bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 6
Revelation 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
1
Awo ne ndaba Omwana gw'endiga nga abembula emu ku nvumbo omusanvu, ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera n'eddoboozi ery'okubwatuka nti, “Jjangu.”
2
Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n'oyo agituddeko ng'alina omutego, n'aweebwa engule, n'agenda ng'awangula, n'awangulira ddala.
3
Bwe yabembula envumbo eyokubiri, ne mpulira ekiramu eky'okubiri nga kyogera nti, “Jjangu.”
4
N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu, era oyo eyali agituddeko n'aweebwa ekitala ekinene n'obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, abantu battiŋŋane bokka na bokka.
5
Bwe yabembula envumbo ey'okusatu ne mpulira ekiramu eky'okusatu nga kyogera nti, “Jjangu.” Ne ndaba, era, laba, embalaasi enzirugavu, n'eyali agituddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe.
6
Ne mpulira ng'eddoboozi wakati w'ebiramu ebina nga lyogera nti, “Ekiyi ky'eŋŋaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali, kyokka amafuta n'omwenge tobyonoona.”
7
Bwe yabembula envumbo ey'okuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu.”
8
Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu, n'eyali agituddeko, erinnya lye Kufa, ne Magombe n'agenda naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu ekyokuna eky'ensi, okutta n'ekitala n'enjala n'olumbe n'ensolo z'ensi.
9
Bwe yabembula envumbo ey'okutaano, ne ndaba wansi w'ekyoto emyoyo gy'abo abattibwa olw'ekigambo kya Katonda, n'olw'obujulirwa bwe baalina,
10
ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti, “Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi?”
11
Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru, ne bagambibwa okugira nga bawummula, okutuusa baweereza bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.
12
Bwe yabembula envumbo ey'omukaaga, ne wabaawo ekikankano kinene, enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi;
13
n'emmunyeenye ez'omu ggulu ne zigwa ku nsi, ng'omutiini bwe gukunkumula ebibala byagwo, nga gunyeenyezebwa empewo ennyingi.
14
N'eggulu ne liggibwawo, ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n'ekizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.
15
ne bakabaka b'ensi, n'abalangira, n'abagabe, n'abagagga, n'ab'amaanyi, na buli muddu n'ow'eddembe ne beekweka mu mpuku ne mu mayinja ag'oku nsozi;
16
ne bagamba ensozi n'amayinja nti, “Mutugweko, mutukweke mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga.
17
Kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lutuuse, era ani ayinza okulugumira?”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22