atamuddamu kigambo.
10
Bakabona abakulu n'abawandiisi ne bayimirira, era ne banyweza nnyo bye bamuloopa.
11
Awo Kerode n'abasserikale be ne bamunyooma, ne bamuduulira, ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka ne bamuzzaayo ewa Piraato.
12
Kerode ne Piraato ne balyoka batabagana ku lunaku olwo; kubanga olubereberye baali bakyawaganye.
13
Piraato n'ayita bakabona abakulu n'abakungu n'abantu,
14
n'abagamba nti, “ Mundeetedde omuntu ono, nti yakyamya abantu; era, laba, nze bwe mmukemererezza mu maaso gammwe, sirabye nsonga ku muntu ono mu ebyo byonna bye mumuloopye;
15
era, ne Kerode bwatyo, kubanga amuzzizza gyetuli, era, laba, omuntu ono tewali kigambo ky'akoze ekisaanidde okumussa.
16
Kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta.”
17
Era Piraato kyamugwaniranga okubateeranga omusibe omu ku Mbaga.
18
Naye bonna wamu ne bakaayana, nga bagamba nti, “Twala ono, otuteere Balaba,”
19
Balaba oyo ye muntu gwe bassa mu kkomera olw'obujeemu obwali mu kibuga, n'olw'obussi.
20
Piraato n'ayogera nabo nate, ng'ayagala okuta Yesu;
21
naye bo ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Mukomerere, mukomerere.”
22
Piraato n'abagamba omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki, ono akoze kibi ki? Sirabye ku ye nsonga emussa: kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta.”
23
Naye bo ne bamuzitoowerera n'amaloboozi amanene, nga beegayirira okumukomerera. Amaloboozi gaabwe ne gasinga okukola.
24
Piraato n'asalawo ekigambo kye beegayiridde kikolebwe.
25
N'ata oyo eyasuulibwa mu kkomera olw'obujeemu n'obussi gwe bamwegayiridde; naye n'awaayo Yesu okumukola nga bwe baagadde.
26
Awo abasserikale bwe baali nga batwala Yesu, ne bakwata Omukuleene Simooni, eyali ava mu kyalo, ne bamutikka omusalaba, okugwetikka ng'ava emabega wa Yesu.
27
Ekibiina kinene ne kimugoberera eky'abantu n'eky'abakazi abagenda baamukaabira, era ne bamulirira.
28
Naye Yesu n'abakyukira n'agamba nti, “Abawala ab'e Yerusaalemi, temukaabira nze, naye mwekaabire mwekka, n'abaana bammwe.
29
Kubanga, laba, ennaku zijja, mwe baligambira nti Balina omukisa abagumba, n'embuto ezitazaala n'amabeere agatayonsa.
30
Ne balyoka batandika okugamba ensozi nti Mutugweko; n'obusozi nti Mutuvuunikire.
31
Kubanga bwe bakola bino ku muti omubisi, ku mukalu kiriba kitya?”
32
Era yatwalibwa n'abalala babiri, abaakola obubi, okuttibwa awamu naye.
33
Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Kiwanga, ne bamukomerera awo, na bali abaakola obubi, omu ku mukono ggwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.
34
Awo Yesu n'agamba nti, “Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola.” Ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu.
35
Abantu ne bayimirira awo nga bamutunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala; yeerokole yekka, oba ng'oyo ye Kristo wa Katonda, omulonde we.”
36
Abasserikale nabo ne bajja w'ali, ne bamuduulira, nga bamuwa omwenge omukaatuufu,
37
nga bagamba nti, “Oba nga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weerokole wekka.”
38
Ne wabaawo n'ebbaluwa waggulu we nti, “ONO YE KABAKA w'Abayudaaya.”
39
Omu ku abo abaakola obubi abaawanikibwa ku musalaba n'amuvuma ng'agamba nti, “Si ggwe Kristo? Weerokole wekka naffe otulokole.”
40
Naye ow'okubiri n'addamu n'amunenya, n'agamba nti, “N'okutya totya Katonda, kubanga ggwe oli ku kibonerezo kye kimu naye?
41
Era ffe twalangibwa nsonga; kubanga ebisaanidde bye twakola bye tusasulibbwa: naye ono takolanga kigambo kyonna ekitasaana.”
42
N'agamba nti, “Yesu, onjijukiranga bw'olijjira mu kitiibwa ky'obwakabaka bwo.”
43
Yesu n'amugamba nti, “Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.”
44
Awo obudde bwali butuuse essaawa nga mukaaga, ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa mwenda,
45
enjuba yali teyaka: n'eggigi ery'omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati.
46
Awo Yesu n'ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti, “ Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu.
47
Awo omwami omukulu w'ekitongole bwe yalaba ekibaddewo n'atendereza Katonda, ng'agamba nti, “ Mazima ono abadde muntu mutuukirivu.”
48
N'ebibiina byonna ebyali bikuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu bifuba.
49
Ne mikwano gye gyonna, n'abakazi abaava naye e Ggaliraaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo.
50
Kale laba, omuntu erinnya lye Yusufu, eyali omukungu, omuntu omulungi era omutuukirivu,
51
oyo teyassa kimu mu kuteesa kwabwe newakubadde mu kikolwa kyabwe, era yali alindirira obwakabaka bwa Katonda:
52
oyo n'agenda ewa Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu.
53
N'aguwanula n'aguzinga mu lugoye olwa bafuta, n'aguteeka mu ntaana eyabajjibwa mu jjinja, omutateekebwanga muntu.
54
Kale lwali lunaku lwa Kuteekateeka, essabbiiti nga eneetera okutandika.
55
N'abakazi be yava nabo e Ggaliraaya, ne bagoberera Yusufu, ne balaba entaana, n'omulambo gwe we gwateekebwa.
56
Ne baddayo ewaabwe, ne bategeka eby'akaloosa n'amafuta ag'omugavu. Ne ku lunaku olwa ssabbiiti ne bawummula ng'etteeka bwe liri.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24