bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 13
Luke 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
1
Awo mu biro ebyo waaliwo abantu abaali bali awo, ne baabuulira Yesu eby'Abagaliraaya bali, Piraato be yatabulira omusaayi gwabwe ne ssaddaaka zaabwe.
2
Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Mulowooza nga Abagaliraaya abo kubanga baabonyaabonyezebwa bwe batyo baali boonoonyi okusinga Abagaliraaya abalala bonna?
3
Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira bwe mutyo.
4
Oba bali ekkumi n'omunaana (18), ekigo eky'omu Sirowamu be kyagwako ne kibatta, mulowooza baali bakozi ba bubi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemi?
5
Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, mwenna mulizikirira bwe mutyo.”
6
N'ayogera olugero luno nti, “ Waaliwo omuntu eyalina omuti omutiini ogwali gusimbiddwa mu lusuku lwe olw'emizabbibu; n'ajja ng'agunoonyaako ebibala n'atabiraba.
7
N'agamba omulimi nti Laba, leero emyaka esatu nga njija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne ssibiraba, guteme; n'okwemala gwemalira ki ekifo obwereere?
8
Kyokka omulimi n'addamu n'amugamba nti Mukama wange, guleke mu mwaka guno, mmale okugutemeratemera, nguteekeko n'obusa;
9
bwe gulibala ebibala oluvannyuma, kirungi; naye oba nga si bwe kityo, oligutema.”
10
Awo ku lunaku lwa ssabbiiti Yesu yali ng'ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro.
11
Era, laba, waaliwo omukazi eyali yaakalwalira dayimooni ow'obunafu emyaka kkumi na munaana (18); ng'agongobadde nga tayinza kwegolola n'akatono.
12
Awo Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti, “Omukazi, osumuluddwa obulwadde bwo.”
13
N'amussaako n'emikono gye, amangwago omukazi n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda.
14
Naye omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'anyiiga kubanga Yesu awonyezza omuntu ku ssabbiiti, n'addamu n'agamba ekibiina nti, “ Waliwo ennaku omukaaga ezigwana okukolerangako emirimu: kale mujjirenga ku ezo okuwonyezebwa, naye si ku lunaku lwa ssabbiiti.”
15
Naye Mukama waffe n'amuddamu n'agamba nti, “ Bannanfuusi mmwe, buli omu ku mmwe ku lunaku lwa ssabbiiti tayimbula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo, n'agitwala okuginywesa?
16
Era oyo omwana wa Ibulayimu eyasibibwa Setaani okumala emyaka kkumi na munaana (18), tagwanidde kusumululwa mu busibe obwo ku lunaku lwa ssabbiiti?”
17
Awo bwe yali ng'ayogera ebyo, abalabe be bonna ne baswala: n'ekibiina kyonna ne basanyukira byonna eby'ekitiibwa bye yakola.
18
Yesu kyeyava agamba nti, “ Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Era nnaabugeraageranya na ki?
19
Bufaanana akaweke ka kalidaali, omuntu ke yaddira n'akasuula mu nnimiro ye; ne kakula, ne kaba muti; ennyonyi ez'omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.”
20
Yesu era n'agamba nti, “ Obwakabaka bwa Katonda nnaabufaananya na ki?
21
Bufaanana ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akikisa mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.”
22
Awo Yesu n'atambula ng'ayita mu bibuga ne mu byalo ng'ayigiriza ng'agenda e Yerusaalemi.
23
Omuntu omu n'amubuuza nti, “ Mukama wange, be batono abalokolebwa?” Yesu n'amuddamu nti,
24
“Mufubenga okuyingira mu mulyango omufunda: kubanga mbagamba nti bangi abalinoonya okuyingira, so tebaliyinza.
25
Nannyini nnyumba bw'alimala okusituka, n'aggalawo oluggi, muliyimirira ebweru, ne mutandika okukonkona ku luggi, nga mugamba nti Mukama waffe, tuggulirewo; kale alibaddamu n'abagamba nti Sibamanyi gye muva;
26
ne mulyoka mutandika okugamba nti Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigiririzanga mu nguudo zaffe;
27
kale aligamba nti Mbagamba nti simanyi gye muva: muve we ndi, mwenna abakola ebitali bya butuukirivu.
28
Eyo eribaayo okukaaba n'okulumwa obujiji bwe muliraba Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo ne bannabbi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, naye mmwe nga musuuliddwa ebweru.
29
Balijja nga bava ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, balituula ku mbaga mu bwakabaka bwa Katonda.
30
Era, laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.”
31
Mu kiseera ekyo kyennyini Abafalisaayo ne bajja, ne bamugamba nti, “ Va wano, ogende: kubanga Kerode ayagala kukutta.”
32
N'abagamba nti, “ Mugende mugambe ekibe ekyo nti Laba, ngoba baddayimooni, mponya abantu leero n'enkya ne ku lunaku olwokusatu ndituukirizibwa.
33
Naye kiŋŋwanidde okutambulako leero n'enkya n'olunaku oluddirira; kubanga tekiyinzika nnabbi kuzikiririra bweru wa Yerusaalemi.
34
Ggwe Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akuba amayinja abatumibwa gy'oli! emirundi emeka nga njagala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanyiza obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye ne mutakkiriza!
35
Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa; era mbagamba nti Temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24