bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Luke 24
Luke 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
1
Awo ku lunaku olwolubereberye mu nnaku omusanvu, mu matulutulu enkya, abakazi ne bajja ku ntaana ne baleeta eby'akaloosa bye baategeka.
2
Ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa okuva ku mulyango gw'entaana.
3
Ne bayingiramu, ne batasangamu mulambo gwa Mukama waffe Yesu.
4
Awo olwatuuka bwe baali basamaaliridde olw'ekyo, laba, abantu babiri ne bayimirira we baali, nga bambadde engoye ezimasamasa;
5
awo bwe baali battidde, nga bakutamye ng'amaaso gaabwe gatunudde wansi, ne babagamba nti, “ Kiki ekibanoonyesa omulamu mu bafu?”
6
Taliiwo wano, naye azuukidde: mujjukire bwe yayogera nammwe ng'akyali mu Ggaliraaya,
7
ng'agamba nti, “ Kigwanira Omwana w'omuntu okuweebwayo mu mikono gy'abantu abalina ebibi, n'okukomererwa, ne ku lunaku olwokusatu okuzuukira.”
8
Awo ne bajjukira ebigambo bye,
9
ne bava ku ntaana ne baddayo, ebyo byonna ne babibuulira bali ekkumi n'omu (11), n'abalala bonna.
10
Baali Malyamu Magudaleene, ne Yowaana, ne Malyamu nnyina Yakobo: n'abakazi abalala abali awamu nabo ne babulira abatume ebigambo ebyo.
11
Ebigambo ebyo ne bifaanana mu maaso g'abatume nga bya busirusiru; ne batakkiriza.
12
Naye Peetero n'asituka n'adduka, n'agenda ku ntaana; n'akutama n'alingiza n'alabamu ebiwero ebya bafuta, nga biri byokka; n'akomawo ewuwe, nga yeewuunya ebibaddewo.
13
Awo laba, ku lunaku olwo, babiri ku bo baali nga bagenda mu mbuga erinnya lyayo Emawo, eyali ewalako ne Yerusaalemi, sutaddyo nkaaga (60).
14
Baali banyumya bokka na bokka ebyo byonna ebibaddewo.
15
Awo olwatuuka baali nga banyumya era nga beebuuzaganya, Yesu yennyini n'abasemberera, n'atambula wamu nabo.
16
Naye amaaso gaabwe ne gaziyizibwa baleme okumutegeera.
17
N'abagamba nti, “ Bigambo ki ebyo bye mwebuuzaganya nga mutambula?” Ne bayimirira nga bawootedde.
18
Omu ku bo erinnya lye Kulyoppa n'addamu n'amugamba nti, “ Ggwe osula wekka mu Yerusaalemi atamanyi ebyabaamu mu nnaku zino?”
19
N'ababuuza nti, “ Bigambo ki ebyo?” Ne bamugamba nti, “ Ebya Yesu Omunazaaleesi, eyali nnabbi ow'amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna:
20
ne bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okumusalira omusango ogw'okumutta, ne bamukomerera.
21
Naye ffe twali tusuubira nti ye yali ow'okununula Isiraeri. Ate ne ku bino byonna, leero zino ennaku ssatu ebigambo bino kasookedde bibaawo.
22
Era abakazi abamu ab'ewaffe batuwuniikirizza, abaakedde okugenda ku ntaana;
23
bwe bataasanzeyo mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti balabye okwolesebwa kwa bamalayika abagambye nti mulamu.
24
N'abamu ku abo abaabadde naffe bagenze ku ntaana, ne basanga nga biri ng'abakazi bwe bagambye, kyokka ye tebaamulabye.”
25
Kale ye n'abagamba nti, “ Mmwe abasirusiru, abagayaavu mu mutima era abalwawo okukkiriza byonna bannabbi bye baayogeranga;
26
tekyagwanira Kristo okubonyaabonyezebwa ebyo byonna, alyoke ayingire mu kitiibwa kye?”
27
N'asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikwako.
28
Ne basembera kumpi n'embuga gye baali bagenda: ye n'aba ng'abayisa okugenda mu maaso.
29
Ne bamuwaliriza nga bagamba nti, “Tuula naffe: kubanga obudde bugenda kuwungeera, n'enjuba egoloobye kaakano.” N'ayingira okutuula nabo.
30
Awo olwatuuka bwe yali atudde nabo ku mmere, n'atoola omugaati n'agwebaza, n'agumenyamu n'abawa.
31
Amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera; naye n'ababulako nga tebakyamulaba.
32
Ne beebuuzaganya nti, “ Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo, ng'atubikkulira ebyawandiikibwa?”
33
Ne basituka mu kiseera ekyo ne baddayo e Yerusaalemi, ne basanga bali ekkumi n'omu (11), n'abo be baali nabo, nga bakuŋŋaanye
34
nga bagamba nti, “ Mazima Mukama waffe azuukidde era alabikidde Simooni.”
35
Nabo ne babannyonnyola biri eby'omu kkubo, era ne bwe yategeerekese gyebali olw'okumenyamu omugaati.
36
Awo baali nga bakyayogera ebyo, Yesu yennyini n'ayimirira wakati waabwe, n'abagamba nti, “ Emirembe gibe nammwe.”
37
Naye ne beekanga ne batya, ne balowooza nti balaba muzimu.
38
N'abagamba nti, “ Ekibeeraliikiriza kiki? N'okubuusabuusa kujjira ki mu mitima gyammwe?
39
Mulabe engalo zange n'ebigere byange, nga nze nzuuno mwene: munkwateko mulabe; kubanga omuzimu tegulina nnyama na magumba, nga bwe mulaba nze bwe ndi nabyo.”
40
Bwe yamala okwogera ekyo, n'abalaga engalo ze n'ebigere.
41
Awo bwe baali tebannaba kukkiriza olw'essanyu, nga beewuunya, n'abagamba nti, “ Mulina ekiriibwa wano?”
42
Ne bamuwa ekitundu eky'ekyennyanja ekyokye.
43
N'akitoola n'akiriira mu maaso gaabwe.
44
N'abagamba nti, “ Bino bye bigambo byange bye nnababuulira, nga nkyali nammwe, bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu zabbuli.”
45
N'alyoka abikkula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikibwa;
46
n'abagamba nti, “ Bwe kityo bwe kyawandiikibwa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olwokusatu;
47
era amawanga gonna okubuulirwanga okwenenya n'okuggyibwako ebibi mu linnya lye, okusookera ku Yerusaalemi.
48
Mmwe bajulirwa b'ebyo.
49
Era laba, mbaweereza mmwe okusuubiza kwa Kitange: naye mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava waggulu.”
50
Awo Yesu n'abatwala ebweru n'abatuusa e Bessaniya: n'ayimusa emikono gye n'abawa omukisa.
51
Awo olwatuuka ng'akyabawa omukisa, n'abaawukanako, n'atwalibwa mu ggulu.
52
Nabo ne bamusinza, ne bakomawo e Yerusaalemi n'essanyu lingi:
53
ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo, nga beebaza Katonda.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24