bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 10
Revelation 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 11 →
1
Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akka okuva mu ggulu, ng'ayambadde ekire; ne musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaaso ge nga galinga enjuba, n'ebigere bye nga biringa empagi ez'omuliro.
2
Yalina mu mukono gwe omuzingo omutono ng'agwanjuluzza, n'ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n'ekya kkono ku lukalu,
3
n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'empologoma bw'ewuluguma. Bwe yayogerera waggulu ne wabaawo okubwatuka emirundi musanvu olw'eddoboozi eryo.
4
Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali n'atera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti, “Teeka envumbo ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.”
5
Malayika gwe nnalaba ng'ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu n'ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu,
6
n'alayira oli aba omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'ennyanja n'ebirimu, nti, tewaliba kulwa nate,
7
naye mu nnaku z'eddoboozi lya malayika ow'omusanvu, bw'aliba anaatera okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng'Enjiri bw'eri gye yabuulira abaddu be bannabbi.
8
N'eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne liŋŋamba nti, “Genda, otwale omuzingo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”
9
Ne ŋŋenda eri malayika, ne mugamba okumpa omuzingo. N'aŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; gunaakaawa mu lubuto lwo, naye mu kamwa ko gunaaba guwoomerera ng'omubisi gw'enjuki.”
10
Ne ntwala omuzingo omutono nga nguggya mu mukono gwa malayika, ne ngulya. Mu kamwa kange ne guwoomerera ng'omubisi gw'enjuki, naye mu lubuto lwange ne gukaawa.
11
Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okubuulira nate abantu bangi n'amawanga n'ennimi ne bakabaka.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22