bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 2
Luke 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
1
Awo olwatuuka mu nnaku ezo etteeka ne liva eri Kayisaali Augusito abantu ab'ensi zonna okwewandiisa.
2
Okwo kwe kwewandiisa okwasooka okubaawo Kuleniyo bwe yali nga y'afuga Obusuuli.
3
Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga gy'asibuka.
4
Ne Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Ggaliraaya, n'agenda e Buyudaaya, mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Besirekemu kubanga yali wa mu nnyumba era wa mu kika kya Dawudi,
5
ye wandiise ne Malyamu, gwe yali ayogereza, era ng'ali lubuto.
6
Awo olwatuuka baali bali eyo, ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka.
7
N'azaala omwana we omubereberye; n'amubikka mu ngoye ez'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaafuna kifo mu kisulo ky'abagenyi.
8
Waaliwo abasumba mu nsi eyo abaasulanga ku ttale, nga bakuuma ekisibo kyabwe ekiro mu mpalo.
9
Awo malayika wa Mukama n'ayimirira we baali, n'ekitiibwa kya Mukama ne kibeetooloola nga kimasamasa, ne batya nnyo.
10
Malayika n'abagamba nti, “ Temutya; kubanga, laba, mbaleetera ebigambo ebirungi eby'essanyu eringi eririba eri abantu bonna:
11
kubanga leero azaaliddwa gye muli Omulokozi mu kibuga kya Dawudi, ye Kristo Mukama waffe.
12
Kano ke kabonero ke munaamutegeererako: munaalaba omwana omuwere ng'abikkiddwa mu ngoye ez'obwana obuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.”
13
Awo amangwago waaliwo ne malayika oyo bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu nga batendereza Katonda, nga bagamba nti,
14
“Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo; Ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.”
15
Awo olwatuuka, bamalayika bwe baava gye baali okugenda mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti, “ Kale tugende e Besirekemu tulabe ekintu kino ekibaddewo, Mukama ky'atutegeezezza.”
16
Ne bagenda mangu, ne balaba Malyamu ne Yusufu n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.
17
Awo bwe baalaba, ne bategeeza ekigambo kye baabuulirwa ku mwana oyo.
18
Bonna abaawulira ne beewuunya ebyo abasumba bye baababuulira.
19
Naye Malyamu ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna, ng'abirowooza mu mutima gwe.
20
Awo abasumba ne baddayo, nga bagulumiza nga batendereza Katonda olw'ebigambo byonna bye baawulira, ne bye baalaba, nga bwe byabaabuulirwa.
21
Awo ennaku omunaana bwe zaatuuka ez'okumukomoleramu, n'atuumibwa erinnya lye Yesu, liri eryayogerwa malayika nga tannaba kuba mu lubuto.
22
Awo ennaku ez'okulongooka kwabwe bwe zaatuuka ng'amateeka ga Musa bwe gali, ne batwala Yesu ne bamwambusa e Yerusaalemi, okumwanjulira Mukama
23
nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama nti, “ Buli kisajja ekiggulanda kinaayitibwanga kitukuvu eri Mukama.”
24
n'okuwaayo ssaddaaka nga bwe kyayogerwa mu mateeka ga Mukama, bukaamukuukulu bubiri, oba obuyiba obuto bubiri.
25
Era, laba, waaliwo omuntu mu Yerusaalemi erinnya lye Simyoni, omuntu oyo yali mutuukirivu, era atya Katonda, ng'alindirira okununulibwa kwa Isiraeri: era Omwoyo Omutukuvu yali ku ye.
26
Oyo Omwoyo Omutukuvu yali amubikkulidde nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo wa Mukama.
27
Awo Simyoni n'ajjira mu Mwoyo mu Yeekaalu: abakadde bwe baayingiza omwana Yesu mu Yeekaalu okumukola nga bw'eri empisa y'amateeka.
28
Awo Simyoni n'asitula omwana mu mikono gye, ne yeebaza Katonda n'agamba nti,
29
“Mukama wange, kaakano siibula omuddu wo Emirembe, ng'ekigambo kyo bwe kyali;
30
Kubanga amaaso gange galabye obulokozi bwo,
31
Bwe wateekateeka mu maaso g'abantu bonna:
32
Okuba omusana ogw'okumulisa amawanga N'okuba ekitiibwa ky'abantu bo Isiraeri.”
33
Kitaawe ne nnyina ne beewuunyanga ebigambo ebyo ebyamwogerwako;
34
awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'agamba Malyamu nnyina nti, “ Laba, ono ateekeddwawo bangi mu Isiraeri bagwenga n'abalala bayimirirenga, n'okuba akabonero akavumibwa;
35
era ggwe ekitala kirikufumita mu mmeeme; ebirowoozo eby'emitima emingi biryoke bibikkulwe.”
36
Awo waaliwo Ana, nnabbi omukazi, omuwala wa Fanweri, ow'omu kika kya Aseri era yali mukazi mukadde, yafumbirwa nga muwala muto, n'abeera ne bba emyaka musanvu,
37
naye yali nnamwandu nga yaakamala emyaka kinaana mu ena (84), era teyavanga mu Yeekaalu, ng'asinza n'okusiibanga n'okwegayiriranga ekiro n'emisana.
38
Oyo bwe yajja mu kiseera ekyo ne yeebaza Katonda, n'abuulira ebigambo bye eri bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.
39
Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebiri mu mateeka ga Mukama, ne baddayo e Ggaliraaya, mu kibuga ky'ewaabwe e Nazaaleesi.
40
Awo omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi, n'ajjuzibwa amagezi: ekisa kya Katonda ne kibanga ku ye.
41
Awo bakadde be baagendanga e Yerusaalemi buli mwaka ku mbaga ey'Okuyitako.
42
Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n'ebiri, ne bambuka e Yerusaalemi nga empisa y'embaga bwe yali:
43
awo bwe baali baddayo ewaabwe, ng'ennaku ez'Embaga ziweddeko, omwana oyo Yesu n'asigala mu Yerusaalemi, naye bakadde be ne batamanya:
44
naye bwe baamala okutambula olugendo lwa lunaku lulamba, nga balowooza ng'ali mu kisinde kyabwe, olwo ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe:
45
bwe bataamulaba ne baddayo e Yerusaalemi, nga bamunoonya.
46
Awo olwatuuka bwe waayitawo ennaku ssatu ne bamusanga mu Yeekaalu, ng'atudde wakati mu bayigiriza, ng'abawuliriza, era ng'ababuuza:
47
bonna abaamuwulira ne bawuniikirira olw'amagezi ge n'okuddamu kwe.
48
Awo bwe baamulaba ne basamaalirira: nnyina n'amugamba nti, “ Mwana wange, lwaki otukoze bw'otyo? laba, kitaawo nange twakunoonya nga tunakuwadde.”
49
N'abagamba nti, “ Mwannoonyeza ki? Temwamanya nga kiŋŋwanidde okubeera mu bigambo bya Kitange?”
50
Ne batategeera kigambo ekyo kye yabagamba.
51
N'aserengeta nabo n'ajja e Nazaaleesi, n'abagonderanga: nnyina ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna mu mutima gwe.
52
Awo Yesu ne yeeyongerangako amagezi n'okukula, n'okuganja eri Katonda n'eri abantu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24