bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 20
Luke 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
1
Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo, Yesu yali ng'ayigiriza abantu mu Yeekaalu, ng'abuulira Enjiri, bakabona abakulu n'abawandiisi wamu n'abakadde ne bajja;
2
ne boogera naye ne bamugamba nti, “ Tubuulire; buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza obwo?”
3
N'addamu n'abagamba nti, “ Nange ka mbabuuze ekigambo kimu; mmumbuulire:
4
okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu nantiki mu bantu?”
5
Ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti, “ Bwe tunaagamba nti Kwava mu ggulu; anaatubuuza nti Kiki ekyabalobera okumukkiriza?
6
Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu; abantu bonna banaatukuba amayinja: kubanga bakkiririza ddala Yokaana okuba nnabbi.”
7
Ne baddamu nti tebamanyi gye kwava.
8
Yesu n'abagamba nti, “ Kale nange siibabuulire mmwe buyinza obunkoza bino gye bwava.”
9
N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti, “ Omuntu omu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'agenda mu nsi endala n'alwayo.
10
Awo mu biro eby'amakungula, abalimi n'abatumira omuddu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kintu.
11
N'ayongera okutuma omuddu omulala; n'oyo ne bamukuba, ne bamuswaza ne bamusindika nga talina kintu.
12
N'ayongera okutuma ow'okusatu: n'oyo naye ne bamufumita ne bamugoba.
13
Nnannyini lusuku olw'emizabbibu n'agamba nti, ‘Nnaakola ntya? Ka ntume omwana wange omwagalwa: mpozzi oyo balimussaamu ekitiibwa.’
14
Naye abalimi bwe baamulaba, ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ye musika: tumutte, obusika bube bwaffe.
15
Ne bamugoba mu lusuku lw'emizabbibu ne bamutta. Kale nnannyini lusuku olw'emizabbibu alibakola atya?
16
Alijja n'azikiriza abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abalala.” Bwe baawulira ebyo, ne bagamba nti, “Ebyo bireme okubaawo.”
17
Naye ye n'abatunuulira n'agamba nti, “Kale kiki kino ekyawandiikibwa nti, “Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda?
18
Buli agwa ku jjinja eryo alimenyekamenyeka; era oyo gwe lirigwako, lirimubetenta.”
19
Awo abawandiisi ne bakabona abakulu ne basala amagezi okumukwata mu kiseera ekyo; ne batya abantu, kubanga baategeera nti ku bo kw'ageredde olugero.
20
Ne bamulabiriza, ne batuma abakessi nga beefuula abatuukirivu, balandukire ku bigambo bye, balyoke bamuweeyo eri omufuzi owessaza n'eri obuyinza bwe.
21
Ne bamubuuza, nga bagamba nti, “ Omuyigiriza, tumanyi ng'oyogera era ng'oyigiriza eby'amazima, so tososola mu bantu, naye oyigiriza mazima ekkubo lya Katonda:
22
Kirungi ffe okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo?”
23
Naye n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti, “ Kale munkemera ki?
24
Mundage eddinaali. Ekifaananyi ekiriko n'obuwandiikeko by'ani?” Bo ne bagamba nti, “ Bya Kayisaali.”
25
N'abagamba nti, “ Kale ebya Kayisaali mubisasulenga Kayisaali, n'ebya Katonda mubisasulenga Katonda.”
26
Ne batayinza kumukwasa mu nsonga yonna mu kigambo ekyo kye yayogerera mu maaso g'abantu, ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika.
27
Abasaddukaayo abamu abagamba nti tewali kuzuukira ne bajja gy'ali, ne bamubuuza,
28
nga bagamba nti, “ Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga ng'alina omukazi, nga talina mwana, muganda we awase omukazi oyo addizeewo muganda we ezzadde.
29
Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa nga talina mwana;
30
n'ow'okubiri;
31
n'ow'okusatu n'amuwasa; era bwe batyo bonna omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana.
32
Oluvannyuma n'omukazi naye n'afa.
33
Kale mu kuzuukira aliba muk'ani ku abo? Kubanga bonna omusanvu baamuwasa.”
34
Yesu n'abagamba nti, “ Abaana b'ensi eno bawasa, era bafumbirwa,
35
naye bali abasaanyizibwa okutuuka mu nsi eyo ne mu kuzuukira okw'omu bafu, tebawasa, so tebafumbirwa,
36
kubanga baliba tebaakyafa nate: kubanga baliba nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira.
37
Okumanya ng'abafu bazuukira, ne Musa yakiraga ku Kisaka bwe yamuyita Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.
38
Naye ye si Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonna baba balamu ku bubwe.”
39
Abawandiisi abamu ne baddamu, nga bagamba nti, “ Omuyigiriza, oyogedde bulungi.”
40
Kubanga tebaayaŋŋanga kumubuuza kigambo kyonna nate.
41
Yesu n'abagamba nti, “ Bayinza batya okugamba nti Kristo ye mwana wa Dawudi?”
42
Kubanga Dawudi yennyini ayogera mu kitabo kya Zabbuli nti, “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
43
Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.’ ”
44
“Oba nga Dawudi amuyita Mukama we, kale mwana we atya?”
45
Awo abantu bonna bwe baali nga bawulira, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti,
46
“ Mwekuumenga abawandiisi, abaagala okutambuliranga mu ngoye empanvu, abaagala okulamusibwanga mu butale, n'okuweebwa entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga;
47
era abanyaga ennyumba za bannamwandu, abasaba ennyo mu bunnanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene.”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24