bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 14
Revelation 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 15 →
1
Ne ndaba, era, laba, Omwana gw'Endiga ng'ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng'ali n'abantu emitwalo kkumi n'ena mu enkumi nnya (144,000), nga erinnya lye n'erinnya lya Kitaawe nga gawandiikiddwa ku byenyi byabwe.
2
Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga liringa ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okunene. N'eddoboozi lye nnawulira nga liringa ery'abakubi b'ennanga nga bakuba ennanga zaabwe:
3
ne bayimba oluyimba oluggya mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'ebiramu ebina n'abakadde; so tewali muntu eyayinza okuyiga oluyimba olwo wabula abo emitwalo ekkumi n'ena mu enkumi ennya (144,000), abaanunulibwa okuva mu nsi.
4
Abo be bateeyonoona eri abakazi; ne beekuuma. Abo be bagoberera Omwana gw'endiga buli gy'agenda. Abo baanunulibwa mu bantu okuba ebibala eby'olubereberye eri Katonda n'eri Omwana gw'Endiga.
5
Tebayogeranga bya bulimba, nga tebaliiko kya kunenyezebwa.
6
Ne ndaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga ery'omu ggulu ng'alina Enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatuula ku nsi, na buli ggwanga n'ekika n'olulimi n'abantu,
7
ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky'omusango gwe kituuse, mumusinze eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ensulo z'amazzi.”
8
Ne malayika omulala ow'okubiri n'agoberera, ng'ayogera nti, “Kigudde, kigudde Babbulooni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwakyo.”
9
Ne malayika omulala ow'okusatu n'abagoberera, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “Omuntu yenna bw'asinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, era bw'akkiriza akabonero kaakyo ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe,
10
oyo naye alinywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky'obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n'ekibiriiti mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g'Omwana gw'endiga.
11
N'omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n'emirembe; so tebalina kuwummula emisana n'ekiro abasinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, na buli akkiriza akabonero, ly'erinnya lyakyo.”
12
Kino kikubiriza abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiriza Yesu okuba abagumukiriza.
13
Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga lyogera nti, “Wandiika nti, Baweereddwa omukisa abafu abafiira mu Mukama waffe okuva kaakano.” “Weewaawo,” bw'ayogera Omwoyo, “balyoke bawummule mu kutegana kwabwe; kubanga ebikolwa byabwe bigenda nabo.”
14
Ne ndaba, era, laba, ekire ekyeru; ne ku kire ne ndaba atuddeko eyali afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'alina ku mutwe gwe engule eya zaabu, ne mu mukono gwe ekiwabyo eky'obwogi.
15
Ne malayika omulala n'ava mu Yeekaalu, ng'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo atudde ku kire nti, “Teekako ekiwabyo kyo, okungule, kubanga ekiseera eky'okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi byengedde.”
16
N'oyo atudde ku kire n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'ensi n'ekungulibwa.
17
Ne malayika omulala n'ava mu Yeekaalu ey'omu ggulu, naye ng'alina ekiwabyo eky'obwogi.
18
Ne malayika omulala n'ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo alina ekiwabyo eky'obwogi, ng'ayogera nti, “Teekako ekiwabyo kyo eky'obwogi, onoge ebirimba by'omuzabbibu gw'ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala.”
19
Ne malayika n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'anoga omuzabbibu gw'ensi, n'agusuula mu ssogolero eddene ery'obusungu bwa Katonda.
20
N'egusogolerwa ebweru w'ekibuga, n'omusaayi ne guva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo nga butuuka ku nkoba z'embalaasi, n'obugazi ekipimo kya mabanga lukumi mu lukaaga (1,600).
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22