bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 21
Luke 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
1
Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba abagagga abaali bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika lya Yeekaalu.
2
N'alaba nnamwandu omu omwavu ng'ateekamu ebitundu by'eppeesa bibiri.
3
N'agamba nti, “ Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga abalala bonna:
4
kubanga abo abalala bonna basuddemu ku bibafikkiridde mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe kwonna asuddemu byonna by'ali nabyo, ebibadde eby'okuyamba obulamu bwe bwonna.”
5
Era abamu bwe baali boogera ku Yeekaalu, nga bwe yayonjebwa n'amayinja amalungi n'ebiweebwayo, n'agamba nti,
6
“Bino bye mulaba, ennaku zigenda kujja, lwe watalirekebwa jjinja eririsigala ku jjinja wano eritalisuulibwa.”
7
Ne bamubuuza nga bagamba nti, “Omuyigiriza, kale ebyo biribaawo ddi? Kabonero ki akalibaawo ebyo bwe biriba nga bigenda okubaawo?”
8
N'agamba nti, “Mutunule muleme okukyamizibwa; kubanga bangi abalijja nga beeyita erinnya lyange, nga boogera nti Nze nzuuno; era nti Obudde bunaatera okutuuka: temubagobereranga.
9
Era bwe muwuliranga entalo n'ebikankano, temwekanganga: kubanga ebyo kibigwanira okusooka okujja; naye enkomerero terituuka mangwago.”
10
N'alyoka abagamba nti, “ Eggwanga lirirumba eggwanga, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka;
11
walibaawo n'ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene obuva mu ggulu.
12
Naye ebyo byonna nga tebinnabaawo, balibakwata, balibayigganya, nga babawaayo mu makuŋŋaaniro ne mu makomera nga babatwala mu maaso ga bakabaka n'abaamasaza olw'erinnya lyange.
13
Kiriba mujulirwa gye muli.
14
Kale mukiteeke mu mitima gyammwe, obutasookanga kulowooza bye muliddamu:
15
kubanga nze ndibawa ebigambo mu kamwa n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakana nabyo newakubadde okubigaana.
16
Naye muliweebwayo abazadde bammwe, n'ab'oluganda, n'ab'ekika, n'ab'omukwano; n'abamu ku mmwe balibatta.
17
Nammwe mulikyayibwa abantu bonna olw'erinnya lyange.
18
N'oluviiri olumu olw'oku mitwe gyammwe terulibula n'akatono.
19
Mu kugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu bwammwe.”
20
“Naye bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka.
21
Mu biro ebyo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n'abaliba wakati mu kyo bakifulumangamu; n'abaliba mu byalo tebakiyingirangamu.
22
Kubanga ezo ze nnaku ez'okuwalana eggwanga, ebyawandiikibwa byonna biryoke bituukirire.
23
Ziribasanga abaliba n'embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! kubanga waliba okulaba ennaku ennyingi ku nsi n'obusungu eri abantu abo.
24
Balittibwa n'obwogi bw'ekitala, balinyagibwa okutwalibwa mu mawanga gonna; ne Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab'amawanga amalala okutuusa ebiro by'abamawanga lwe birituukirira.
25
“Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo;
26
abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebyo ebijja ku nsi: kubanga amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa.
27
Ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu kire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene.
28
Naye ebigambo ebyo bwe bitandikanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.”
29
Yesu n'abagamba olugero; nti, “Mulabe omutiini n'emiti emirala gyonna;
30
kale bwe gitojjera, mulaba ne mutegeera mwekka, nti kaakano obudde obw'ekyeya buli kumpi.
31
Era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo mumanyanga nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi.
32
Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono okutuusa ebyo byonna lwe biribaawo.
33
Eggulu n'ensi biriggwaawo; naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.”
34
“Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng'ekyambika;
35
kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna.
36
Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu.”
37
Awo buli lunaku yayigirizanga mu Yeekaalu; bwe bwazibanga n'afuluma n'asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni.
38
Abantu bonna ne bakeeranga enkya okugenda gy'ali mu Yeekaalu okumuwuliriza.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24