bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Revelation 22
Revelation 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
1
Awo Malayika n'andaga omugga ogw'amazzi ag'obulamu, ogumasamasa ng'endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga,
2
nga gukulukutira wakati w'oluguudo lw'ekibuga. Era ku buli ludda olw'omugga kwaliko omuti ogw'obulamu, nga buli gumu gubala ebibala kkumi na bibiri (12) eby'engeri endala buli mwezi, n'amakoola g'omuti nga gakuwonya amawanga.
3
Mu kibuga ekyo teribaayo nate kikolimo. Entebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga eneebeeranga omwo, n'abaddu be banaamuweerezanga,
4
era banaamulabanga amaaso ge; era n'erinnya lye linaabanga mu byenyi byabwe.
5
So teebenga kiro nate; nga tebeetaaga kumulisa kwa ttaala n'omusana gw'enjuba, kubanga Mukama Katonda anaabeeranga omusana gwabwe, era banaafuganga emirembe n'emirembe.
6
N'aŋŋamba nti, Ebigambo bino bya bwesigwa era bya mazima, era Mukama Katonda ow'emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebiteekwa okubaawo amangu
7
“ Era, laba, njija mangu. Aweereddwa omukisa akwata ebigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino.”
8
Nze Yokaana, nze nnawulira ne ndaba bino. Bwe nnawulira ne ndaba, ne ngwa wansi ku bigere bya malayika oyo eyabindaga okumusinza.
9
N'aŋŋamba nti, “Laba tokola bw'otyo: ndi muddu nga gwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, wamu n'abo bonna abakwata ebigambo eby'ekitabo kino. Ssinza Katonda.”
10
Awo n'aŋŋamba nti, “Tokuuma bigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino nga bya kyama kubanga obudde buli kumpi.
11
Leka ayonoona abeere ng'akyayonoona, era omugwagwa abeere ng'akyali mugwagwa, era n'omutuukirivu abeere ng'akyakola obutuukirivu, era n'omutukuvu, abeere ng'akyali mutukuvu.”
12
“Laba, njija mangu; n'empeera yange eri nange, okusasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli.
13
Nze Alufa ne Omega, Owolubereberye era Owenkomerero, okusooka n'enkomerero.”
14
Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, balyoke babeere n'obuyinza ku muti ogw'obulamu, era balyoke bayingire mu kibuga nga bayita mu miryango.
15
Ebweru ye eri embwa, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi, n'abasinza ebifaananyi, n'abo bonna abaagala era abakola eby'obulimba.
16
“Nze Yesu ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ebyo olw'ekkanisa. Nze ndi kikolo era omuzukkulu wa Dawudi, emmunyeenye eyaka ey'enkya.”
17
Era Omwoyo n'omugole boogera nti, “ Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Na buli alina ennyonta ajje, ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa.
18
Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino nti Omuntu yenna bw'ayongerangako ku byo, Katonda alyongerako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
19
Era omuntu yenna bw'aggyangamu mu bigambo eby'ekitabo eky'obunnabbi buno, Katonda alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw'obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
20
Oyo ategeeza bino ayogera nti, “Weewaawo nzija mangu.” Amiina, jjangu, Mukama waffe Yesu!
21
Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga n'abatukuvu bonna. Amiina.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22