bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 21
Revelation 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
1
Awo ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya: kubanga eggulu ery'olubereberye n'ensi eyolubereberye nga bigenze nga n'ennyanja tekyaliwo.
2
Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba.
3
Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti, “Laba, eweema ya Katonda eri awamu n'abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, ne Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.
4
Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba newakubadde okulumwa: kubanga ebyo byonna ebyaliwo nga biweddewo.”
5
N'oyo atuula ku ntebe n'ayogera nti, “ Laba, byonna mbizzizza buggya.” N'ayogera nti, “ Wandiika bino, kubanga ebigambo ebyo bya bwesigwa era bya mazima.”
6
N'aŋŋamba nti, “ Bituukiridde. Nze Alufa ne Omega, okusooka n'enkomerero. Ndimuwa buwa oyo alina ennyonta okunywa mu luzzi olw'amazzi ag'obulamu.
7
Awangula alisikira ebyo, nange nnaabeeranga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.
8
Naye abati, n'abatakkiriza, n'abagwagwa, n'abassi, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebifaananyi, n'abalimba bonna, omugabo gwabwe gulibeera mu nnyanja eyaka n'omuliro ne salufa, okwo kwe kufa okwokubiri.”
9
Awo omu ku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, ebyalimu ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero najja n'ayogera nange, ng'agamba nti, “ Jjangu, nkulage omugole, omukyala w'Omwana gw'endiga.”
10
N'antwalira mu Mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu, n'andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda,
11
nga kirina ekitiibwa kya Katonda: okumasamasa kwakyo nga kulinga okw'ejjinja ery'omuwendo omungi ennyo, erya yasepi, eritangalijja.
12
Bbugwe waakyo yali mugazi era nga muwanvu, nga kirina emiryango kkumi n'ebiri (12), ne ku miryango nga kuliko bamalayika kkumi na babiri (12), n'amannya g'ebika ekkumi n'ebibiri (12) eby'abaana ba Isiraeri nga gawandiikiddwa ku miryango gyakyo.
13
Ku luuyi olw'ebuvanjuba kwaliko emiryango esatu ne ku luuyi olw'obukiikakkono kwaliko emiryango esatu ne ku luuyi olw'obukiikaddyo kwaliko emiryango esatu ne ebugwanjuba emiryango esatu.
14
Ne bbugwe w'ekibuga yalina emisingi kkumi n'ebiri (12), nga kuwandiikiddwako amannya kkumi n'abiri (12) ag'abatume ekkumi n'ababiri ab'Omwana gw'endiga.
15
Ne Malayika eyayogera nange yalina omuggo ogwa zaabu ogw'okupimisa ekibuga n'emiryango gyakyo, ne bbugwe waakyo.
16
N'ekibuga kyali kyenkanankana enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bwakyo. N'agera ekibuga n'omuggo, ekipimo kya mabanga omutwalo gumu mw'enkumi bbiri (12,000), obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo nga byenkanankana.
17
Ate n'apima bbugwe waakyo, emikono kikumi mu ana mw'ena (144), ng'ekipimo ky'omuntu, n'ekya malayika bwe kiri.
18
Bbugwe waakyo yali azimbiddwa n'amayinja aga yasepi, nga n'ekibuga kya zaabu omulungi, nga kitangalijja ng'endabirwamu ennungi.
19
Emisingi gya bbugwe w'ekibuga gyayonjebwa na buli jjinja ery'omuwendo omungi. Omusingi ogusooka nga gwa yasepi, ogwokubiri gwa safiro, ogwokusatu gwa kalukedoni, ogwokuna gwa nnawandagala,
20
ogw'okutaano gwa sadonukisi, ogw'omukaaga gwa sadiyo, ogw'omusanvu gwa kerusoliso, ogw'omunaana gwa berulo ogw'omwenda gwa topazi, ogw'ekkumi gwa kerusoperaso, ogw'ekkumi n'ogumu gwa kuwakinso n'ogw'ekkumi n'ebiri nga gwa mesusito.
21
N'emiryango ekkumi n'ebiri nga gyakolebwa mu luulu kkumi na bbiri, nga buli gumu ku miryango gwali gwa luulu emu n'oluguudo olw'ekibuga lwa zaabu ennungi etangalijja ng'endabirwamu.
22
Ssaalabamu Yeekaalu mu kyo, kubanga Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, n'Omwana gw'endiga, ye Yeekaalu yaakyo.
23
Era ekibuga nga tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, era n'ettaala yaakyo nga ye Mwana gw'endiga.
24
N'amawanga ganaatambuliranga mu kitangaala kyakyo, ne bakabaka b'ensi balireeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.
25
N'emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teribaayo kiro.
26
Kirifuna ekitiibwa n'ettendo eby'amawanga.
27
Temuliyingira mu kyo kintu kyonna ekitali kirongoofu, wadde oyo akola eky'omuzizo oba omulimba, wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22