bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 14
Luke 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
1
Awo olwatuuka Yesu bwe yayingira ku ssabbiiti mu nnyumba y'omukulu w'Abafalisaayo omu okulya emmere ne bamulabiriza.
2
Era, laba, waaliwo omuntu mu maaso ge, eyali alwadde entumbi.
3
Yesu n'addamu n'ayogera n'abayigiriza b'amateeka n'Abafalisaayo ng'agamba nti, “ Kirungi okuwonyeza ku ssabbiiti, nantiki si weewaawo?”
4
Naye ne basirika. N'amukwatako n'amuwonya, n'amusiibula.
5
N'abagamba nti, “ Ani ku mmwe alina endogoyi ye oba nte ye bw'egwa mu luzzi atagiggyaamu mangu ago ku lunaku lwa Ssabbiiti?”
6
Ne batayinza kumuddamu ekyo.
7
Yesu bwe yalaba abo abaayitibwa ku mbaga engeri gye beeroboza ebifo eby'oku mwanjo; n'abagerera olugero n'abagamba nti,
8
“Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo kya ku mwanjo, mpozzi waleme okubaawo omulala akusinga ekitiibwa gw'ayise,
9
n'oli eyabayise mwembi n'ajja, n'akugamba nti Segulira ono mu kifo; n'olyoka ogenda okutuula mu kifo eky'emabega ng'oswadde.
10
Naye bw'oyitibwanga ogendanga n'otuula mu kifo eky'emabega, oli eyakuyise bw'ajja, akugambe nti Mukwano gwange, sembera eno ku mwanjo; n'olyoka obeera n'ekitiibwa mu maaso g'abo bonna b'otudde nabo ku mmere.
11
Kubanga buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
12
Era n'agamba n'oyo eyamuyise nti, “ Bw'ofumbanga emmere ey'ekyemisana oba ey'ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, newakubadde baganda bo, newakubadde ab'ekika kyo, newakubadde baliraanwa bo abagagga; si kulwa nga nabo bakuyita, ne wabaawo okukusasula.
13
Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga abaavu n'abalema n'abawenyera n'abazibe b'amaaso,
14
era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula: Katonda alikusasulira mu kuzuukira kw'abatuukirivu.”
15
Awo omu ku abo abaali batudde awamu naye ku mmere, bwe yawulira ebyo, n'amugamba nti, “ Alina omukisa aliriira emmere mu bwakabaka bwa Katonda.”
16
Naye Yesu n'amugamba nti, “ Waaliwo omuntu eyafumba embaga ennene; n'ayita bangi:
17
n'atuma omuddu we obudde obw'embaga nga butuuse okugamba bali abayitiddwa, nti Mujje; kubanga bimaze okutegekebwa.
18
Bonna n'emmeeme emu ne batandika okwegayirira okusonyiyibwa. Ow'olubereberye n'amugamba nti, ‘Nguze olusuku, kiŋŋwanidde okuyimuka okugenda okululaba; nkwegayiridde nsonyiwa.’
19
N'omulala n'agamba nti, ‘Nguze emigogo gy'ente etaano, ŋŋenda kuzigezesa, nkwegayiridde nsonyiwa.’
20
N'omulala n'agamba nti, ‘Mpasizza omukazi, n'olwekyo siyinza kujja.’
21
Awo omuddu oyo n'addayo n'abibuulira mukama we. Olwo nnannyini nnyumba n'alyoka asunguwala n'agamba omuddu we nti, ‘Fuluma mangu ogende mu nguudo ne mu makubo ag'ekibuga, oleete wano abaavu n'abalema n'abazibe b'amaaso n'abawenyera.’
22
Omuddu n'agamba nti, ‘ Mukama wange, ky'olagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ebifo.’
23
Mukama we n'agamba omuddu nti, ‘Fuluma ogende mu makubo ne mu bukubo, obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule.’
24
Kubanga mbagamba nti, ‘Bali abaayitibwa, tewali n'omu alirya ku mbaga yange.’”
25
Awo ebibiina binene byali bigenda ne Yesu; n'akyuka n'abagamba nti,
26
“Omuntu bw'anajjanga gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, era n'obulamu bwe ye, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
27
Buli ataasitulenga musalaba gwe ye, n'angoberera, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
28
Kubanga ani ku mmwe bw'aba ng'ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n'abalirira eby'emirimu gyayo, oba ng'alina eby'okugimala?
29
Mpozzi bw'aba ng'amaze okuteekawo omusingi n'atasobola kugimaliriza, bonna abalaba batandika okumusekerera,
30
nga bagamba nti Omuntu ono yatandika okuzimba n'atasobola kumaliriza.
31
Oba kabaka ki bw'aba ng'agenda ku lutalo okulwana ne kabaka omulala atasooka kutuula n'ateesa, oba ng'ayinza n'abantu omutwalo ogumu (10,000), okwaŋŋanga oli amulumba n'abantu emitwalo ebiri (20,000)?
32
Oba nga si bwe kityo, oli bw'aba akyali wala nnyo, atuma ababaka n'asaba eby'okutabagana.
33
Kale bwe kityo buli muntu yenna ku mmwe ateefiirizenga byonna by'ali nabyo, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.”
34
“Kale omunnyo mulungi: naye n'omunnyo bwe guggwaamu ensa, mulizzaamu ki?
35
Tegusaanira nnimiro newakubadde olubungo, bagusuula bweru. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24